Oluyimba 64
Nyweza Amazima
1. Ekkubo ery’amazima lye lisinga,
Naye ggw’oba weesalirawo.
Kale kkiriza Yakuwa ky’akugamba;
Ky’akugamba kituufu nnyo.
(CHORUS)
Nyweza ’mazima.
Gabe ga ddala gy’oli.
Ojja kufuna
essanyu lingi
Bw’onoonyweza ’mazima.
2. Okufuba kwo n’ebiseera by’owaayo
Mu kuweereza Katonda wo
Bya ’kkuviiramu ’bulamu ’butakoma,
Obujjudde ebirungi.
(CHORUS)
Nyweza ’mazima.
Gabe ga ddala gy’oli.
Ojja kufuna
essanyu lingi
Bw’onoonyweza ’mazima.
3. Ffe tuli baana mu maaso ga Katonda.
Twetaaga ’bulagirizi bwe.
Kale tambula ne Kitaffe Yakuwa;
Ofune emikisa gye.
(CHORUS)
Nyweza ’mazima.
Gabe ga ddala gy’oli.
Ojja kufuna
essanyu lingi
Bw’onoonyweza ’mazima.
(Era laba Zab. 26:3; Nge. 8:35; 15:31; Yok. 8:31, 32.)