OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Enteekateeka ey’Okuzzaamu Ababeseri Amaanyi
Buli muntu ayolekagana n’ebizibu ebitali bimu, era nga yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Abakuze mu by’omwoyo, n’abo abalina enkizo ezitali zimu mu kibiina, nabo basobola okuggwaamu amaanyi. (Yob 3:1-3; Zb 34:19) Kiki kye tuyigira ku nteekateeka eyakolebwa okuzzaamu Ababeseri amaanyi?
MULABE VIDIYO “WEESIGE KATONDA,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
- Bizibu ki ab’oluganda ku Beseri bye boolekagana nabyo? 
- Bintu ki ebina ebikolebwa okusobola okubabudaabuda? 
- Abo ababazzaamu amaanyi baganyuddwa batya?