Oluyimba 44
Okwenyigira mu Makungula n’Essanyu
Printed Edition
1. Kati tuli mu makungula,
Era nkizo ya maanyi nnyo.
Bamalayika bakunguzi;
Tukolera wamu nabo.
Ekyokulabirako Yesu
Kye yateekawo kirungi.
Ddala nkizo ’kukuŋŋaanya naye
Ebibala ebirungi.
2. ’Kwagala kutukubiriza
Okwongeramu amaanyi.
’Mulimu guno mukulu nnyo,
’Nkomerero eri kumpi.
Essanyu lye tufuna lingi
Mu mulimu gwa Katonda.
Tweyongere kugunyiikirira;
Anaatuwa emikisa.
(Era laba Mat. 24:13; 1 Kol. 3:9; 2 Tim. 4:2.)