LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g17 Na. 1 lup. 8-9
  • Akamwenyumwenyu—Kirabo ky’Osobola Okugabana n’Abalala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Akamwenyumwenyu—Kirabo ky’Osobola Okugabana n’Abalala
  • Zuukuka!—2017
  • Subheadings
  • Similar Material
  • AKAMWENYUMWENYU KE BASSAAKO KANNYAMBA NNYO
  • Essomo 5
    Bye Njiga mu Bayibuli
  • Okukozesa Ebitundu by’Omubiri n’Endabika ey’Oku Maaso
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Byonna Byaliwo lwa Kamwenyumwenyu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Kisoboka Okuba Omusanyufu mu Kiseera Kino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
See More
Zuukuka!—2017
g17 Na. 1 lup. 8-9
Abantu ab’emyaka egy’enjawulo era abava mu mawanga ag’enjawulo nga bataddeko akamwenyumwenyu

Akamwenyumwenyu​—Kirabo ky’Osobola Okugabana n’Abalala

OMUNTU bw’akumwenyeza, kiki ky’okola? Emirundi egisinga obungi naawe omwenya. Mu butuufu, omuntu bw’akumwenyeza, k’abe mukwano gwo oba omuntu omulala gw’otomanyi, kikuleetera okuwulira obulungi. Omukazi ayitibwa Magdalena yagamba nti: “Omwami wange Georg eyafa yateekangako akamwenyumwenyu. Bwe twasisinkanyanga amaaso, nnawuliranga bulungi nnyo.”

Akamwenyumwenyu kasobola okulaga nti omuntu alina ekimusanyusizza. Magazini emu eyogera ku nneeyisa y’abantu eyitibwa Observer, yagamba nti: “Kirabika ffenna eky’okumwenya kyatutonderwamu. N’abaana abawere basobola okutegeera nti omuntu abamwenyerezza oba nedda.” Magazini eyo era yagamba nti: “Akamwenyumwenyu omuntu k’ateekako kalina kye kategeeza abalala era kakwata ku ngeri gye beeyisamu.”a

Abakugu abamu ab’omu yunivasite y’e Harvard mu Amerika beekenneenya engeri bannamukadde abatali bamu gye baakwatibwangako ng’abasawo ababajjanjaba bateekako akamwenyumwenyu. Abalwadde abaali bajjanjabwa abasawo abassangako akamwenyumwenyu, baawuliranga bulungi era embeera yaabwe yatereeranga mangu. Naye abo abaali bajjanjabwa abasawo abatassaako kamwenyumwenyu embeera yaabwe yalwangawo okutereera.

Bw’oteekako akamwenyumwenyu naawe kikuganyula. Okunoonyereza kulaga nti abantu abassaako akamwenyumwenyu tebatera kwenyooma, baba basanyufu, era tebatera kweraliikirira nnyo. Naye ekyo si bwe kiri eri abo abatassaako kamwenyumwenyu.

AKAMWENYUMWENYU KE BASSAAKO KANNYAMBA NNYO

Magdalena, ayogeddwako waggulu, yali Mujulirwa wa Yakuwa. Mu kiseera kya Ssematalo II, Magdalena, maama we, ne muganda we baasindikibwa mu nkambi y’abasibe ey’e Ravensbrück mu Bugirimaani olw’okugaana okwegatta ku Banazi. Agamba nti: “Oluusi abasirikale baatugaananga okwogera n’abasibe abalala. Naye baali tebasobola kutulemesa kuteekako kamwenyumwenyu. Okulaba obulabi maama wange ne muganda wange nga bataddeko akamwenyumwenyu kyanzizangamu nnyo amaanyi era kyandeetera okuba omumalirivu okusigala nga ndi mwesigwa eri Katonda.”

Oboolyawo oyinza okuba ng’olina ebikweraliikiriza bingi era ng’owulira nti tebisobola kukuganya kuteekako kamwenyumwenyu. Naye kijjukire nti ebyo bye tulowooza bikwata ku nneewulira zaffe. (Engero 15:15; Abafiripi 4:8, 9) N’olwekyo, fuba okukola kyonna ekisoboka okumalira ebirowoozo byo ku bintu ebirungi era ebireeta essanyu.b Okusoma Bayibuli n’okusaba biyambye abantu bangi okumalira ebirowoozo byabwe ku bintu ebireeta essanyu. (Matayo 5:3; Abafiripi 4:6, 7) Mu butuufu, ebigambo “essanyu” birabika emirundi mingi mu Bayibuli! Lwaki tofuba okusomangayo olupapula lumu oba bbiri eza Bayibuli buli lunaku? Bw’okola bw’otyo, ekyo kisobola okukuyamba okutandika okuteekangako akamwenyumwenyu.

Tolinda balala kusooka kukumwenyeza. Ggwe bamwenyeze. Ekyo bw’okikola, osobola okuleetera abalala essanyu. N’olwekyo, fuba okukozesa ekirabo Katonda kye yakuwa eky’okuteekako akamwenyumwenyu okuganyula abalala. N’ekinaavaamu, naawe ojja kuganyulwa.

a Ng’ekozesa olulimi olw’akabonero, Bayibuli eraga nti Katonda naye amwenya. Zabbuli 4:6 wagamba nti: “Ekitangaala ky’obwenyi bwo ka kitwakire, Ai Yakuwa.”

b Laba Awake! eya Noovemba 2013, olupapula 16

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share