Ennyanjula
Ebiriwo mu nsi leero, biraga nti enkomerero eneetera okutuuka? Bwe kiba bwe kityo, waliwo kye tuyinza okukola okusobola okuwonawo ng’enkomerero etuuse? Kiki ekinaabaawo oluvannyuma lw’enkomerero? Mu katabo kano, tugenda kulaba engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo mu ngeri ezzaamu amaanyi.