Yobu ng’aliko by’awa abali mu bwetaavu
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Weekoledde Erinnya Eddungi nga Yobu?
Yobu abantu baali bamussaamu ekitiibwa (Yob 29:7-11)
Yobu yali amanyiddwa ng’oyo eyayambanga abo abaabanga mu bwetaavu (Yob 29:12, 13; w02 6/1 lup. 20 ¶19; Laba ekifaananyi ekiri kungulu)
Yobu yayisanga bulungi abalala era yali mwenkanya (Yob 29:14; it-1-E lup. 655 ¶10)
Kirungi okwekolera erinnya eddungi. (w09-E 2/1 lup. 15 ¶3-4) Twekolera erinnya eddungi nga bulijjo tweyisa mu ngeri ennungi.
WEEBUUZE, ‘Abalala bakiraba nti nneeyisa ntya?’