LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g17 Na. 6 lup. 6-7
  • Kiki Bayibuli ky’Egamba?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kiki Bayibuli ky’Egamba?
  • Zuukuka!—2017
  • Similar Material
  • Kiki Ekiyinza Okutuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Bino Byonna Bitegeeza Ki?
    Beera Bulindaala!
  • Enkomerero Eri Kumpi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • ‘Emirembe Gijja Kuba Mingi Nnyo’ ng’Obwakabaka bwa Katonda Bufuga
    Zuukuka!—2019
See More
Zuukuka!—2017
g17 Na. 6 lup. 6-7
Omusajja ng’ali mu nsi empya Katonda gye yasuubiza

Ensi tejja kusaanawo nga bannassaayansi bwe bagamba, kubanga Katonda yasuubiza nti abantu bajja kugibeerako emirembe gyonna nga bali bulungi

OMUTWE OGULI KUNGULU | ENSI EGENDA KUSAANAWO?

Kiki Bayibuli ky’Egamba?

EMBEERA embi eriwo mu nsi Bayibuli yagyogerako ebyasa bingi emabega nti eribaawo. Kyokka era Bayibuli yakiraga nti ebiseera by’abantu eby’omu maaso bijja kuba birungi. Bayibuli kye yagamba tusaanidde okukissaako omutima kubanga bingi ku bintu bye yayogerako bituukiridde.

Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bunnabbi bwa Bayibuli buno wammanga:

  • “Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka, era walibaawo enjala ne musisi mu bifo ebitali bimu.”​—Matayo 24:7.

  • “Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo. Kubanga abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, nga beepanka, nga ba malala, nga bavvoola, nga tebagondera bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga si beesigwa, nga tebaagala ba luganda, nga tebakkiriza kukkaanya, nga bawaayiriza, nga tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bulungi, nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza, nga baagala eby’amasanyu okusinga Katonda.”​—2 Timoseewo 3:1-4.

Obunnabbi obwo bulaga nti embeera y’ensi yandyeyongedde okwonooneka. Mu butuufu, ebizibu ebiri mu nsi byeyongedde nnyo ne kiba nti abantu tebakyasobola kubigonjoola. Bayibuli eraga nti abantu tebasobola kugonjoola bizibu ebiri mu nsi. Ekyo kyeyolekera mu byawandiikibwa bino wammanga:

  • “Waliwo ekkubo omuntu ly’alaba ng’ettuufu, naye nga ku nkomerero litwala mu kufa.”​—Engero 14:12.

  • ‘Omuntu abadde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.’​—Omubuulizi 8:9.

  • “Omuntu talina buyinza . . . kuluŋŋamya bigere bye.”​—Yeremiya 10:23.

Singa Katonda aleka abantu okweyongera okukola bye baagala, ensi esobola okusaanawo. Naye ekyo tekijja kubaawo! Lwaki? Lowooza ku byawandiikibwa bino wammanga:

  • Katonda ‘yateeka ensi ku misingi gyayo;teriggibwa mu kifo kyayo emirembe n’emirembe.’​—Zabbuli 104:5.

  • “Omulembe ogumu gugenda, ate omulembe omulala ne guddawo, naye ensi ebeerawo emirembe n’emirembe.”​—Omubuulizi 1:4.

  • “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”​—Zabbuli 37:29.

  • “Wanaabangawo emmere ey’empeke nnyingi mu nsi; eneeyitiriranga obungi ku ntikko z’ensozi.”​—Zabbuli 72:16.

Bayibuli ekiraga bulungi nti okwonoonebwa kw’obutonde, ebbula ly’emmere n’amazzi, n’endwadde tebigenda kusaanyaawo bantu. Ate era eby’okulwanyisa by’amaanyi ga nukiriya tebijja kusaanyaawo nsi. Lwaki? Kubanga Katonda tajja kukkiriza nsi kusaanyizibwawo. Kyo kituufu nti Katonda alese abantu okusalawo okukola bye baagala. Naye bajja kukungula ebiva mu ebyo bye basalawo. (Abaggalatiya 6:7) Kyokka ensi teringa mmotoka ewabye n’eva ku luguudo n’eba ng’eyolekedde okusaanawo. Katonda tajja kukkiriza bantu kwonoona nsi kutuuka ku kigero ky’okugisaanyaawo.​—Zabbuli 83:18; Abebbulaniya 4:13.

Naye waliwo n’ekintu ekirala Katonda ky’agenda okukola. Agenda kuleetawo “emirembe mingi.” (Zabbuli 37:11) Ebintu ebirungi ebyogeddwako mu kitundu kino bye bimu ku bintu ebirungi ebingi ebigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso Abajulirwa ba Yakuwa bye bayize mu Bayibuli.

Abajulirwa ba Yakuwa bali mu nsi yonna era mu bo mulimu abasajja n’abakazi awamu n’abaana ab’emyaka egy’enjawulo. Basinza Katonda omu yekka ow’amazima ayitibwa Yakuwa, nga Bayibuli bw’ekiraga. Tebatya binaabaawo mu biseera eby’omu maaso kubanga Bayibuli egamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, eyatonda eggulu, Katonda ow’amazima, eyatonda ensi, eyagikola n’aginyweza, teyagitondera bwereere, wabula yagitonda okubeeramu abantu: ‘Nze Yakuwa, era tewali mulala.’”​—Isaaya 45:18.

Ekitundu kino kiraze ebimu ku bintu Bayibuli by’eyogera ku biseera eby’omu maaso ebikwata ku nsi n’abantu. Okumanya ebisingawo, laba essomo 5 ery’akatabo Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! akaakubibwa Abajulirwa. Osobola n’okukafuna ku mukutu gwa www.pr418.com/lg

Osobola n’okulaba vidiyo erina omutwe Lwaki Katonda Yatonda Ensi? eri ku www.pr418.com/lg. (Genda wansi wa EBITABO > VIDIYO)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share