LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb23 Maaki lup. 3
  • Engeri Gye Tuyinza Okuyambako nga Waguddewo Akatyabaga

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri Gye Tuyinza Okuyambako nga Waguddewo Akatyabaga
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Similar Material
  • Tuyinza Tutya Okuyamba?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Tuyamba Tutya Baganda Baffe Abali mu Buzibu?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Weeteeseteese?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
mwb23 Maaki lup. 3

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri Gye Tuyinza Okuyambako nga Waguddewo Akatyabaga

Obutyabaga bweyongedde nnyo leero. Akatyabaga bwe kagwawo, omulimu gw’okudduukirira abo ababa bakoseddwa gwetaaga okuba nga tutegekeddwa bulungi. N’olw’ensonga eyo, akakiiko akafuzi kakoze enteekateeka ku buli ofiisi y’ettabi wateekebwewo ekitongole ekikola ku kudduukirira abakoseddwa obutyabaga.

Ab’oluganda abali mu kitongole ekyo bwe banaategeeranga nti waliwo awagudde akatyabaga, amangu ddala bajja kuwuliziganyanga n’abakadde okulaba obuyambi ababuulizi bwe beetaaga. Akatyabaga bwe kaba ak’amaanyi ng’ababuulizi abali mu kitundu we kagudde tebasobola kuyambagana bokka, ofiisi y’ettabi ejja kulondanga ab’oluganda abalina ebisaanyizo okulabirira omulimu gw’okudduukirira abo abakoseddwa. Ab’oluganda abo bayinza okwetaaga bannakyewa, oba okutusaba tubeeko ebintu bye tuwaayo okuyamba oba bayinza okubaako ebintu bye bagula ne babigabira abo ababyetaaga.

Waliwo emiganyulo mingi egiva mu kukola ebintu mu ngeri entegeke obulungi. Kitusobozesa obutakola mirimu egiteetaagisa, okwewala emivuyo, era n’okwewala okwonoona ssente n’ebintu, ekitera okubaawo singa buli omu asalawo okukola ebintu ku lulwe.

Ab’oluganda ababa balondeddwa ofiisi y’ettabi basobola okumanya ssente ezeetaagisa era n’omuwendo gwa bannakyewa ababa beetaagibwa. Ate era basobola okukwatagana n’abakulembeze b’ekitundu abasobola okutuyambako okwanguya omulimu gw’okudduukirira abakoseddwa. N’olwekyo tetusaanidde kusolooza ssente, kuweereza buyambi, oba kugenda mu kitundu awaba wagudde akatyabaga, bwe tuba nga tetusabiddwa kukola bintu ebyo.

Akatyabaga bwe kagwawo, twagala okuyamba abo ababa bakoseddwa. (Beb 13:16) Twagala nnyo bakkiriza bannaffe! Kati olwo tuyinza tutya okubayamba? Ekisinga obukulu, tusobola okusabira abo abakoseddwa era n’abo abayambako mu mulimu gw’okubadduukirira. Ate era tusobola okuwaayo ssente okuwagira omulimu gw’ensi yonna. Ofiisi z’amatabi, nga zikolera wansi w’obulagirizi bw’Akakiiko Akafuzi, zisobola okumanya engeri esingayo obulungi ey’okukozesaamu ssente ze tuwaayo. Bwe tuba nga twagala okwenyigira mu mulimu gw’okudduukirira abo ababa bakoseddwa obutyabaga, ekyo tusobola okukiraga nga tujjuzaamu foomu erina omutwe, Local Design/Construction Volunteer Application (DC-50).

MULABE VIDIYO, AMATABA AG’AMAANYI MU BRAZIL, OLUVANNYUMA MUDDEMU EKIBUUZO KINO:

Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, “Amataba ag’Amaanyi mu Brazil.” Ekifaananyi ekiraga amayumba n’emiti ebyali binaatera okubulira mu mazzi.

Kiki ekikukutteko ku ngeri Abajulirwa ba Yakuwa gye badduukiriramu abo abaakosebwa amataba mu Brazil mu 2020?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share