LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Noovemba lup. 31
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Similar Material
  • Ekitabo ky’Okubikkulirwa Kyogera Ki ku Ekyo Ekinaatuuka ku Balabe ba Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Totya Nsolo ez’Entiisa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Yakuwa Abikkula “Ebintu Ebiteekwa Okubaawo Amangu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Noovemba lup. 31

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

“Ekirowoozo” Yakuwa ky’ajja okuteeka mu mitima gy’abafuzi mu biseera eby’omu maaso awo kye kiruwa?

Okubikkulirwa 17:​16, 17 bwe waba woogera ku ngeri ekibonyoobonyo ekinene gye kinaatandikamu wagamba nti: “Amayembe ekkumi g’olabye era n’ensolo, birikyawa malaaya, birimuzikiriza, birimuleka bukunya, birirya omubiri gwe era birimwokera ddala omuliro. Katonda yakiteeka mu mitima gyabyo okutuukiriza ekirowoozo kye, kwe kugamba, okutuukiriza ekirowoozo kyabyo nga biwa ensolo obwakabaka bwabyo.” Ebitabo byaffe bizze bikiraga nti “ekirowoozo” Yakuwa ky’agenda okuteeka mu mitima gy’abafuzi kwe kuzikiriza amadiini ag’obulimba.

Kyokka twetaaga okukyusa mu ngeri gye tubadde tutegeeramu ensonga eyo. “Ekirowoozo” Yakuwa ky’agenda okuteeka mu mitima gy’abafuzi kwe kubaleetera okuwa ‘ensolo obwakabaka bwabwe.’ Okutegeera engeri ekyo gye kijja okutuukiriramu, lowooza ku bibuuzo bino wammanga.

Baani aboogerwako mu bunnabbi obwo? “Malaaya” era ayitibwa “Babulooni Ekinene”; akiikirira amadiini gonna ag’obulimba. ‘Ensolo emmyufu’ ekiikirira ekibiina ky’Amawanga Amagatte. Ekibiina ekyo kyasooka kuteekebwawo mu 1919 okukuuma emirembe mu nsi, era mu kiseera ekyo kyali kiyitibwa Ekinywi ky’Amawanga. (Kub. 17:​3-5) ‘Amayembe ekkumi’ gakiikirira gavumenti zonna eziwagira ensolo.

Nkolagana ki eriwo wakati wa malaaya n’ensolo emmyufu? Malaaya abaddenga ‘atudde ku’ nsolo, kwe kugamba ng’agiwagira era ng’agezaako okugifuga ekole by’ayagala.

Kiki ekinaatuuka ku malaaya? Ensolo awamu n’amayembe ekkumi agagiwagira, “birikyawa malaaya,” era biryoleka obukyayi obwo nga binyaga eby’obugagga bye byonna era ne biraga abantu bonna nga bw’ali omubi ennyo. Ate era bajja kuzikiriza amadiini ago batuukirize omusango Yakuwa gwe yagasalira. (Kub. 17:1; 18:8) Eyo y’ejja okuba enkomerero y’amadiini gonna ag’obulimba. Naye ng’ekyo tekinnabaawo, Yakuwa ajja kuleetera amawanga okukola ekintu ekitabangawo mu byafaayo by’obufuzi bw’abantu.

Kiki Yakuwa ky’anaaleetera amawanga okukola? Ajja kuteeka “ekirowoozo kye” mu mitima gy’abafuzi abakiikirirwa amayembe kkumi, kwe kugamba, ‘bawe ensolo emmyufu amaanyi gaabwe n’obuyinza bwabwe,’ ng’ensolo eyo kye kibiina ky’Amawanga Amagatte. (Kub. 17:13) Lowooza ku ekyo kye kitegeeza. Gavumenti z’abantu ze zineesalirawo okuwaayo amaanyi gaazo n’obuyinza bwazo eri ensolo? Nedda! Obunnabbi bulaga nti Katonda kennyini y’ajja okuzireetera okukola ekyo. (Nge. 21:1; geraageranya Isaaya 44:28.) Enkyukakyuka eyo eneebaawo mpolampola? Nedda! Kirabika enkyukakyuka eyo ejja kubaawo mu bwangu. Oluvannyuma ensolo eneeba eweereddwa amaanyi agasingawo, ejja kutuukiriza omusango Yakuwa gwe yasalira amadiini ag’obulimba ng’egazikiririza ddala.

Kati olwo kiki kye tuba tusuubira? Ebirowoozo byaffe tetusaanidde kubimalira ku mawulire agalaga nti gavumenti nnyingi zeeyongedde okuwagira ekibiina ky’Amawanga Amagatte. Kye tuba tusuubira kye kino: Mu bwangu obw’ekitalo, Yakuwa ajja kuteeka ekirowoozo kye mu mitima gy’abafuzi baweeyo obuyinza bwabwe eri ensolo. Ekyo bwe kinaabaawo, tujja kumanya nti ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okutandika. Naye mu kiseera kino, ka “tusigale nga tutunula era nga tutegeera bulungi” kubanga enkyukakyuka ez’amangu zinaatera okubaawo!—1 Bas. 5:6.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share