EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBIKKULIRWA 13-16
Totya Nsolo ez’Entiisa
Bwe tutegeera ensolo ezoogerwako mu Okubikkulirwa essuula 13 kye zikiikirira, kituyamba obutazitya oba okwewala okuziwagira ng’abantu abasinga obungi bwe bakola.
Buli nsolo gikwataganye ne ky’ekiikirira
ENSOLO
Ogusota.—Kub 13:1, obugambo obuli wansi
Ensolo erina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi.—Kub 13:1, 2
Ensolo erina amayembe abiri ng’ag’omwana gw’endiga.—Kub 13:11
Ekifaananyi ky’ensolo.—Kub 13:15
OBUFUZI
Obufuzi kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika
Ekinywi ky’Amawanga n’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekyadda mu kifo kyakyo
Sitaani Omulyolyomi
Gavumenti z’abantu zonna