LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g17 Na. 6 lup. 3
  • Ensi Egenda Kusaanawo oba Nedda?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ensi Egenda Kusaanawo oba Nedda?
  • Zuukuka!—2017
  • Similar Material
  • Bannassaayansi Baasembezza mu Maaso Akalimi k’Essaawa Eraga Akabi ak’Amaanyi Akanaatera Okubaawo—Bayibuli Ekyogerako Ki?
    Ensonga Endala
  • Ddala Enkomerero Eri Kumpi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Kiki Bayibuli ky’Egamba?
    Zuukuka!—2017
Zuukuka!—2017
g17 Na. 6 lup. 3
Essaawa ya bannassaayansi eraga nti ensi eyolekedde akatyabaga

OMUTWE OGULI KUNGULU | ENSI EGENDA KUSAANAWO?

Omutwe Oguli Kungulu Ensi Egenda Kusaanawo Oba Nedda?

KU NTANDIKWA y’omwaka 2017 bannassaayansi baalangirira ekintu eky’entiisa. Mu Jjanwali w’omwaka ogwo bannassaayansi baagamba nti ensi esemberedde akatyabaga akatabangawo. Nga bakozesa akabonero k’essaawa, bannassaayansi baasembeza akalimi kaayo obutikitiki 30 mu maaso okulaga nti akatyabaga ako kali kumpi nnyo okusinga bwe kyali kibadde. Kati akalimi k’essaawa eyo kalaga nti ebulayo eddakiika bbiri n’ekitundu okuwera essaawa mukaaga ogw’ekiro. Mu kusembeza akalimi ako mu maaso baali balaga nti akatyabaga akoolekedde ensi kati kasembedde okusinga bwe kibadde mu myaka egisukka mu 60 emabega!

Mu 2018, bannassaayansi bateekateeka okuddamu okubalirira ebbanga erisigaddeyo akatyabaga akanaasaanyaawo ensi kabeewo. Essaawa yaabwe eneesigala eraga nti akatyabaga ako kali kumpi nnyo okubaawo? Olowooza otya? Ensi egenda kusaanawo? Ekibuuzo ekyo kiyinza okukuzibuwalira okuddamu. Ggwe ate oba ne bannassaayansi balina endowooza za njawulo ku nsonga eyo. Kyokka tekiri nti buli muntu akkiriza nti waliwo akatyabaga akagenda okusaanyaawo ensi.

Waliwo abantu bangi abakkiriza nti ebiseera by’ensi eby’omu maaso bitangaavu. Bagamba nti balina obukakafu obulaga nti ensi ejja kubaawo emirembe gyonna ng’eriko abantu era nti embeera ku nsi ejja kutereera. Kye boogera kituufu? Ensi egenda kusaanawo, oba nedda?

“Essaawa eyo bannassaayansi gye bakozesa, mu mawanga mangi ekozesebwa ng’akabonero akalaga ekiseera ekisigaddeyo akatyabaga akanaasaanyaawo ensi okubaawo nga kava ku tekinologiya abantu gwe bakoze. Tekinologiya asingayo okuba ow’obulabe y’oyo ow’eby’okulwanyisa eby’amaanyi ga nukiriya. Ate era ne tekinologiya omulala gamba ng’oyo aleeseewo enkyukakyuka mu mbeera y’obudde, oyo akyusa enkula y’ebitonde, n’owa bukompyuta bwe bateeka mu mibiri gy’abantu, asobola okuleeta obulabe obw’enkalakkalira ku bantu ne ku nsi.”​—Bulletin of the Atomic Scientists.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share