Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira
Kenya: Mu Maaki, ababuulizi 31 ku buli kikumi be baaweereza nga bapayoniya, nga mw’otwalidde ne bapayoniya abawagizi. Waaliwo entikko empya eya bapayoniya aba bulijjo 2,816 n’okweyongerayongera kwa babuulizi 4 ku buli kikumi mu Maaki bw’ogeraageranya n’omwaka oguwedde.
Uganda: Mu Maaki 2012 twatuuka ku ntikko empya ey’ababuulizi 5,676, essaawa 171,391, magazini 96,861, n’okuddiŋŋana kwa mirundi 88,249. Entikko empya ey’abayizi ba Bayibuli 16,347 eraga nti waaliwo okweyongerayongera kw’abayizi nga 16 ku buli kikumi bw’ogeraageranya n’omwaka oguwedde. Nga kisanyusa nnyo okulaba ng’ab’oluganda bangi baabuulira n’obunyiikivu mu mwezi ogwo ogw’enjawulo!—Zab. 110:3.