OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Omwoyo Omutukuvu Gwabasobozesa Okukola Omulimu Ogutaali Mwangu
Okuva edda, abaweereza ba Katonda bazze bakola ebintu ebyewuunyisa, naye si mu maanyi gaabwe, wabula olw’obuyambi bwa Yakuwa. Mu 1954, ekibiina kya Yakuwa kyafulumya firimu erina omutwe, The New World Society in Action. Firimu eyo yakolebwa Ababeseri abataalina bumanyirivu bwonna mu kukola firimu. Omwoyo gwa Yakuwa gwe gwabasobozesa okukola omulimu ogwo ogutaali mwangu. Ekyo kiraga nti singa twesiga Yakuwa, tusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna obuba butuweereddwa.—Zek 4:6.
MULABE VIDIYO, OKUKOLA FIRIMU “THE NEW WORLD SOCIETY IN ACTION,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Lwaki kyasalibwawo okukola firimu eraga ebikolebwa ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa?
Lwaki firimu yalaga nti Beseri eringa ebitundu by’omubiri gw’omuntu?—1Ko 12:14-20
Kusoomooza ki ab’oluganda kwe baayolekagana nakwo nga bakola firimu eyo, era baakuvvuunuka batya?
Ekyo kituyigiriza ki ku mwoyo gwa Yakuwa omutukuvu?