Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 10
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 10
Oluyimba 47 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 11 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ezeekyeri 42-45 (Ddak. 10)
Na. 1: Ezeekyeri 43:13-27 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Erinnya Yakuwa Likozesebwa mu Nkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani?—rs-E lup. 278 ¶1-3 (Ddak. 5)
Na. 3: Kiki Kye Tulina Okukola Okusobola Okufuna Omwoyo Omutukuvu? (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Okwesomesa Kuyamba Ababuulizi Okuba Abanywevu. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 27-32. Fundikira ng’oyogera ku ebyo ebiri mu kasanduuko, Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira.
Ddak. 10: Tewaabenga Kya Kulwanyisa Kye Baliweesa Okulwana Naawe Ekiriraba Omukisa. (Is. 54:17) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2012, olupapula 125, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 126, akatundu 3, n’olupapula 181, akatundu 2. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Ddak. 10: “Kozesa Ennyanjula Etuukirawo.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 44 n’Okusaba