Abavubuka Babuuza—Obulamu Bwange Nnaabukozesa Ntya? (Ekitundu 2)
Bw’oteekako vidiyo Young People Ask—What Will I Do With My Life? londako ekitundu ekirina omutwe Interviews, n’oluvannyuma ogende ku kitundu ekirina omutwe Sections olabe ebitundu ebisatu ebikirimu era oddemu ebibuuzo ebiri mu katundu ak’okubiri. Oluvannyuma ddayo vidiyo w’etandikira olondeko ekitundu ekirina omutwe Supplementary Material, era ng’omaze okulaba buli kimu ku bitundu ebitaano ebikirimu, ddamu ebibuuzo ebiri mu katundu ak’okusatu.
Ebibuuzo Ebikwata ku Kitundu, Sections: Okuluubirira Ebintu Ebitaliimu Oba Okwemalira ku Katonda: (1) Bintu ki abavubuka bye bapikirizibwa okuluubirira? (2) Ebyo ebiri mu 1 Yokaana 2:17, bisobola bitya okuyamba abavubuka okusalawo ekigero ky’obuyigirize bwe banaafuna? (3) Lwaki tetusaanidde kutya kubatizibwa? (4) Ebimu ku bintu ebinaatusobozesa okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa bye biruwa? Ebinaakuyamba Okunyumirwa Obuweereza Bwo: (5) Lwaki abamu tebanyumirwa buweereza bwabwe? (6) Ebimu ku bintu ebinaatuyamba okunyumirwa obuweereza bwaffe bye biruwa? (7) Kiki abamu kye basinga okutya, era lwaki? (8) Biki ebiyinza okutuyamba okuggwamu okutya ne tusobola okwogera n’obuvumu? (9) Lwaki kya muganyulo nnyo okufuba okufuna obumanyirivu mu buweereza? Oluggi olw’Okukola Emirimu Lugguddwawo: (10) Mu ngeri ki okuweereza nga payoniya gye kiyamba omuntu okukulaakulana mu by’omwoyo? (Baf. 3:16) (11) Lwaki abamu batya okuweereza nga bapayoniya? (12) Misingi ki egy’omu Byawandiikibwa egisobola okutuyamba obuteeraliikirira olw’eby’enfuna? (13) Biki abamu bye bakola okusobola okweyimirizaawo nga baweereza nga bapayoniya aba bulijjo? (14) Kiki kye tuyinza okukola bwe kiba nti embeera zaffe tezitusobozesa kuyingira buweereza bwa kiseera kyonna?
Ebibuuzo Ebikwata ku Kitundu, Supplementary Material: Emiganyulo Egiri mu Kwesomesa: (15) Lwaki kya muganyulo okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa? Okubuulira mu Lujjudde (okwayitibwanga Alternative witnessing mu Lungereza): (16) Okwenyigira mu ngeri ez’enjawulo ez’okubuulira kinaatuyamba kitya okweyongera okufuna essanyu? Okuweereza ku Beseri: (17) Lwaki okuweereza ku Beseri kireeta essanyu? Essomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza: (18) Ab’oluganda abagenda mu ssomero lino (kati eriyitibwa Essomero ly’Ab’oluganda Abali Obwannamunigina) baganyulwa batya? Essomero lya Giriyadi: (19) Biki Peter ne Fiona bye baakola ebyabayamba okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe eky’okuweereza ng’abaminsani, era baaganyulwa batya mu Ssomero lya Giriyadi?