Tusobola Okwesiga Amagezi Bayibuli g’Ewa ku Kituufu n’Ekikyamu
Singa tutambuza obulamu bwaffe mu ngeri ffe gye twagala oba nga tusinziira ku ndowooza z’abalala, tetusobola kuba bakakafu nti ebyo ebinaavaamu binaaba birungi. Bayibuli etubuulira ensonga lwaki kiri bwe kityo, era erimu obulagirizi obwesigika obukwata ku mitindo gy’empisa obusobola okutuyamba okuba abasanyufu.
TWETAAGA OBULAGIRIZI OBUVA ERI KATONDA
Bayibuli eraga nti twetaaga obulagirizi bwa Yakuwaa Katonda era nti tetusobola kukola kintu kyonna awatali bulagirizi bwe. (Yeremiya 10:23) Eyo ye nsonga lwaki yatuwa emitindo egikwata ku mpisa egiri mu Bayibuli. Yakuwa atwagala nnyo era tayagala tusalewo mu ngeri eneetulumya oba enaakalubya obulamu bwaffe. (Ekyamateeka 5:29; 1 Yokaana 4:8) Ate era olw’okuba ye Mutonzi waffe, alina amagezi n’okumanya okusobola okutuwa obulagirizi obusingayo obulungi obukwata ku mpisa. (Zabbuli 100:3; 104:24) Wadde kiri kityo, Katonda takaka bantu kutambulira ku mitindo gye.
Yakuwa yawa Adamu ne Kaawa buli kimu kye baali beetaaga okusobola okuba abasanyufu. (Olubereberye 1:28, 29; 2:8, 15) Ate era yabawa ebiragiro ebitaali bizibu kugondera, ng’asuubira nti bandibigondedde. Kyokka yabaleka beesalirewo obanga banaagondera ebiragiro ebyo oba nedda. (Olubereberye 2:9, 16, 17) Eky’ennaku, Adamu ne Kaawa baasalawo okutambulira ku mitindo gyabwe mu kifo ky’okutambulira ku mitindo gya Katonda. (Olubereberye 3:6) Biki ebyavaamu? Abantu basobodde okuba abasanyufu nga bakola ekyo bo kye balowooza nti kye kituufu? Nedda. Ebyafaayo biraze nti bwe tutatambulira ku mitindo gya Katonda, tetusobola kuba mu mirembe n’essanyu eby’olubeerera.—Omubuulizi 8:9.
Bayibuli erimu amagezi ge twetaaga okusobola okusalawo obulungi, ka tube nga tubeera mu kitundu ki eky’ensi. (2 Timoseewo 3:16, 17; laba akasanduuko “Ekitabo ky’Abantu Bonna.”) Laba engeri ekyo Bayibuli gy’esobola okukikolamu.
Laba ensonga lwaki Bayibuli eyitibwa “Ekigambo kya Katonda.”—1 Abasessalonika 2:13. Laba vidiyo, Ani Yawandiika Bayibuli? ku jw.org.
BAYIBULI ETUBUULIRA KATONDA BY’AYAGALA TUKOLE
Bayibuli etubuulira engeri Katonda gy’azze akolaganamu n’abantu okuviira ddala ku ntandikwa. Ebyo ebigirimu bituyamba okumanya ebyo Katonda by’atwala nti bituufu, n’ebyo by’atwala nti bikyamu, eby’omuganyulo, n’ebitali bya muganyulo. (Zabbuli 19:7, 11) Emisingi gye tuyiga okuva mu Bayibuli gituyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi buli lunaku.
Ng’ekyokulabirako, lowooza ku magezi agali mu Engero 13:20: “Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi, naye oyo akolagana n’abasirusiru ajja kugwa mu mitawaana.” Amagezi ago gakyakola ne leero, nga bwe kyali edda. Bayibuli erimu emisingi ng’egyo egisobola okutuyamba.—Laba akasanduuko “Amagezi Agali mu Bayibuli Gakyakola ne Leero.”
Naye oyinza okwebuuza, ‘Nnyinza ntya okuba omukakafu nti emitindo egiri mu Bayibuli egikwata ku mpisa gisobola okunnyamba?’ Ekitundu ekiddako kiraga engeri Bayibuli gye yayambamu abantu abatali bamu.
a Yakuwa lye linnya Katonda.—Zabbuli 83:18.