Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 17
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 17
Oluyimba 67 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 12 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ezeekyeri 46-48 (Ddak. 10)
Na. 1: Ezeekyeri 48:1-14 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ensonga Lwaki Tusaanidde Okubeera Abeesigwa mu Bintu Byonna—Bef. 4:25, 28; 5:1 (Ddak. 5)
Na. 3: Engeri y’Okuddamu Abo Abagamba nti, ‘Mmwe Mulina Bayibuli Yammwe’—rs-E lup. 279 ¶1-4 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 30: “Abavubuka Babuuza—Obulamu Bwange Nnaabukozesa Ntya? (Ekitundu 1)” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Mu bufunze, kozesa ebyo ebiri mu katundu akasooka ng’oyanjula ekitundu ekyo n’ebiri mu katundu akasembayo ng’ofundikira. Bwe muba temulina vidiyo eno, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu ssuula 38 erina omutwe ogugamba nti, “Obulamu Bwange Nnaabukozesa Ntya?” eri mu katabo Questions Young People Ask—Answers That Work omuzingo 2. Kubiriza abavubuka okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo ng’ebyo ebyogerwako mu ssuula eyo n’okwebuuza ku bazadde baabwe awamu n’Abakristaayo abalala abakuze mu by’omwoyo.
Oluyimba 88 n’Okusaba