LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w20 Maayi lup. 8-11
  • Bakabaka Abali ku Mbiranye mu Kiseera eky’Enkomerero

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bakabaka Abali ku Mbiranye mu Kiseera eky’Enkomerero
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Similar Material
  • “Kabaka ow’Ebukiikakkono” mu Kiseera eky’Enkomerero
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Yakuwa Abikkula “Ebintu Ebiteekwa Okubaawo Amangu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • “Kabaka ow’Ebukiikakkono” y’Ani Leero?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Ekitabo ky’Okubikkulirwa Kyogera Ki ku Ekyo Ekinaatuuka ku Balabe ba Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
w20 Maayi lup. 8-11

Bakabaka Abali ku Mbiranye mu Kiseera eky’Enkomerero

Obumu ku bunnabbi obulagiddwa ku kipande kino bwogera ku bintu ebyaliwo mu kiseera kye kimu. Bwonna bulaga nti tuli “mu kiseera eky’enkomerero.”​—Dan. 12:4.

Ekipande ekiraga obunnabbi ne b’ani ababadde kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo okuva mu 1870 okutuusa leero.
  • Ekipande 1 ku 4, kiraga obunnabbi obutali bumu obutuukiriziddwa mu kiseera eky’enkomerero n’obunnabbi obwatuukirizibwa wakati wa 1870 ne 1918. Emyaka okuva mu 1914 n’okweyongerayo giyitibwa ennaku ez’enkomerero. Obunnabbi 1: Ensolo ey’emitwe omusanvu ebadde ku nsi okumala ebyasa bingi. Mu kiseera kya Ssematalo I, omutwe ogw’omusanvu ogw’ensolo eyo gufuna ekiwundu. Okuva mu 1917, omutwe ogw’omusanvu guwona era ensolo ewona. Obunnabbi 2: Kabaka ow’ebukiikakkono yeeyoleka mu 1871 ate kabaka ow’ebukiikaddyo yeeyoleka mu 1870. Kabaka ow’ebukiikakkono addamu okulabika mu 1871, nga ye Bugirimaani. Kabaka ow’ebukiikaddyo asooka n’aba nga Bungereza, naye mu 1917 n’aba Obwakabaka Kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika. Obunnabbi 3: Okuva mu myaka gya 1870, Charles T. Russell ne banne bakola ‘ng’omubaka.’ Ku ntandikwa y’emyaka gya 1880, ‘Zion’s Watch Tower’ ekubiriza abagisoma okubuulira amawulire amalungi. Obunnabbi 4: Okuva mu 1914 n’okweyongerayo, kiseera kya makungula. Omuddo gwawulwa ku ŋŋaano. Obunnabbi 5: Okuva mu 1917 n’okweyongerayo, ebigere eby’ekyuma n’ebbumba bitandika okubaawo. Ebirala ebiragiddwa: Ebintu ebibaddewo mu nsi okuva mu 1914 okutuuka mu 1918, Ssematalo I. Ebintu ebyakwata ku bantu ba Yakuwa: Okuva mu 1914 okutuuka mu 1918, Abayizi ba Bayibuli mu Bungereza ne mu Bugirimaani basibibwa. Mu 1918, ab’oluganda ku kitebe ekikulu mu Amerika basibibwa.
    Obunnabbi 1.

    Ebyawandiikibwa Kub. 11:7; 12:13, 17; 13:1-8, 12

    Obunnabbi “Ensolo” efuga abantu ku nsi okumala ebyasa bingi. Mu kiseera eky’enkomerero omutwe ogw’omusanvu gufuna ekiwundu. Oluvannyuma ekiwundu ekyo kiwona era “ensi yonna” egoberera ensolo eyo. Sitaani akozesa ensolo eyo “okulwanyisa ab’ezzadde ly’omukazi abaasigalawo.”

    Okutuukirizibwa Oluvannyuma lw’Amataba, gavumenti z’abantu zaatandikibwawo era nga ziwakanya obufuzi bwa Yakuwa. Nga wayise ebyasa bingi, mu kiseera kya Ssematalo I, obufuzi bwa Bungereza bwanafuwa nnyo. Bwaddamu okuba obw’amaanyi bwe bwegattibwako Amerika. Nnaddala mu kiseera eky’enkomerero, Sitaani akozesa enteekateeka ye yonna ey’eby’obufuzi okuyigganya abantu ba Katonda.

  • Obunnabbi 2.

    Ekyawandiikibwa Dan. 11:25-45

    Obunnabbi Akanyoolagano wakati wa kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo mu kiseera eky’enkomerero.

    Okutuukirizibwa Bugirimaani n’Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza ne Amerika zaavuganya. Mu 1945, Soviet Union n’ensi ezaali zigiwagira zaafuuka kabaka ow’ebukiikakkono. Mu 1991, Soviet Union yasattulukuka, era nga wayise ekiseera, Russia n’ensi ezigiwagira zaafuuka kabaka ow’ebukiikakkono.

  • Obunnabbi 3.

    Ebyawandiikibwa Is. 61:1; Mal. 3:1; Luk. 4:18

    Obunnabbi Yakuwa atuma “omubaka” we ‘okwerula’ ekkubo ng’Obwakabaka bwa Masiya bugenda okussibwawo. Omubaka oyo atandika “okubuulira abawombeefu amawulire amalungi.”

    Okutuukirizibwa Okuva mu myaka gya 1870 n’okweyongerayo, C. T. Russell ne banne baafuba nnyo okunnyonnyola amazima agali mu Bayibuli. Mu myaka gya 1880, baatandika okukikkaatiriza nti abaweereza ba Katonda balina okubuulira. Baawandiika ebitundu ebyalina emitwe gamba nga “Ababuulizi 1,000 Beetaagibwa” ne “Bafukiddwako Amafuta Okubuulira.”

  • Obunnabbi 4.

    Ebyawandiikibwa Mat. 13:24-30, 36-43

    Obunnabbi Omulabe asiga omuddo mu nnimiro y’eŋŋaano era omuddo gulekebwa okukulira awamu n’eŋŋaano ne gugibuutikira. Ekiseera ky’amakungula bwe kituuka omuddo gwawulwa ku ŋŋaano.

    Okutuukirizibwa Okuva ng’emyaka gya 1800 ginaatera okuggwaako, enjawulo wakati w’Abakristaayo ab’amazima n’ab’obulimba yatandika okulabika. Mu kiseera eky’enkomerero, Abakristaayo ab’amazima bakuŋŋaanyizibwa ne baawulwa ku Bakristaayo ab’obulimba.

  • Obunnabbi 5.

    Ebyawandiikibwa Dan. 2:31-33, 41-43

    Obunnabbi Ebigere eby’ekyuma n’ebbumba eby’ekibumbe ekyakolebwa mu bintu eby’enjawulo.

    Okutuukirizibwa Ebbumba likiikirira abantu aba bulijjo abafugibwa Bungereza n’Amerika naye nga bawakanya gavumenti ezo. Olw’okuba abantu abo bawakanya gavumenti ezo, tezisobola kukozesa maanyi gaazo mu bujjuvu.

  • Ekipande 2 ku 4, kiraga obunnabbi obutuukiriziddwa mu nnaku ez’enkomerero era kiraga ebyaliwo okuva awo nga mu 1919 okutuuka mu 1945. Kabaka ow’ebukiikakkono ye Bugirimaani okutuusa mu 1945. Kabaka ow’ebukiikaddyo bwe Bufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika. Obunnabbi 6: Mu 1919, abaafukibwako amafuta bakuŋŋaanyizibwa mu kibiina ekizziddwawo. Okuva mu 1919 n’okweyongerayo, omulimu gw’okubuulira gwongerwamu amaanyi era gugenda mu maaso. Obunnabbi 7: Mu 1920, Ekinywi ky’Amawanga kitandikibwawo era kyeyongera okukola okutuusa ku ntandikwa ya Ssematalo II. Ebirala ebiragiddwa: Obunnabbi 1, ensolo ey’emitwe omusanvu yeeyongera okubaawo. Obunnabbi 5, ebigere eby’ekyuma n’ebbumba byeyongera okubaawo. Ebyaliwo mu nsi okuva mu 1939 okutuuka mu 1945, Ssematalo II. Ebintu ebyakwata ku bantu ba Yakuwa: Mu Bugirimaani okuva mu 1939 okutuuka mu 1945, Abajulirwa abasukka mu 11,000 baasibibwa. Mu Bungereza okuva mu 1939 okutuuka mu 1945, Abajulirwa nga 1,600 baasibibwa. Mu Amerika okuva mu 1940 okutuuka mu 1944, Abajulirwa baalumbibwa ebibinja by’abantu emirundi egisukka mu 2,500.
    Obunnabbi 6.

    Ebyawandiikibwa Mat. 13:30; 24:14, 45; 28:19, 20

    Obunnabbi “Eŋŋaano” ekuŋŋaanyizibwa mu “tterekero” era “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” alondebwa okulabirira “ab’omu nju.” ‘Amawulire amalungi ag’Obwakabaka’ gatandika okubuulirwa “mu nsi yonna.”

    Okutuukirizibwa Mu 1919 omuddu omwesigwa yalondebwa okulabirira abantu ba Katonda. Okuva mu kiseera ekyo n’okweyongerayo Abayizi ba Bayibuli baayongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira. Leero, Abajulirwa ba Yakuwa babuulira mu nnimi ezisukka mu 200 era bafulumya ebitabo mu nnimi ezisukka mu 1,000.

  • Obunnabbi 7.

    Ebyawandiikibwa Dan. 12:11; Kub. 13:11, 14, 15

    Obunnabbi Ensolo ey’amayembe abiri ewoma omutwe mu kussaawo “ekifaananyi ky’ensolo,” era ewa “ekifaananyi ky’ensolo omukka.”

    Okutuukirizibwa Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza ne Amerika bwe bwawoma omutwe mu kussaawo Ekinywi ky’Amawanga. Amawanga amalala geegatta ku kibiina ekyo. Oluvannyuma, kabaka ow’ebukiikakkono naye yeegatta ku Kinywi ky’Amawanga, naye okumala ekiseera kitono, okuva mu 1926 okutuuka mu 1933. Okufaananako Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekyadda mu kifo kyakyo, Ekinywi ky’Amawanga abantu baakisuubira okukola ekintu ekisobola okukolebwa Obwakabaka bwa Katonda bwokka.

  • Ekipande 3 ku 4, kiraga obunnabbi obutuukiriziddwa mu nnaku ez’enkomerero era kiraga ebyaliwo okuva mu 1945 okutuuka mu 1991. Soviet Union n’ensi ezaali zigiwagira ze zaali kabaka ow’ebukiikakkono okutuusa mu 1991, era oluvannyuma ye Russia n’ensi ezigiwagira. Kabaka ow’ebukiikaddyo bwe Bufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika. Obunnabbi 8: Ekikka oluvannyuma lwa bbomu y’amaanyi ga nukiriya okubwatuka, ekiraga okuzikiriza okwakolebwa Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika. Obunnabbi 9: Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kitandikibwawo mu 1945, ne kidda mu kifo ky’Ekinywi ky’Amawanga. Ebirala ebiragibwa: Obunnabbi 1, ensolo ey’emitwe omusanvu yeeyongera okubaawo. Obunnabbi 5, ebigere eby’ekyuma n’ebbumba byeyongera okubaawo. Obunnabbi 6, mu 1945 waaliwo ababuulizi abasukka mu 156,000. Mu 1991 waaliwo ababuulizi abasukka mu 4,278,000. Ebintu ebyakwata ku bantu ba Yakuwa: Mu Soviet Union okuva mu 1945 okutuuka mu myaka gya 1950, Abajulirwa ba Yakuwa nkumi na nkumi baawaŋŋangusibwa e Siberia.
    Obunnabbi 8.

    Ekyawandiikibwa Dan. 8:23, 24

    Obunnabbi Kabaka atunuza obukambwe ‘azikiriza mu ngeri ey’ekitalo.’

    Okutuukirizibwa Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza ne Amerika busse abantu bangi era bwonoonye ebintu bingi. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera kya Ssematalo II, Amerika yaleeta okuzikiriza okw’amaanyi bwe yasuula bbomu bbiri ez’amaani ga nukiriya ku mulabe wa Bungereza ne Amerika.

  • Obunnabbi 9.

    Ebyawandiikibwa Dan. 11:31; Kub. 17:3, 7-11

    Obunnabbi ‘Ensolo emmyufu’ erina amayembe ekkumi eva mu bunnya era ye kabaka ow’omunaana. Mu kitabo kya Danyeri, kabaka oyo ayitibwa “eky’omuzizo ekizikiriza.”

    Okutuukirizibwa Mu kiseera kya Ssematalo II, Ekinywi ky’Amawanga kyalekera awo okukola. Oluvannyuma lw’olutalo olwo, Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ‘kyassibwawo.’ Okufaananako Ekinywi ky’Amawanga, Ekibiina ky’Amawanga Amagatte abantu bakisuubira okukola ekintu ekisobola okukolebwa Obwakabaka bwa Katonda bwokka. Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kijja kulumba amadiini.

  • Ekipande 4 ku 4, kiraga obunnabbi obutuukirizibwa mu nnaku ez’enkomerero era kiraga ebintu ebibaawo mu kiseera kino okutuukira ddala ku lutalo Amagedoni. Kabaka ow’ebukiikakkono ye Russia n’ensi ezigiwagira. Kabaka ow’ebukiikaddyo bwe Bufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza na Amerika. Obunnabbi 10: Abafuzi b’ensi balangirira ‘emirembe n’obutebenkevu.’ Oluvannyuma, ekibonyoobonyo ekinene kitandika. Obunnabbi 11: Amawanga galumba amadiini ag’obulimba. Obunnabbi 12: Gavumenti z’ensi zirumba abantu ba Katonda. Abaafukibwako amafuta abakyasigaddewo batwalibwa mu ggulu. Obunnabbi 13: Amagedoni. Oyo atudde ku mbalaasi enjeru amaliriza okuwangula kwe. Ensolo ey’emitwe omusanvu ezikirizibwa; ejjinja likuba ebigere eby’ekyuma n’ebbumba eby’ekibumbe ne libibetenta. Ebirala ebiragibwa: Obunnabbi 1, ensolo ey’emitwe omusanvu yeeyongera okubaawo okutuusa ku Amagedoni. Obunnabbi 5, ebigere eby’ekyuma n’ebbumba byeyongera okubaawo okutuusa ku Amagedoni. Obunnabbi 6, leero waliwo ababuulizi abasukka mu 8,580,000. Ebintu ebikutte ku bantu ba Yakuwa: Mu 2017, ab’obuyinza mu Russia baasiba mu kkomera Abajulirwa ba Yakuwa era baawamba ofiisi y’ettabi.
    Obunnabbi 10 ne 11.

    Ebyawandiikibwa 1 Bas. 5:3; Kub. 17:16

    Obunnabbi Amawanga galangirira ‘emirembe n’obutebenkevu,’ era “amayembe ekkumi” “n’ensolo” birumba “malaaya” ne bimuzikiriza. Oluvannyuma amawanga gazikirizibwa.

    Okutuukirizibwa Amawanga gayinza okulangirira nti galeeseewo emirembe n’obutebenkevu mu nsi. Amawanga agawagira Ekibiina ky’Amawanga amagatte gajja kusaanyaawo amadiini ag’obulimba. Eyo y’ejja okuba entandikwa y’ekibonyoobonyo ekinene. Ekibonyoobonyo ekyo kijja kukoma Yesu bw’anaazikiriza ekitundu ekinaaba kikyasigaddewo eky’ensi ya Sitaani ku Amagedoni.

  • Obunnabbi 12.

    Ebyawandiikibwa Ezk. 38:11, 14-17; Mat. 24:31

    Obunnabbi Googi alumba ensi y’abantu ba Katonda. Oluvannyuma bamalayika bakuŋŋaanya “abalonde.”

    Okutuukirizibwa Kabaka ow’ebukiikakkono awamu ne gavumenti endala ez’ensi bajja kulumba abantu ba Katonda. Nga wayise akaseera ng’obulumbaganyi obwo butandise, abaafukibwako amafuta abanaaba bakyasigaddewo ku nsi bajja kutwalibwa mu ggulu.

  • Obunnabbi 13.

    Ebyawandiikibwa Ezk. 38:18-23; Dan. 2:34, 35, 44, 45; Kub. 6:2; 16:14, 16; 17:14; 19:20

    Obunnabbi Oyo ‘atudde ku mbalaasi enjeru’ ‘amaliriza okuwangula kwe,’ ng’azikiriza Googi n’eggye lye. “Ensolo” ‘esuulibwa mu nnyanja eyaka omuliro,’ era ejjinja libetenta ekibumbe ekinene.

    Okutuukirizibwa Yesu, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, anunula abantu ba Katonda. Ng’ali wamu ne 144,000 awamu ne bamalayika, ajja kuzikiriza amawanga gonna aganaalumba abantu ba Katonda. Eyo y’ejja okuba enkomerero y’ensi ya Sitaani.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share