Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 24
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 24
Oluyimba 65 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 13 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Danyeri 1-3 (Ddak. 10)
Na. 1: Danyeri 2:17-30 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ebitonde eby’Omu Ggulu Bitegeke?—rs-E lup. 280 ¶1-3 (Ddak. 5)
Na. 3: Tuyinza Tutya Okwewala Okunakuwaza Omwoyo?—Bef. 4:30 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 30: “Abavubuka Babuuza—Obulamu Bwange Nnaabukozesa Ntya? (Ekitundu 2)” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Mu nnyanjula yo, kozesa eddakiika emu oyogere ku ebyo bye mwayiga wiiki ewedde mu Kitundu 1. Fundikira ng’osiima abavubuka olw’okufuba ‘okujjukira’ Yakuwa nga bakyali bato. (Mub. 12:1) Bakubirize okweyongera okuba abamalirivu okuweereza Yakuwa. Bwe muba temulina vidiyo eno, mukozese ebyo ebiri mu ssuula 38 erina omutwe ogugamba nti, “Obulamu Bwange Nnaabukozesa Ntya?” eri mu katabo Questions Young People Ask—Answers That Work omuzingo 2. Saba abavubuka abawerako boogere ebiruubirirwa eby’omwoyo bye beeteereddewo n’ekyo kye bakola kati okusobola okubituukako. Kubiriza abavubuka obutakkiriza nsi kubawugula kuva ku biruubirirwa byabwe eby’omwoyo. (1 Yok. 2:17) Basiime olw’okufuba kwabwe n’olw’ekyokulabirako ekirungi kye bassaawo.
Oluyimba 91 n’Okusaba