Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Okitobba
“Nsuubira naawe okiraba nti leero obulamu bumpi nnyo. Olowooza ekiseera kirituuka ne tumalawo endwadde eziriwo ne kiba nti tusobola okuwangaala? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze magazini eno ky’eyogera ku nsonga eyo.” Mukwase Watchtower eya Okitobba 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16 era musome n’ekyawandiikibwa ekiweereddwa. Muwe magazini zombi, era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
The Watchtower Okitobba 1
“Abantu bangi beeraliikirivu olw’obulyi bw’enguzi obuli mu by’obusuubuzi ne mu gavumenti ezitali zimu. Ggwe olowooza waliwo ekiyinza okukolebwa okugonjoola ekizibu kino? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekyawandiikibwa kino kiraga engeri Yesu gy’ajja okuyambamu abantu abanyigirizibwa olw’obulyi bw’enguzi. [Soma Zabbuli 72:12-14.] Magazini eno eraga engeri obulyi bw’enguzi gye bujja okumalibwawo.”
Awake! Okitobba
“Abazadde abasinga obungi baagala abaana baabwe bafune obuyigirize obulungi. Olowooza abavubuka ababa bamalirizza emisomo gyabwe ennaku zino baba beeteefuteefu okwaŋŋanga okusoomoozebwa kwe bajja okwolekagana nakwo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze engeri Bayibuli gy’eragamu obukulu bw’okufuna okumanya n’amagezi. [Soma Omubuulizi 7:12.] Magazini eno erimu amagezi ga mirundi etaano agasobola okuyamba abaana okukola obulungi ku ssomero.”