EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Okwetulinkiriza Kuvaamu Okufeebezebwa
Kabaka Sawulo yalowooza nti ali mu buzibu bwa maanyi (1Sa 13:5-7)
Mu kifo ky’okwetoowaza n’agoberera obulagirizi bwa Yakuwa Sawulo yeetulinkiriza (1Sa 13:8, 9; w00 8/1 lup. 25 ¶17)
Yakuwa yakangavvula Sawulo (1Sa 13:13, 14; w07 7/1 lup. 20 ¶8)
Omuntu bw’ayanguyigiriza okukola ekintu nga talina lukusa kukikola aba yeetulinkirizza, era taba mwetoowaze. Mbeera ki eziyinza okuviirako omuntu okwetulinkiriza?