LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 9/12 lup. 1
  • Kozesa Ennyanjula Etuukirawo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kozesa Ennyanjula Etuukirawo
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Similar Material
  • ‘Munywerere mu Kigambo Kyange’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • “Gaba Magazini Enkadde oba Brocuwa Yonna Eneesikiriza Omuntu”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Buulira “Abantu aba Buli Ngeri”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 9/12 lup. 1

Kozesa Ennyanjula Etuukirawo

1. Eky’okuba nti Abakristaayo ab’edda baakozesanga ennyanjula za njawulo, kituyigiriza ki?

1 Abakristaayo ab’edda baabuuliranga amawulire amalungi eri abantu ab’amawanga ag’enjawulo n’amadiini ag’enjawulo. (Bak. 1:23) Wadde nga bonna baabuuliranga ku Bwakabaka bwa Katonda, baakozesanga ennyanjula za njawulo era ezituukirawo. Ng’ekyokulabirako, Peetero bwe yali ayogera eri Abayudaaya abaali bassa ekitiibwa mu Byawandiikibwa, yatandikira ku bunnabbi bwa Yoweeri. (Bik. 2:14-17) Ku luuyi olulala, weetegereze engeri Pawulo gye yakubaganyaamu ebirowoozo n’Abayonaani, nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa 17:22-31. Leero, abantu mu bitundu ebimu bye tubuuliramu bakkiririza mu Byawandiikibwa, era kitwanguyira okukozesa Bayibuli nga tubuulira nnyumba ku nnyumba. Kyokka, kiyinza okutwetaagisa okukozesa amagezi nga tubuulira abantu abatayagala kuwuliriza ebikwata ku Bayibuli oba abatayagala bya ddiini oba abo abali mu ddiini ezitali za Kikristaayo.

2. Tuyinza tutya okukozesa ebitabo byaffe okuyamba abantu abakkiririza mu Bayibuli n’abo abatagikkiririzaamu?

2 Kozesa Bulungi Ebitabo Byaffe: Mu mwaka guno ogw’obuweereza, ebyo bye tugaba mu nnimiro bijja kukyukanga buli luvannyuma lwa myezi ebiri. Tujja kugabanga magazini, tulakiti, oba brocuwa. Ne bwe kiba nti abantu abali mu kitundu kye tubuuliramu tebakkiririza mu Bayibuli, tusaanidde okwogera ku kimu ku bintu ebiri mu bitabo byaffe ekiyinza okubasikiriza. Tuyinza obutasoma kyawandiikibwa ku mulundi gwe tuba tusoose okukyalira omuntu, naye bw’aba asiimye obubaka bwaffe, tusaanidde okuddayo n’ekigendererwa eky’okumuyamba okukkiririza mu Mutonzi ne mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa. Ku luuyi olulala, bwe kiba nti abantu b’omu kitundu kye tubuuliramu bakkiririza mu Bayibuli, tusobola okukozesa ennyanjula eneetusobozesa okubasomerayo ekyawandiikibwa n’okubawa ebitabo ebituukirawo. Tuyinza okugaba akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza oba brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, wadde nga si bye biba bigabibwa omwezi ogwo. Ekisinga obukulu kwe kukozesa ennyanjula etuukirawo.

3. Lwaki emitima gy’abantu be tubuulira gigeraageranyizibwa ku ttaka?

3 Teekateeka Ettaka: Omutima gw’omuntu gugeraageranyizibwa ku ttaka. (Luk. 8:15) Ebika ebimu eby’ettaka byetaaga okukabala obulungi nga tonnasiga nsigo. Mu ngeri y’emu emitima gy’abantu abamu gyetaaga okuteekateeka obulungi ensigo ez’amazima zisobole okumera n’okukula. Ababuulizi abaaliwo mu kyasa ekyasooka baabuuliranga abantu aba buli ngeri era kino kyabaleeteranga essanyu n’obumativu. (Bik. 13:48, 52) Naffe tusobola okuba nga bo singa tufuba okukozesa ennyanjula ezituukirawo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share