OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Abavubuka—Mweyabize Bazadde Bammwe
Lwaki tosaanidde kutya kubuulira bazadde bo ebikuli ku mutima? (Nge 23:26) Kubanga Yakuwa yabawa obuvunaanyizibwa obw’okukulabirira n’okukuwa obulagirizi. (Zb 127:3, 4) Kibabeerera kizibu okukuyamba singa obakweka ebikweraliikiriza. Ate era oba tojja kuganyulwa mu bumanyirivu bwe balina. Kiba kikyamu okubaako ebintu ebimu by’otobuulira bazadde bo? Tekiba kikyamu singa oba tobakweka ebyo bye balina okumanya.—Nge 3:32.
Oyinza otya okwogera ne bazadde bo? Gezaako okwogera nabo mu kiseera ekirungi gy’oli, ne gye bali. Ekyo bwe kiba ekizibu, oyinza okuwandiikira omu ku bo ebbaluwa n’omubuulira ebikuli ku mutima. Watya singa baagala mwogere ku kintu ky’otandyagadde kwogerako? Kijjukire nti baagala kukuyamba. Bazadde bo batwale nga mikwano gyo so si ng’abalabe bo. Bw’ofuba okubuulira bazadde bo ebikuli ku mutima, ojja kuganyulwa obulamu bwo bwonna!—Nge 4:10-12.
MULABE VIDIYO, BWE NNALI OMUTIINI—NNYINZA KWOGERA NTYA NE BAZADDE BANGE? OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
Biki Esther ne Partik bye baalaba nti baali beetaaga okukyusaamu?
Kiki ky’oyigira ku Yesu?
Bazadde bo bakiraze batya nti bakufaako?
Bazadde bo baagala obe bulungi
Misingi ki egya Bayibuli egisobola okukuyamba okwogera ne bazadde bo?