LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w22 Apuli lup. 15
  • Baawa Embwa Zange Bisikwiti

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Baawa Embwa Zange Bisikwiti
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Similar Material
  • Engeri Obwannamwandu Gye Bwayisaamu Abakazi Babiri
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Obadde Okimanyi?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Yakuwa Mwesigwa era Asonyiwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
w22 Apuli lup. 15
Omusajja ng’atambuza embwa ze bbiri. Atuuka awali Abajulirwa ba Yakuwa abayimiridde okumpi n’akagaali okuli ebitabo.

Baawa Embwa Zange Bisikwiti

NICK abeera mu Oregon mu Amerika agamba nti: “Lumu nnatwala embwa zange bbiri okuzitambuzatambuzaako mu kitundu gye nnali mbeera. Nnateranga okusanga Abajulirwa ba Yakuwa mu kifo ekimu mu kibuga nga bayimiridde okumpi n’akagaali kaabwe okuba ebitabo. Baayambalanga bulungi, era baabuuzanga buli omu nga bataddeko akamwenyumwenyu.

“Abajulirwa ba Yakuwa ekisa tebaakiraganga bantu bokka, wabula baakiraganga n’embwa zange. Lumu, Elaine, eyali ayimiridde okumpi n’akagaali yawa embwa zange bisikwiti. Oluvannyuma buli lwe nnayisanga embwa zange mu kifo ekyo, zeesikanga nga zaagala okugenda okulya bisikwiti.

“Waayitawo emyezi egiwera ng’embwa ziwoomerwa bisikwiti gwe baaziwanga era nga nange nnyumirwa okwogerako n’Abajulirwa ba Yakuwa, naye nnali saagala kwogera bingi nabo. Nnali nsussa emyaka 70 egy’obukulu era nnali simanyi bulungi Bajulirwa ba Yakuwa bye bakkiriza. Olw’okuba nnali nneetamiddwa enjigiriza z’amakanisa mangi, nnali nsazeewo okwesomera Bayibuli ku lwange.

“Mu kiseera ekyo, nnalabanga Abajulirwa ba Yakuwa mu bitundu ebirala eby’ekibuga nga bayimiridde okumpi n’obugaali okuli ebitabo. Nabo baabanga basanyufu. Baddangamu ebibuuzo byange nga bakozesa Bayibuli, era ekyo kyandeetera okweyongera okubeesiga.

“Lumu, Elaine yambuuza nti, ‘Okikkiriza nti ebisolo kirabo okuva eri Katonda?’ Nnamuddamu nti, ‘Yee, nkikkiriza!’ Oluvannyuma yansomera Isaaya 11:6-9. Ekyawandiikibwa ekyo kyankwatako nnyo, wadde nga mu kiseera ekyo nnali sinnakkiriza kutwala bitabo byabwe.

“Mu nnaku ezaddirira, nnanyumirwanga nnyo okukubaganya ebirowoozo ne Elaine awamu n’omwami we, Brent. Bankubiriza okusoma Matayo okutuuka ku Ebikolwa by’Abatume, nsobole okumanya kye kitegeeza okweyisa ng’Omukristaayo. Era ekyo nnakikola. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, mu 2016, nnakkiriza okuyiga Bayibuli ne Brent awamu ne Elaine.

“Buli wiiki nneesunganga okuyiga Bayibuli era n’okugenda mu nkuŋŋaana ku Kingdom Hall. Nnawuliranga essanyu lingi okuyiga amazima agali mu Bayibuli. Oluvannyuma lw’omwaka nga gumu, nnabatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Kati nnina emyaka 79, era ndi mukakafu nnazuula eddiini ey’amazima. Yakuwa yanzikiriza okuba omu ku baweereza be era ampadde emikisa mingi.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share