Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Ssebutemba ne Okitobba: Watchtower ne Awake! Bwe muba muzzeeyo eri abo abaasiima obubaka bwaffe, mubanjulire akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza oba okusinziira ku bwetaavu bwa buli muntu, musobola okubanjulira brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli. Noovemba ne Ddesemba: Ababuulizi bayinza okugaba emu ku tulakiti zino wammanga: Kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye Bakkiriza?, Ssuubi Ki olw’Abaagalwa Abaafa?, Olina Omwoyo Ogutafa?, Yakuwa y’Ani?, Ensi Eno Eneewonawo?, Obulamu mu Nsi Empya ey’Emirembe, ne Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma! Bwe basiima obubaka bwaffe, mubalage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli nga mukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, oba brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna.
◼ Emboozi ey’enjawulo eneeweebwa mu kiseera ky’Ekijjukizo mu 2013, ejja kuweebwa mu wiiki etandika nga Apuli 1. Omutwe gw’emboozi eyo gujja kubategeezebwa gye bujja. Ebibiina ebinaaba bikyazizza omulabirizi w’ekitundu oba ebinaaba n’olukuŋŋaana olunene ku wiikendi ya wiiki etandika nga Apuli 1, bijja kuba n’emboozi ey’enjawulo mu wiiki eddako. Tewali kibiina kisaanidde kuba na mboozi ey’enjawulo nga Apuli 1 terunnatuuka.