Erisa ng’agamba omuweereza we nti: “Abali naffe bangi okusinga abali nabo.”—2Sk 6:16
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Abali Naffe Bangi Okusinga Abali Nabo”
Erisa n’omuweereza we baali beetooloddwa abalabe (2Sk 6:13, 14; it-1-E lup. 716 ¶4)
Erisa yasigala mukkakkamu era n’azzaamu omuweereza we amaanyi (2Sk 6:15-17; w13 8/15 lup. 30 ¶2; laba ekifaananyi ekiri kungulu)
Mu ngeri ey’ekyamagero, Yakuwa yawonya Erisa n’omuweereza we (2Sk 6:18, 19; it-1-E lup. 343 ¶1)
Abalabe baffe si ba maanyi okusinga Yakuwa. Singa twali tusobola okulaba eyo ebitonde eby’omwoyo gye bibeera ne tulaba engeri Yakuwa gy’akozesaamu bamalayika okukuuma abantu be, olowooza kiki kye twandirabye?