LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w21 Febwali lup. 25
  • Byonna Byaliwo lwa Kamwenyumwenyu!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Byonna Byaliwo lwa Kamwenyumwenyu!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Similar Material
  • Emiganyulo Egivudde mu Kubuulira nga Tukozesa Akagaali mu Nsi Yonna
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Okwagala Kwe Kwawulawo Abakristaayo ab’Amazima—Kuuma Obumu Bwe Tulina
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Akamwenyumwenyu—Kirabo ky’Osobola Okugabana n’Abalala
    Zuukuka!—2017
  • Lwaki Nsaanidde Okugenda mu Nkuŋŋaana ku Kingdom Hall?
    Abavubuka Babuuza
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
w21 Febwali lup. 25

Byonna Byaliwo lwa Kamwenyumwenyu!

Helen ng’ayimiridde okumpi n’akagaali okuteekebwa ebitabo era ng’ataddeko akamwenyumwenyu. Abawala babiri bayitawo.

ABAWALA babiri bwe baali batambula mu kibuga Baguio eky’omu Philippines, baalaba akagaali okwali kuteekeddwa ebitabo naye tebaagenda we kaali. Mwannyinaffe Helen eyali ayimiridde okumpi n’akagaali ako yabateerako akamwenyumwenyu. Abawala abo beeyongerayo gye baali bagenda naye baasigala beewuunya akamwenyumwenyu ako.

Oluvannyuma bwe baali mu bbaasi nga baddayo ewaabwe, baalaba ekipande ekinene ku Kizimbe ky’Obwakabaka nga kiriko ennukuta jw.org. Bajjukira nti ennukuta ezo ze zimu ze baali balabye ku kagaali. Baava mu bbaasi ne bagenda ku Kizimbe ky’Obwakabaka ne beetegereza akapande akalaga enkuŋŋaana ez’enjawulo we zibeererawo.

Abawala abo be bamu nga basanyufu oluvannyuma lw’okulaba Helen ku Kizimbe ky’Obwakabaka.

Abawala abo baagenda mu lumu ku nkuŋŋaana ezaddako. Beewuunya nnyo bwe baalaba Helen nga bayingidde mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Baamutegeererawo nti ye mukyala gwe baali balabye ng’ataddeko akamwenyumwenyu. Helen agamba nti: “Bwe baali bajja w’endi, nnafunamu okutya. Nnalowooza nti oboolyawo waliwo ekikyamu kye nnali nkoze.” Naye abawala abo baamunnyonnyola nti baali baamulaba ku kagaali.

Abawala abo baanyumirwa nnyo olukuŋŋaana n’okubeerako awamu n’ab’oluganda. Bwe baalaba abalala nga bayonja Ekizimbe ky’Obwakabaka oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, baabuuza obanga nabo baali basobola okwenyigiramu. Omu ku bawala abo takyabeera mu Philippines, naye omulala abeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa era yatandika okuyiga Bayibuli. Ebyo byonna byaliwo lwa kamwenyumwenyu!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share