LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 2/1 lup. 3
  • Onyumirwa Okukola Emirimu egy’Okukakaalukana?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Onyumirwa Okukola Emirimu egy’Okukakaalukana?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Similar Material
  • Ebinaakuyamba Okunyumirwa Omulimu Gwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Weeyagalire mu Ebyo by’Oteganira
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Nyumirwa Omulimu Gwo
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Weeyagalire mu Ebyo Byonna by’Oteganira
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 2/1 lup. 3
Omusajja yeetamiddwa omulimu naye banne bo beeyongera okukola
Omusajja yeetamiddwa omulimu naye banne bo beeyongera okukola

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | EBINAAKUYAMBA OKUNYUMIRWA OMULIMU GWO

Onyumirwa Okukola Emirimu Egy’okukakaalukana?

Alex asitula bookisi endala n’agiteeka mu mmotoka ya kampuni gy’akolera, era assa ekikkowe. Agamba nti, ‘Omuntu ng’alabye n’omulimu guno! Ndifuna ddi omulimu ogweyagaza? Obulamu bwange bwandibadde bulungi nnyo singa sikakaalukana bwe nti!’

Okufaananako Alex, abantu bangi leero tebaagala kukola mirimu gya kukakaalukana. Makanika omu ayitibwa Aaron agamba nti, “Abantu bangi kibaswaza okukola emirimu egitwalibwa ng’egya wansi. Bagamba nti: ‘Ka mmale gakola omulimu guno okutuusa lwe nnaafuna omulimu omulungi.’”

Lwaki abantu bangi tebaagala kukola mirimu gya kukakaalukana? Oboolyawo batwaliriziddwa emikutu gy’empuliziganya, egiraga nti obulamu obweyagaza bwebwo obw’okwejalabya era obutaliimu kukakaalukana. Matthew, akola ogw’okuddaabiriza ebizimbe agamba nti: “Abantu balowooza nti bw’oba olina okukola ennyo okusobola okweyimirizaawo, tosobola kukulaakulana.” Shane, nga naye akola omulimu gwe gumu, agamba nti: “Abantu tebakyakola mirimu gigya mu ssente ze basasulwa.”

Ku luuyi olulala, waliwo abantu abasanyufu wadde ng’emirimu gye bakola gya kukakaalukana. Daniel, ow’emyaka 25 egy’obukulu era nga muzimbi, agamba nti: “Okukola emirimu egy’okukakaalukana kivaamu emiganyulo mingi, naddala singa omuntu aba n’ebigendererwa ebirungi.” Andre ow’emyaka 23, akkiriziganya naye. Agamba nti: “Essanyu n’okukola birina akakwate.” Agattako nti: “Obutakola nnyo tekireeta ssanyu lya nnamaddala wabula kireeta kiwuubaalo!”

Lwaki abantu nga Daniel ne Andre balina endowooza ennuŋŋamu ku kukola emirimu egy’okukakaalukana? Ekibayambye kwe kukolera ku magezi agali mu Bayibuli. Bayibuli etukubiriza okukola n’obunyiikivu, era n’okuba abagumiikiriza. Kyokka Bayibuli tekoma ku kutukubiriza kukola, naye era erimu amagezi agasobola okutuyamba okunyumirwa emirimu gye tukola.

Magezi ki agali mu Bayibuli agasobola okukuyamba okunyumirwa omulimu gw’okola? Weetegereze agamu ku go mu kitundu ekiddako.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share