EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yakuwa Yasobozesa Ekyali Kitasuubirwa Okubaawo
Mu kiseera eky’enjala ey’amaanyi, Yakuwa yagamba nti emmere yandibadde nnyingi nnyo ku lunaku oluddako (2Sk 7:1; it-1-E lup. 716-717)
Omukungu wa Isirayiri omu yabuusabuusa ekyo Yakuwa kye yali asuubizza (2Sk 7:2)
Yakuwa yasobozesa ekyo ekyali kitasuubirwa okubaawo (2Sk 7:6, 7, 16-18)
Yakuwa agamba nti enkomerero y’enteekateeka eno ejja kujjira mu kiseera ekitasuubirwa. (1Se 5:2, 3) Lwaki kikulu okuba n’okukkiriza nti ebisuubizo bya Yakuwa bijja kutuukirira?