EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Weesige Yakuwa Katonda Wo”
Yekosafaati n’abantu b’omu Yuda bwe baatiisibwatiisibwa, baasaba Yakuwa okubayamba (2By 20:12, 13; w14 12/15 lup. 23 ¶8)
Yakuwa yazzaamu abantu be amaanyi era n’abawa obulagirizi obwali butegeerekeka obulungi (2By 20:17)
Yakuwa yanunula abantu be olw’okuba baamwesiga (2By 20:21, 22, 27; w21.11 lup. 16 ¶7)
Googi bw’anaalumba abantu ba Yakuwa mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, abo abassa obwesige mu Yakuwa era abeesiga abo b’akozesa okukulembera abantu be, tebajja kutya kintu kyonna.—2By 20:20.