Ddala Enkomerero Eri Kumpi?
Emirundi mingi abantu bazze bagamba nti enkomerero ejja, naye n’etejja. Ddala enkomerero enejja?
KIKI BAYIBULI KY’EGAMBA?
- Enkomerero enejja etya? 
- Enejja ddi? 
- Osobola okuwonawo? 
- Ensi eneeba etya oluvannyuma lw’enkomerero? 
Engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo yeewuunyisa, kyokka ate ezzaamu amaanyi.
Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba okumanya ebisingawo ebikwata ku kigendererwa kya Katonda.