Abavubuka Babuuza—Obulamu Bwange Nnaabukozesa Ntya? (Ekitundu 1)
Abavubuka bwe bagenda bakula, wabaawo ebintu ebikulu bye baba balina okusalawo. Vidiyo eyitibwa Young People Ask—What Will I Do With My Life? esobola okubayamba. Bw’oba otaddeko vidiyo eyo, londako ekitundu ekirina omutwe, Play Drama. Bw’omala okulaba ebiri mu kitundu ekyo, ddamu ebibuuzo omusanvu ebiri mu katundu ak’okubiri. Ng’omaze okuddamu ebibuuzo ebyo, ddayo vidiyo w’etandikira olondeko ekitundu ekirina omutwe, Interviews n’oluvannyuma olabe ebiri mu kitundu ekirina omutwe, Looking Back, era oddemu ebibuuzo ebiri mu katundu ak’okusatu.
Ebibuuzo Ebikwata ku Kitundu, Play Drama: (1) Embeera Timoseewo gye yalimu efaananako etya n’eyo abavubuka Abakristaayo ab’omu kiseera kino gye balimu? (2) Andre yapikirizibwa atya okututumuka mu by’emizannyo? (3) Biki Ow’oluganda Fleissig bye yabuulira Andre ku bikwata ku (a) kwemalira ku Yakuwa ne ku by’emizannyo mu kiseera kye kimu? (Mat. 6:24) (b) nsibuko y’essanyu erya nnamaddala? (c) bbakuli gye yalina mu nkambi y’abasibe bye yamujjukizanga? (d) bantu ye ne mukyala we be beekubisa nabo ekifaananyi? (e) ky’okuba nti teyejjusa olw’okuluubirira eby’omwoyo? (Baf. 3:8) (4) Andre bwe yabuuza jjajjaawe nti, “Kiba kikyamu bwe nfuuka omuddusi omututumufu,” jjajjaawe yamuddamu atya? (Luk. 4:5-7) (5) Andre bwe yawangula empaka z’embiro, yafuna essanyu erya nnamaddala? (6) Kiki ekisinga okukukwatako mu bbaluwa Ow’oluganda Fleissig gye yawandiikira Andre? (Nge. 10:22) (7) Kiki Ow’oluganda Fleissig kye yayamba Andre okumanya?
Ebibuuzo Ebikwata ku Kitundu, Looking Back: (8) Biruubirirwa ki muganda waffe ne mwannyinaffe abalagibwa mu vidiyo bye baalina, era lwaki? (9) Baatuuka ku biruubirirwa ebyo? (10) Kiki ekyaleetera buli omu ku bo okukyusa ebiruubirirwa bye? (2 Kol. 5:15) (11) Biruubirirwa ki eby’omwoyo bye beeteerawo nga bamaze okuleka biri bye baalina, era kiki ekyabayamba okukiraba nti baali tebasobola kuluubirira bya nsi na bya mwoyo mu kiseera kye kimu? (12) Bejjusa olw’okuluubirira eby’omwoyo? (13) Biki bye baayogera ebisinze okukuleetera okulowooza ennyo ku ngeri gy’osaanidde okukozesaamu obulamu bwo?
Laba ebirala ebiri mu kitundu kya vidiyo ekirina omutwe, Interviews n’ekyo ekirina omutwe, Supplementary Material, kikusobozese okubaako by’oddamu bwe munaaba mukubaganya ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza wiiki ejja.