Oluyimba 91
Kitange, Katonda Wange era Mukwano Gwange
Printed Edition
1. Obulamu si bwangu.
Ensi eno ejjudde ’nnaku.
Naye nga bwo obwange,
“Si bwa butaliimu.”
(CHORUS)
Katonda ajjukira,
Okwagala kwe njolesezza.
Andi ku lusegere;
N’olwekyo nze siri nzekka.
Yakuwa ye Kitange,
Katonda wange ankuuma nze.
Yee, Yakuwa
ye mukwano gwange ddala.
2. Sikyali muvubuka;
’Biseera ebibi bituuse.
Naye essuubi lyange,
Linywevu nnyo ddala.
(CHORUS)
Katonda ajjukira,
Okwagala kwe njolesezza.
Andi ku lusegere;
N’olwekyo nze siri nzekka.
Yakuwa ye Kitange,
Katonda wange ankuuma nze.
Yee, Yakuwa
ye mukwano gwange ddala.
(Era laba Zab. 71:17, 18.)