Obulamu Bwo Onoobukozesa Otya?
1 Ebiseera ebimu, abaana babuuzibwa ekibuuzo nti: “Mulimu ki gw’oyagala okukola ng’okuze?” Singa wabuuzibwa ekibuuzo ekyo ng’okyali mulenzi muto, wandigambye nti oyagala kuba mulaalo w’ente? Muzimbi? oba mulabirizi w’ekitundu? Oba singa wali muwala muto, wandigambye nti oyagala kuba muyimbi? musawo? oba muminsani? Okuva bwe kiri nti kati okuzeemu, oteekwa okwebuuza ekibuuzo ekirala nti, ‘Obulamu bwange nnaabukozesa ntya?’ Oli mwetegefu okusalawo?
2 Okusobola okukuyamba okusalawo obulungi, ekibiina kya Yakuwa kyafulumya DVD erina omutwe ogugamba nti Young People Ask—What Will I Do With My Life? Osabibwa okugiraba, era n’okufumiitiriza ennyo ku ebyo ebigirimu nga mw’otwalidde omuzannyo, okubuuza ebibuuzo, n’ebirala ebyongerezeddwako. Ebiri mu DVD eno biragiddwa mu kasanduuko akalina omutwe “Main Menu.”
3 Omuzannyo: Ng’olaba omuzannyo guno, lowooza ku bibuuzo bino: (1) Biki Timoseewo ayogerwako mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani ne Andre bye bafaanaganya? (Bik. 16:1; 1 Tim. 4:8; 2 Tim. 1:5) (2) Andre yapikirizibwanga atya okututumuka mu by’emizannyo, era baani abaali bamupikiriza? (3) Baani abaayamba Timoseewo ne Andre okusalawo mu ngeri ennungi, era ekyo baakikola batya? (2 Tim. 1:1-4; 3:14, 15) (4) Okubuulirira okusangibwa mu Matayo 6:24 ne Abafiripi 3:8 kwakwata kutya ku Andre, era naawe kukukwatako kutya?
4 Ezimu ku Nnyingo: Oluvannyuma lw’okulaba omuzannyo gwonna, ddamu weekenneenye ennyingo zino wammanga era oddemu n’ebibuuzo ebiweereddwa. “Pawulo ne Timoseewo”: Kubuulirira ki Pawulo kwe yasembayo okuwa Timoseewo? (2 Tim. 4:5) “Okuwa Yakuwa Ekisingayo Obulungi”: Olina biruubirirwa ki Eby’eby’omwoyo? “Okubeera ku Ludda lwa Yakuwa”: Kiki ekireeta essanyu erya nnamaddala? “Okubuulirira kwa Jjajja we”: Kikyamu ki ekiri mu kwagala okubeera omututumufu mu nsi ya Setaani? (Matt. 4:9) “Tewali Kwejjusa”: Kintu ki ky’oyinza okuzuula ekiyinza okukusobozesa okufuna obumativu mu bulamu?—Nge. 10:22.
5 Okubuuza Ebibuuzo: Kiki ky’olaba mu buli kimu ku bitundu bino wammanga ky’oyinza okukola okusobola okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi? (1) “Okwewaayo eri Ebyo Ebitaliimu oba eri Katonda?” (1 Yok. 2:17); (2) “Engeri y’Okuyigamu Okunyumirwa Obuweereza Bwo.” (Zab. 27:14); ne (3) “Engeri gy’Oyinza Okugaziya ku Buweereza Bwo.”—Mat. 6:33.
6 Okujjukira eby’Emabega: Osobola okuddamu ebibuuzo bino? (1) Bintu ki ow’oluganda ne mwannyinaffe bye baali baluubirira, era lwaki? (2) Kiki kye baali batuuseeko? (3) Kiki ekyaviirako buli omu ku bo okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwe? (2 Kol. 5:15) (4) Bintu ki eby’eby’omwoyo bye baatandika okukola mu kifo ky’ebyo bye baalinga bakola, era kiki ekyabaleetera okutegeera nti baali tebasobola kutuukiriza byombi? (5) Balina kyonna kye bejjusa olw’okukyusa ebiruubirirwa byabwe mu bulamu? (6) Biki bye baayogera ebikuleetedde okulowooza ennyo ku engeri gy’osaanidde okukozesaamu obulamu bwo?
7 Okubuuza Ebibuuzo Okwongerezeddwako: Kiki ky’oyize mu bitundu bino ebiddirira ekinaakuyamba okwenyigira mu bujjuvu mu buweereza bwa Yakuwa? (1) “Omuganyulo Oguli mu Kwesomesa,” (2) “Engeri Endala ez’Okuwaamu Obujulirwa,” (3) “Obuweereza bwa Beseri.” (4) “Essomero lya Giriyaadi Eritendeka Abaminsani.” ne (5) “Essomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza.” Weekenneenye ebiragiddwa wansi w’omutwe “Index to Published Information on Related Subjects” era osome ku ebyo ebisinze okukukwatako.
8 Kati omaze okusalawo ku ngeri gy’onookozesaamu obulamu bwo? Bw’ati Pawulo bwe yakubiriza Timoseewo: ‘Ebyo obirowoozenga, obeerenga mu ebyo; okukulaakulana kwo kulabikenga eri bonna.’ (1 Tim. 4:15) Tukukubiriza okukolera ku ebyo by’olabye ne by’owulidde ku DVD eno. Saba Yakuwa akuyambe okusalawo obulungi mu ngeri eneekusobozesa okufuna essanyu n’obumativu mu bulamu obwa kaakano ne mu obwo obugenda okujja.
[Akasanduuko akali ku lupapula 6]
MAIN MENU
Play Drama
Scenes (ebitundu 11)
Interviews
Play All
Sections (ebitundu 3)
Looking Back
Supplementary Material
Supplementary Interviews
Index to Published Information on Related Subjects
Subtitles
Hearing Impaired
None
Okusobola okulaba ebiri mu DVD eno, kozesa Next ▶, ◀ Back, n’obupeesa obuli ku Main Menu.