LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp21 Na. 3 lup. 12-14
  • Kiki Ekiyinza Okutuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kiki Ekiyinza Okutuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OBULAGIRIZI OKUVA ERI OYO ASINGIRIDDE
  • Kiki Bayibuli ky’Egamba?
    Zuukuka!—2017
  • Tusobola Okwesiga Amagezi Bayibuli g’Ewa ku Kituufu n’Ekikyamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2024
  • Bayibuli Ogitwala Otya?
    Bayibuli Ogitwala Otya?
  • “Abawombeefu Balisikira Ensi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
wp21 Na. 3 lup. 12-14
Omusajja ng’asoma Bayibuli.

Kiki Ekiyinza Okutuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?

Nga bwe tulabye mu bitundu ebivuddeko, abantu bafubye nnyo okulaba nga baba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi, nga bassa obwesige bwabwe mu bintu gamba ng’amaanyi agatalabika, obuyigirize, obugagga, n’okweyisa obulungi. Naye okussa obwesige mu bintu ng’ebyo, kiba ng’okugezaako okugenda mu kifo ky’otomanyi ng’ogoberera mmaapu enkyamu. Ekyo kitegeeza nti tewali kiyinza kutuyamba kuba na biseera bya mu maaso birungi? Nedda!

OBULAGIRIZI OKUVA ERI OYO ASINGIRIDDE

Bwe tuba nga tulina bye tusalawo, tutera okwebuuza ku muntu atusingako obukulu era atusinga okumanya. Mu ngeri y’emu, tusobola okufuna obulagirizi obwesigika obukwata ku biseera eby’omu maaso okuva eri Oyo atusingira ewala obukulu n’amagezi. Obulagirizi obwo busangibwa mu kitabo ekiyitibwa Bayibuli, ekyatandika okuwandiikibwa emyaka nga 3,500 emabega.

Lwaki wandyesize Bayibuli? Kubanga eva eri Oyo abaddewo okumala emyaka mingi nnyo era asingayo okuba ow’amagezi. Ayogerwako ng’oyo “Abaddewo Okuva Edda n’Edda” era ng’abaddewo “okuva emirembe gyonna okutuusa emirembe gyonna.” (Danyeri 7:9; Zabbuli 90:2) Y’oyo “eyatonda eggulu, Katonda ow’amazima, eyatonda ensi.” (Isaaya 45:18) Atutegeeza nti erinnya lye ye Yakuwa.​—Zabbuli 83:18.

Olw’okuba Bayibuli yava eri Katonda eyatonda abantu bonna, eraga nti abantu ab’amawanga ag’enjawulo ne langi ez’enjawulo bonna benkanankana. Amagezi agagirimu gakola ekiseera kyonna era gaganyudde abantu okuva mu mawanga gonna. Evvuunuddwa mu nnimi nnyingi nnyo era n’ebunyisibwa okusinga ekitabo ekirala kyonna.a Ekyo kitegeeza nti abantu buli wamu basobola okugisoma era ne baganyulwa mu bulagirizi obugirimu. Ebyo bikwatagana n’ebigambo bino ebiri mu Bayibuli:

“Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.”​—EBIKOLWA 10:34, 35.

Ng’omuzadde ayagala abaana be bw’abawa obulagirizi, Yakuwa Katonda waffe ye Kitaffe atwagala era atuwa obulagirizi obulungi okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli. (2 Timoseewo 3:16) Osobola okwesiga Ekigambo kye, kubanga ye yatutonda era amanyi ebisobola okutuleetera essanyu.

OBULAGIRIZI OBWESIGIKA

Ebifaananyi: 1. Omusajja ng’ali mu ggaali y’omukka era ng’asomera ku ssimu ye. 2. Ku ssimu ye kuliko Bayibuli.

Tusobola okwesiga ebyo Bayibuli by’eyogera ku biseera eby’omu maaso, kubanga ebintu ebiriwo leero n’engeri abantu gye beeyisaamu Bayibuli yabyogerako dda emyaka nga 2,000 emabega.

EBINTU EBIRIWO

“Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka. Walibaawo musisi ow’amaanyi, era walibaawo enjala n’endwadde ez’amaanyi.”​—LUKKA 21:10, 11.

ENGERI ABANTU GYE BEEYISAAMU

“Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo. Kubanga abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, nga beepanka, nga ba malala, nga bavvoola, nga tebagondera bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga si beesigwa, nga tebaagala ba luganda lwabwe, nga tebakkiriza kukkaanya, nga bawaayiriza, nga tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bintu birungi, nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza, nga baagala eby’amasanyu mu kifo ky’okwagala Katonda.”​—2 TIMOSEEWO 3:1-4.

Kijja kitya okuba nti Bayibuli yayogera ku bintu ebiriwo leero era ne bituukirira? Awatali kubuusabuusa, naawe osobola okukkiriziganya ne Leung abeera mu Hong Kong, eyagamba nti: “Obunnabbi obwo bwawandiikibwa dda nnyo. Tekisoboka kuba nti omuntu obuntu ye yayogera ebintu ebyo era ne bituukirira. Wateekwa okuba nga waliwo eyaluŋŋamya abo abaawandiika Bayibuli era ng’asingira wala abantu.”

Bayibuli erimu obunnabbi bungi nnyo obutuukiridde.b Ekyo kiraga nti ddala Bayibuli Kigambo kya Katonda. Yakuwa agamba nti: “Nze Katonda, era teriiyo alinga nze. Okuva ku lubereberye nnangirira ebintu ebiribaawo.” (Isaaya 46:9, 10) N’olwekyo osobola okwesiga ebyo Bayibuli by’eyogera ku biseera eby’omu maaso.

OBULAGIRIZI OBUKUGANYULA KATI ERA OBUJJA OKUKUGANYULA EMIREMBE GYONNA

Abazadde nga batambula n’abaana baabwe nga babakutte ku mikono era bonna basanyufu.

Bw’okolera ku bulagirizi obuli mu Byawandiikibwa Ebitukuvu, osobola okuganyulwa. Ka tulabeyo obumu ku bwo.

AMAGEZI AMALUNGI AGAKWATA KU SSENTE NE KU KUKOLA

“Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo era n’okugoba empewo.”​—OMUBUULIZI 4:6.

AMAKA

“Buli omu ku mmwe agwanidde okwagalanga mukyala we nga bwe yeeyagala kennyini; n’omukyala asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.”​—ABEEFESO 5:33.

OKUKOLAGANA N’ABALALA

“Tosunguwalanga era toswakiranga; tonyiiganga n’okola ebintu ebibi.”​—ZABBULI 37:8.

Bw’okolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli, ojja kuba n’obulamu obulungi kati era ne mu biseera eby’omu maaso. Bayibuli eraga ebintu ebirungi Katonda by’asuubiza ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Ebimu ku byo bye bino

EMIREMBE N’OBUKUUMI

“Baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”​—ZABBULI 37:11.

BULI OMU OKUBA N’AW’OKUBEERA ERA N’EMMERE EMALA

“Balizimba ennyumba ne bazibeeramu, era balisimba ennimiro z’emizabbibu ne balya ebibala byamu.”​—ISAAYA 65:21.

ENDWADDE N’OKUFA BIJJA KUGGWAAWO

“Okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”​—OKUBIKKULIRWA 21:4.

Kiki ky’osaanidde okukola okusobola okuba mu bulamu obwo obulungi obujja okubaawo mu biseera eby’omu maaso? Laba ekitundu ekiddako.

a Okumanya ebisingawo ebikwata ku ngeri Bayibuli gy’evvuunuddwamu n’engeri gy’ebunyisiddwamu, genda ku www.pr418.com/lg wansi wa ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > EBYAFAAYO NE BAYIBULI.

b Okumanya ebisingawo, laba essuula 9 mu katabo The Bible​—God’s Word or Man’s? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Kasangibwa ku www.pr418.com. Genda wansi wa LIBRARY > BOOKS & BROCHURES.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share