LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 6/15 lup. 14-18
  • Yakuwa Abikkula “Ebintu Ebiteekwa Okubaawo Amangu”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Abikkula “Ebintu Ebiteekwa Okubaawo Amangu”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • BUNGEREZA N’AMERIKA ZIFUUKA ZA MAANYI
  • OBUFUZI KIRIMAANYI OBWA BUNGEREZA N’AMERIKA N’EBIGERE EBY’EKYUMA N’EBBUMBA
  • BUNGEREZA N’AMERIKA N’ENSOLO EY’AMAYEMBE ABIRI
  • EKIFAANANYI KY’ENSOLO KIZIKIRIZA MALAAYA
  • ENSOLO ZIZIKIRIZIBWA
  • Ekitabo ky’Okubikkulirwa Kyogera Ki ku Ekyo Ekinaatuuka ku Balabe ba Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Yakuwa Ye “Mubikkuzi w’Ebyama”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 6/15 lup. 14-18

Yakuwa Abikkula “Ebintu Ebiteekwa Okubaawo Amangu”

“Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebintu ebiteekwa okubaawo amangu.”​—KUB. 1:1.

WANDIZZEEMU OTYA?

Bitundu ki eby’ekifaananyi ekinene ebikiikirira Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika?

Kwolesebwa ki Yokaana kwe yafuna okulaga nti Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika bwe buwa ekibiina ky’Amawanga Amagatte obuyinza?

Okwolesebwa kwa Danyeri n’okwa Yokaana kulaga kutya nti gavumenti z’abantu zonna zijja kuzikirizibwa?

1, 2. (a) Obunnabbi bwa Danyeri n’obwa Yokaana butuyamba kutegeera ki? (b) Emitwe gy’ensolo omukaaga egisooka gikiikirira ki?

BWE tugeraageranya obunnabbi bwa Danyeri n’obwa Yokaana, tusobola okutegeera ebintu bingi ebiriwo leero n’ebyo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Okwolesebwa kwa Yokaana okukwata ku nsolo, obunnabbi bwa Danyeri obukwata ku nsolo ey’entiisa eyalina amayembe ekkumi, n’ebyo Danyeri bye yayogera ku kifaananyi ekinene Nebukadduneeza kye yalaba mu kirooto bituyamba kutegeera ki? Era okutegeera obulungi obunnabbi obwo kisaanidde kutuleetera kukola ki?

2 Mu kitundu ekyayita, twalaba ebikwata ku kwolesebwa kwa Yokaana okukwata ku nsolo. (Kub., sul. 13) Twalaba nti emitwe gy’ensolo omukaaga egisooka gikiikirira Misiri, Bwasuli, Babulooni, Bumeedi ne Buperusi, Buyonaani, ne Rooma. Obufuzi obwo bwonna bwalwanyisa ezzadde ly’omukazi. (Lub. 3:15) Yokaana we yawandiikira ebyo bye yalaba mu kwolesebwa kwe yafuna, Rooma, omutwe gw’ensolo ogw’omukaaga, bwe bwali obufuzi kirimaanyi, era Rooma yasigala nga bufuzi kirimaanyi okumala ebyasa bingi. Naye obunnabbi bulaga nti waliwo obufuzi obukiikirirwa omutwe gw’ensolo ogw’omusanvu obwandizze mu kifo kya Rooma. Obufuzi obwo bwe buliwa, era bwayisa butya ezzadde ly’omukazi?

BUNGEREZA N’AMERIKA ZIFUUKA ZA MAANYI

3. Ensolo ey’entiisa eyalina amayembe ekkumi ekiikirira ki, ate amayembe gaayo ekkumi gakiikirira ki?

3 Tusobola okutegeera ekyo omutwe ogw’omusanvu ogw’ensolo eyogerwako mu Okubikkulirwa essuula 13 kye gukiikirira, bwe tugeraageranya ebyo Yokaana bye yalaba mu kwolesebwa n’ensolo ey’entiisa ey’amayembe ekkumi Danyeri gye yalaba mu kwolesebwa.a (Soma Danyeri 7:7, 8, 23, 24.) Ensolo Danyeri gye yalaba ekiikirira Obufuzi Kirimaanyi obwa Rooma. (Laba ekipande ku lupapula 12-13.) Mu kyasa eky’okutaano E.E., obwakabaka bwa Rooma bwatandika okweyawulayawulamu. Amayembe ekkumi ag’ensolo eyo ey’entiisa gakiikirira obwakabaka obwava mu bwakabaka bwa Rooma.

4, 5. (a) Kiki ejjembe ettono kye lyakola? (b) Omutwe gw’ensolo ogw’omusanvu gukiikirira ki?

4 Mu bunnabbi bwa Danyeri obukwata ku nsolo ey’amayembe ekkumi, ejjembe eddala “ettono” lyamera ne lisimbulawo amayembe asatu. Ekyo kyaliwo Bungereza, eyaliko ettwale ly’obwakabaka bwa Rooma, bwe yafuuka eggwanga ery’amaanyi ennyo. Ekyasa ekya 17 bwe kyali tekinnatuuka, Bungereza teyali ya maanyi nnyo. Naye Sipeyini, Nazalandi, ne Bufalansa, amawanga amalala agaali mu ttwale lya Rooma, gaali ga maanyi okusinga Bungereza. Bungereza yagenda erwanyisa amawanga ago limu ku limu, n’ekyavaamu, yatutumuka okugasinga. Mu kyasa ekya 18, Bungereza yali atandise okufuuka obwakabaka obw’amaanyi. Naye mu kiseera ekyo Bungereza yali tennafuuka mutwe gw’ensolo ogw’omusanvu.

5 Wadde nga Bungereza yali efuuse obwakabaka obw’amaanyi, amatwale gaayo ag’omu Amerika ow’ebukiikakkono gaafuna obwetwaze. Wadde kyali kityo, Bungereza teyaziyiza Amerika kufuuka ggwanga lya maanyi, era yakozesa eggye lyayo ery’oku mazzi okuwa Amerika obukuumi. Olunaku lwa Mukama waffe we lwatandikira mu 1914, Bungereza bwe bwali obwakabaka obwali busingayo okuba obunene mu byafaayo, ate Amerika ye yali esinga okuba n’amakolero amangi mu nsi yonna.b Mu kiseera kya Ssematalo I, Amerika ne Bungereza zaatandika okukolagana mu ngeri ey’enjawulo. Mu kiseera ekyo Bungereza n’Amerika zaafuuka Obufuzi Kirimaanyi obukiikirirwa omutwe gw’ensolo ogw’omusanvu. Omutwe ogwo gwayisa gutya ezzadde ly’omukazi?

6. Omutwe ogw’omusanvu gwayisa gutya abantu ba Katonda?

6 Olunaku lwa Mukama waffe bwe lwali lwakatandika, omutwe ogw’omusanvu gwatandika okulwanyisa abantu ba Katonda, kwe kugamba, baganda ba Kristo abaali ku nsi. (Mat. 25:40) Yesu yalaga nti mu kiseera ky’okubeerawo kwe wandibaddewo ensigalira y’ezzadde ly’omukazi era bandibadde bakola omulimu gwe yabalekera. (Mat. 24:45-47; Bag. 3:26-29) Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika bwalwanyisa abatukuvu abo. (Kub. 13:3, 7) Mu kiseera kya Ssematalo I, obufuzi obwo bwayigganya abantu ba Katonda, ne buwera ebitabo byabwe ebimu, era ne busiba mu kkomera abo abaali bakiikirira omuddu omwesigwa. Omutwe gw’ensolo ogw’omusanvu kumpi gwayimiriza, oba gwatta, omulimu gw’okubuulira okumala ekiseera. Naye Yakuwa yali amanyi nti ekyo kyandibaddewo era yali yakibuulira Yokaana. Ate era Katonda yagamba Yokaana nti abalala abali mu zzadde ly’omukazi bandizzeemu obulamu, oba bandizzeemu okukola omulimu gw’okubuulira. (Kub. 11:3, 7-11) Ebyafaayo by’abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino biraga nti ebintu ebyo byatuukirira.

OBUFUZI KIRIMAANYI OBWA BUNGEREZA N’AMERIKA N’EBIGERE EBY’EKYUMA N’EBBUMBA

7. Kitundu ki eky’ekifaananyi ekinene ekikiikirira ekintu kye kimu ng’omutwe gw’ensolo ogw’omusanvu?

7 Ebigere by’ekifaananyi ekinene bikiikirira ekintu kye kimu omutwe gw’ensolo ogw’omusanvu kye gukiikirira. Byombi bikiikirira Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika. Bungereza lyali ttwale lya Rooma ate Amerika lyali ttwale lya Bungereza. N’olwekyo, tuyinza okugamba nti Amerika nayo yava mu Rooma. Naye ebigere by’ekifaananyi bya kyuma ekitabuddwamu ebbumba. (Soma Danyeri 2:41-43.) Obunnabbi obwo bwogera ku kiseera omutwe gw’ensolo ogw’omusanvu, Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika, we bwanditandikidde okufuga. Okuva bwe kiri nti ekintu ekiba kikoleddwa mu kyuma ekitabuddwamu ebbumba kiba kinafu bw’okigeraageranya ku ekyo ekiba kikoleddwa mu kyuma kyokka, Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika si bwa maanyi nnyo ng’obwa Rooma. Lwaki tugamba bwe tutyo?

8, 9. (a) Obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu bwayoleka butya amaanyi ng’ag’ekyuma? (b) Ebbumba eriri mu bigere by’ekifaananyi kye ki?

8 Ebiseera ebimu, omutwe ogw’omusanvu gwayoleka amaanyi ng’ag’ekyuma. Ng’ekyokulabirako, omutwe ogwo gwayoleka amaanyi gaagwo bwe gwawangula Ssematalo I. Era gweyongera okwoleka amaanyi ng’ag’ekyuma mu Ssematalo II.c Ate era oluvannyuma lwa Ssematalo II omutwe ogw’omusanvu gweyongera okwoleka amaanyi ng’ag’ekyuma ne ku mirundi emirala mingi. Kyokka, okuviira ddala obufuzi obwo lwe bwatandikawo, ekyuma kibadde kitabuddwamu ebbumba.

9 Okumala emyaka mingi, abaweereza ba Yakuwa babadde baagala nnyo okumanya ekyo ebigere by’ekifaananyi kye bikiikirira. Danyeri 2:41 walaga nti ebigere eby’ekyuma ekitabuddwamu ebbumba bikiikirira “obwakabaka” bwa mulundi gumu gwokka, so si bungi. N’olwekyo, okuba nti ekyuma kitabuddwamu ebbumba kiraga nti waliwo ebintu ebireetera Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika okuba obunafu bw’obugeraageranya ku bwakabaka bwa Rooma, obwayogerwako ng’ekyuma ekitatabuddwamu kintu kirala kyonna. Obunnabbi bwa Danyeri bulaga nti ebbumba lye ‘zzadde ly’abantu,’ oba abantu aba bulijjo. (Dan. 2:43) Abantu abalwanirira eddembe ly’obuntu n’eddembe ly’abakozi, n’abo abaagala okufuna obwetwaze, banafuyizza Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika. Abantu aba bulijjo balemesezza obufuzi obwo okwoleka mu bujjuvu amaanyi ng’ag’ekyuma. Ate era waliwo ebibiina ebiwakanya gavumenti bingi. Era bwe wabaawo okulonda abakulembeze, abo abawangula bawangulira ku bululu butono nnyo ne baba nga tebalina buyinza bwa nkomeredde kutuukiriza bintu bye baba baagala okukola. Nnabbi Danyeri yagamba nti: “Obwakabaka bwe buliba bwe butyo, ekitundu kya maanyi, n’ekitundu kimenyefu [“kinafu,” NW].”​—Dan. 2:42; 2 Tim. 3:1-3.

10, 11. (a) Kiki ekinaatuuka ku “bigere”? (b) Kiki kye tuyinza okwogera ku muwendo gw’obugere bw’ekifaananyi ekinene?

10 Ne mu kyasa kino ekya 21, Bungereza n’Amerika zeeyongedde okukolagana mu ngeri ey’enjawulo, naddala mu nsonga enkulu. Obunnabbi obukwata ku kifaananyi ekinene n’obwo obukwata ku nsolo bulaga nti tewali bufuzi bulala kirimaanyi bujja kudda mu kifo ky’Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika. Wadde ng’obufuzi obwo kirimaanyi obusembayo bunafu bw’obugeraageranya ku bufuzi bwa Rooma, obufuzi obwo tebujja kuvaawo bwokka.

11 Omuwendo gw’obugere gulina amakulu gonna? Lowooza ku kino: Mu kwolesebwa okulala, Danyeri ayogera ku miwendo gy’ebintu ebimu, gamba ng’omuwendo gw’amayembe g’ensolo ezitali zimu. Emiwendo egyo girina amakulu. Kyokka, Danyeri bw’aba ayogera ku kifaananyi ekinene, tayogera ku muwendo gwa bugere. N’olwekyo, kirabika nti omuwendo gw’obugere tegulina makulu, era ng’omuwendo gw’emikono, engalo, amagulu, n’ebigere nabyo bwe bitalina makulu. Danyeri yagamba nti ebigere byandibadde bya kyuma ekitabuddwamu ebbumba. Okusinziira ku ebyo Danyeri bye yayogera, kyeyoleka kaati nti Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika bwe bujja okuba nga bufuga mu kiseera “ejjinja,” erikiikirira Obwakabaka bwa Katonda, we linaakubira ebigere by’ekifaananyi.​—Dan. 2:45.

BUNGEREZA N’AMERIKA N’ENSOLO EY’AMAYEMBE ABIRI

12, 13. Ensolo ey’amayembe abiri ekiikirira ki, era kiki ky’ekola?

12 Wadde ng’Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika bulinga ekyuma ekitabuddwamu ebbumba, okwolesebwa Yesu kwe yawa Yokaana kulaga nti obufuzi obwo bwandibaddeko ekintu eky’amaanyi kye bukola mu nnaku ez’oluvannyuma. Yokaana yalaba ensolo eyalina amayembe abiri eyali eyogera ng’ogusota. Ensolo eyo ekiikirira ki? Okuva bwe kiri nti erina amayembe abiri, ekiikirira gavumenti bbiri ezikolera awamu. Ensolo eyo nayo ekiikirira Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika, naye nga bulina ekintu eky’enjawulo kye bukola.​—Soma Okubikkulirwa 13:11-15.

13 Ensolo eyo ey’amayembe abiri egamba abantu okukola ekifaananyi ky’ensolo ey’emitwe omusanvu. Yokaana yawandiika nti ekifaananyi ky’ensolo kyandirabise, ne kibula, ate ne kiddamu okulabika. Ekyo kyennyini kye kyatuuka ku kibiina ekyatandikibwawo oluvannyuma lwa Ssematalo I. Bungereza n’Amerika zaakubiriza amawanga amalala okwegatta ku kibiina ekyo. Ekibiina ekyo kyatandikibwawo okusobola okugatta amawanga gonna n’okugakiikirira, era kyali kiyitibwa Ekinywi ky’Amawanga.d Ssematalo II bwe yatandika, ekibiina ekyo kyabula. Mu kiseera ky’olutalo olwo, abantu ba Katonda baagamba nti okusinziira ku bunnabbi obuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa, ekibiina ekyo kyali kya kuddamu okulabika. Ekyo kyennyini kye kyaliwo, era kati ekibiina ekyo kiyitibwa ekibiina ky’Amawanga Amagatte.​—Kub. 17:8.

14. Lwaki ekifaananyi ky’ensolo kiyitibwa “kabaka ow’omunaana”?

14 Yokaana yagamba nti ekifaananyi ky’ensolo ye “kabaka ow’omunaana.” Lwaki yakiyita kabaka? Ekifaananyi ekyo tekikiikirirwa mutwe gwonna ku nsolo ey’emitwe omusanvu, wabula kifaananyi bufaananyi eky’ensolo eyo. Obuyinza bwonna ekifaananyi ekyo bwe kirina buva eri amawanga agali mu kibiina ky’Amawanga Amagatte, naddala ago agasinga okukiwagira, Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika. (Kub. 17:10, 11) Yokaana akiyita “kabaka” kubanga kiweebwa obuyinza okukola ekintu ekijja okukwata ku nsi yonna.

EKIFAANANYI KY’ENSOLO KIZIKIRIZA MALAAYA

15, 16. Malaaya akiikirira ki, era kiki ekituuse ku madiini leero?

15 Yokaana era ayogera ku malaaya atudde ku nsolo emmyufu. Ensolo eyo kye kifaananyi ky’ensolo ey’emitwe omusanvu. Malaaya oyo ayitibwa “Babulooni Ekinene.” (Kub. 17:1-6) Malaaya oyo akiikirira amadiini gonna ag’obulimba, omuli n’amadiini ga Kristendomu. Amadiini ag’obulimba gakiraze nti gawagira ekifaananyi ky’ensolo era gagezezzaako n’okukiwa obulagirizi.

16 Kyokka mu kiseera ky’olunaku lwa Mukama waffe, amazzi ga Babulooni Ekinene gagenze gakalira. Amazzi ago be bantu abali mu Babulooni ekinene. (Kub. 16:12; 17:15) Ng’ekyokulabirako, ekifaananyi ky’ensolo bwe kyali kyakalabika, amadiini ga Kristendomu gaalina abagoberezi bangi mu nsi za Bulaaya. Naye leero, abantu bangi tebakyassa kitiibwa mu madiini ago awamu n’abakulembeze baago. Abantu abamu bagamba nti amadiini gakoze kinene nnyo mu kutabangula emirembe mu nsi. Ate abalala batuuse n’okugamba nti amadiini gonna gasaanidde okuwerebwa.

17. Kiki ekinaatera okutuuka ku madiini ag’obulimba, era lwaki?

17 Kyokka, amadiini ag’obulimba tegajja kuvaawo mpolampola. Malaaya ajja kweyongera okuba ow’amaanyi n’okuleetera bakabaka okukola by’ayagala okutuusa Katonda lw’anaateeka ekirowoozo mu mitima gya bakabaka okumuzikiriza. (Soma Okubikkulirwa 17:16, 17.) Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kuleetera gavumenti z’ensi, ezikiikirirwa ekibiina ky’Amawanga Amagatte, okulumba amadiini ag’obulimba. Zijja kuzikiriza malaaya awamu n’eby’obugagga bye. Emyaka ng’abiri oba asatu emabega, abantu abasinga obungi baali tebalowooza nti ekiseera kyandituuse amadiini ne gaba nga tegakyassibwamu kitiibwa era nga tegakyalina maanyi. Naye kati ekyo kigenze kikyuka. Kyokka amadiini ag’obulimba tegajja kuvaawo mpolampola, wabula gajja kuzikirizibwa omulundi gumu.​—Kub. 18:7, 8, 15-19.

ENSOLO ZIZIKIRIZIBWA

18. (a) Kiki ensolo ky’ejja okukola, era biki ebinaavaamu? (b) Okusinziira ku Danyeri 2:44, Obwakabaka bwa Katonda bunaazikiriza bwakabaka ki? (Laba akasanduuko ku lupapula 17.)

18 Oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba, ensolo, ng’eno ye nteekateeka ya Sitaani ey’eby’obufuzi, ejja kwagala okulumba Obwakabaka bwa Katonda. Olw’okuba bakabaka b’ensi tebajja kusobola kulumba Bwakabaka obwo mu ggulu, bajja kusalawo okulwanyisa abantu ababuwagira abanaaba ku nsi. Ekyo kye kijja okuvaako olutalo lwa Katonda. (Kub. 16: 13-16; 17:12-14) Danyeri alina ekintu kye yayogera ku lutalo olwo. (Soma Danyeri 2:44.) Ensolo eyogerwako mu Okubikkulirwa 13:1, ekifaananyi kyayo, awamu n’ensolo ey’amayembe abiri bijja kuzikirizibwa.

19. Tuli bakakafu ku ki, era kiki kye tulina okukola kati?

19 Mu kiseera kino omutwe ogw’omusanvu gwe gufuga. Tewali mutwe mulala gwonna gujja kuguddirira. Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika bwe bujja okuba nga bwe bufuga mu kiseera amadiini ag’obulimba we ganaazikiririzibwa. Ebyo Danyeri ne Yokaana bye baayogera bituukiridde ddala. N’olwekyo, tuli bakakafu nti mu kiseera ekitali kya wala amadiini ag’obulimba gajja kuzikirizibwa era nti n’olutalo Kalumagedoni luli kumpi. Katonda atubuulidde ebintu ebyo nga bukyali. Tunassaayo omwoyo ku kulabula okuli mu bunnabbi obwo? (2 Peet. 1:19) Kino kye kiseera okulaga nti tuli ku ludda lwa Yakuwa era nti tuwagira Obwakabaka bwe.​—Kub. 14:6, 7.

[Obugambo obuli wansi]

a Mu Bayibuli, nnamba kkumi etera okutegeeza omuwendo omujjuvu. N’olwekyo, amayembe ekkumi gakiikirira obwakabaka bwonna obwava mu bwakabaka bwa Rooma.

b Wadde ng’obwakabaka bwa Bungereza n’eggwanga ly’Amerika bibaddewo okuviira ddala mu kyasa ekya 18, okwolesebwa Yokaana kwe yafuna kwalaga nti Bungereza n’Amerika zandifuuse obufuzi kirimaanyi ku ntandikwa y’olunaku lwa Mukama waffe. Ebintu Yokaana bye yalaba mu kwolesebwa okuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa byali bya kutuukirira mu “lunaku lwa Mukama waffe.” (Kub. 1:10) Bungereza n’Amerika zaafuuka obufuzi kirimaanyi obw’omusanvu mu kiseera kya Ssematalo I.

c Danyeri yayogera ku kuzikiriza okw’amaanyi kabaka oyo kwe yandireeseewo mu kiseera kya Ssematalo II, ng’agamba nti: “Alireeta okuzikiriza okw’entiisa.” (Dan. 8:24, Bayibuli ey’Oluganda eya 2003) Ng’ekyokulabirako, Amerika yasuula bbomu bbiri ez’amaanyi ga nukiriya ku mulabe w’Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika. Bbomu ezo zaasaanyawo ebintu awamu n’obulamu bw’abantu ku kigero ekitabangawo.

d Laba ekitabo Revelation​—Its Grand Climax at Hand! olupapula 240, 241, 253.

[Akasanduuko akali ku lupapula 17]

“OBWAKABAKA OBWO BWONNA” OBWOGERWAKO MU DANYERI 2:44 BWE BULIWA?

Obunnabbi obuli mu Danyeri 2:44 bugamba nti Obwakabaka bwa Katonda “bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna.” Obunnabbi obwo bukwata ku bwakabaka obwo bwokka obukiikirirwa ebitundu by’ekifaananyi ekinene.

Ate kiri kitya ku gavumenti z’abantu endala zonna? Obunnabbi obuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa butuyamba okufuna eky’okuddamu. Obunnabbi obwo bulaga nti “bakabaka b’ensi yonna etuuliddwamu” bajja kukuŋŋaanyizibwa okulwana ne Yakuwa ku “lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.” (Kub. 16:14; 19:19-21) N’olwekyo, ng’oggyeko obwakabaka obukiikirirwa ebitundu by’ekifaananyi ekinene, ne gavumenti z’abantu endala zonna zijja kuzikirizibwa ku Kalumagedoni.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share