Kabaka omukazi ow’e Seba ng’akyadde mu lubiri lwa Kabaka Sulemaani
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Amagezi Yagatwala nga ga Muwendo
Kabaka omukazi ow’e Seba yatindigga olugendo oluwanvu era olutaali lwangu okugenda okulaba Sulemaani (2By 9:1, 2; w99-E 11/1 20 ¶4; w99-E 7/1 lup. 30 ¶4-5)
Amagezi n’eby’obugagga Sulemaani bye yalina byamwewuunyisa nnyo (2By 9:3, 4; w99-E 7/1 lup. 30-31; laba ekifaananyi ekiri kungulu)
Ebyo bye yalaba byamuleetera okutendereza Yakuwa (2By 9:7, 8; it-2-E lup. 990-991)
Kabaka omukazi ow’e Seba yatwala amagezi nti kintu kya muwendo nnyo ne kiba nti yeefiiriza okugenda okugafuna.
WEEBUUZE, ‘Ndi mwetegefu okunoonya amagezi ng’anoonya eby’obugagga ebyakwekebwa?’—Nge 2:1-6.