Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Ssebutemba
“Abantu bangi bakkiriza nti waliwo olunaku Katonda lw’ajja okubasalira omusango ng’asinziira ku bikolwa byabwe. Olowooza Olunaku olw’Okusalirako Omusango tusaanidde kulwesunga oba kulutya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze magazini eno ky’egamba.” Mukwase Watchtower eya Ssebutemba 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16 era musome waakiri ekyawandiikibwa kimu. Muwe magazini zombi, era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
The Watchtower Ssebutemba 1
“Mu nsi nnyingi, abakazi basosolwa era bayisibwa bubi nnyo. Eky’ennaku, enzikiriza z’amadiini agamu nazo ziviiriddeko abakazi okuyisibwa mu ngeri eno. Olowooza Katonda afaayo ku bakazi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ngeri abaami gye basaanidde okuyisaamu bakyala baabwe. [Soma Abeefeso 5:28, 29.] Magazini eno eraga ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ngeri Katonda gy’ayagala abakazi bayisibwemu.”
Awake! Ssebutemba
“Abantu bangi bagamba nti waliwo olunaku abantu bonna abali ku nsi eno lwe bajja okusaanyizibwawo, oboolyawo n’eby’okulwanyisa bya nukiriya, oba nti waliwo ekiyinja ekijja okuva mu bwengula kikube ensi, oba olw’embeera y’obudde ekyukakyuka. Olowooza ebyo bituufu, oba bateebereza biteebereze? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli erimu ekisuubizo kino ekizzaamu ennyo amaanyi. [Soma Zabbuli 37:29.] Magazini eno eyogera ku ebyo abantu bye bagamba nti bijja kusaanyaawo ensi eno n’ekyo Bayibuli ky’eyogera ku biseera eby’omu maaso.”