Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Okitobba 1
WIIKI ETANDIKA OKITOBBA 1
Oluyimba 77 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 14 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Danyeri 4-6 (Ddak. 10)
Na. 1: Danyeri 4:18-28 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Esonga Lwaki Abakristaayo ab’Amazima Beewalira Ddala eby’Obusamize (Ddak. 5)
Na. 3: Mu Biseera eby’Edda, Katonda Yatuusanga Atya Obubaka ku Baweereza Be ab’Oku Nsi?—rs-E lup. 281 ¶1-2 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Tandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka. Ng’okozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula luno, laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Okitobba. Bwe muba temulina magazini za Okitobba, kozesa magazini ze mwasembayo okufuna mu kibiina kyammwe n’ennyanjula etuukirawo eri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Kubiriza bonna okujjumbira enteekateeka eno.
Ddak. 15: Twakola Tutya Omwaka Oguwedde? Kwogera nga kwa kuweebwa omulabirizi w’obuweereza. Yogera ku ebyo ekibiina kyammwe bye kyakola mu mwaka gw’obuweereza oguwedde, ng’essira oliteeka ku birungi ebyatuukibwako era beebaze olw’ebirungi bye baakola. Saba omubuulizi omu oba babiri boogere ku birungi bye baafuna mu buweereza bwabwe. Yogera ku kintu kimu oba bibiri ekibiina kyammwe bye kyetaaga okukolako mu mwaka guno omupya ogw’obuweereza, era owe amagezi ku ngeri kino gye kiyinza okukolebwamu.
Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Okitobba. Kukubaganya birowoozo. Ng’okozesa obutikitiki 30 oba 60, wa ensonga lwaki magazini ezo zijja kusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe. Oluvannyuma, ng’okozesa ebitundu ebisooka mu Watchtower ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, saba abawuliriza boogere ebibuuzo ebisikiriza bye muyinza okubuuza abantu n’ebyawandiikibwa bye muyinza okusoma. Kola kye kimu ne ku bitundu ebisooka mu Awake! ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, era obudde bwe bubaawo, kola kye kimu ne ku kitundu ekirala kimu okuva mu emu ku magazini ezo. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.
Oluyimba 85 n’Okusaba