Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Ssebutemba
“Abantu ab’amawanga ag’enjawulo n’enzikiriza ez’enjawulo basaba buli lunaku. Olowooza Katonda awuliriza era n’addamu essaala zonna?” [Muleke abeeko ky’addamu.] Oluvannyuma muwe magazini ya Watchtower eya Ssebutemba 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16 era musomere wamu waakiri ekyawandiikibwa kimu ku ebyo ebiweereddwa. Kola enteekateeka ey’okumuddira mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
The Watchtower Ssebutemba 1
Mulage ebiri kungulu ku magazini, era ogambe nti: “Wandizzeemu otya ekibuuzo kino? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Bayibuli ky’egamba. [Soma 1 Yokaana 5:19.] Okusinziira ku kino kye tusomye, “omubi,” oba Omulyolyomi, y’afuga ensi. Naye ekyo kireetawo ebibuuzo ebirala. Omulyolyomi yava wa? Muntu wa ddala? Katonda alimuleka okufuga kumala bbanga ki? Magazini eno eraga ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga ezo.”
Awake! Ssebutemba
Abantu bangi leero beeraliikirivu nnyo olw’ebizibu by’ensimbi. Olowooza lwaki kizibu nnyo okweyimirizaawo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli erimu amagezi amalungi agayambye abantu bangi okumanya engeri y’okukozesaamu obulungi ssente zaabwe. [Soma ekimu ku byawandiikibwa ebiri ku lupapula 8-9.] Magazini eno erimu amagezi amalungi asobola okuyamba abo abalina amabanja.”