Engeri Obwannamwandu Gye Bwayisaamu Abakazi Babiri
SANDRA nnamwandu abeera mu Australia. Omwami we bwe yafa emyaka egiyise, Sandra yafuna ekikangabwa eky’amaanyi. “Okutegeera nti nnali nfiiriddwa bba wange era mukwano gwange nfiira bulago ekibwatukira, kyamalamu nnyo amaanyi. Mazima ddala siyinza kujjukira ngeri gye nnatuukamu awaka nga nva mu ddwaliro oba kye nnakola olunaku olwo lwonna. Mu wiiki ezaddirira, okutya kwe nnalina kwandeteranga obulumi mu mubiri buli kiseera.”
Sandra alina Elaine mukwano gwe amusingako obukulu era abadde nnamwandu okumala emyaka mukaaga. Elaine yajanjaba Dawudi bbaawe , okumala emyezi mukaaga nga kookolo tannamutta. Ennaku gye yalina yali ya maanyi nnyo ne kiba nti amangu ddala oluvannyuma lw’okufa kwa bbaawe, yaziba amaaso okumala akaseera. Nga wayiseewo emyaka ebiri yazirikira mu lujjudde. Omusawo we teyazuula kintu kyonna kiraga nti yali mulwadde. Kyokka, yakizuula nti Elaine yali azibiikiriza ennaku ye. N’olwekyo, yamuwa amagezi addeyo eka agezeeko okukaaba. “Kyantwalira ekiseera okwaŋŋanga ennaku yange,” bw’atyo Elaine bw’agamba. Agattako nti, olw’ekiwuubaalo, “nnagendanga mu kisenge ne nneebika engoye za Dawudi ku mutwe.”
Yee, okufa kw’omwagalwa mu bufumbo kuyinza okuleetawo obuzibu obutali bumu, kubanga mazima ddala obwannamwandu buzingiramu ekisingawo ku kubeera obubeezi nga tolina mwami. Ng’ekyokulabirako, okumala ekiseera Sandra yawulira nga obulamu bwe bukyuse. Okufaananako bannamwandu bangi abaakafiirwa babbaabwe, naye yawulira nga takyalina buyambi wadde obukuumi. Sandra ajjukira: “Olw’okuba bba wange ye yakolanga okusalawo okw’enkomerero, kati nnali nsigadde nzekka okukola okusalawo ng’okwo. Nnali sikyebaka bulungi. Nnabanga mukowu nnyo. Kyali kizibu okumanya eky’okukola.”
Ebyokulabirako ebifaananako ebya Sandra ne Elaine bibaawo bulijjo mu nsi yonna. Obulwadde, obubenje, entalo, oba okutirimbula n’okugoba abantu ab’ekika ekimu mu bugenderevu era n’obukambwe okutwalira awamu kwongedde ku bungi bwa bannamwandu.a Bangi ku bannamwandu banno babonaabona kimugunyu, nga tebamanyi kya kukola. Ab’emikwano n’ab’eŋŋanda bayinza kukola ki okuyamba abo abafuuse bannamwandu? Ekitundu ekiddako kirina ebirowoozo ebiyinza okuba eby’omuganyulo.
[Obugambo obuli wansi]
a Abakazi abalala bali mu mbeera ng’eza bannamwandu olw’okuba babbaabwe baabaabulira. Wadde okwawukana n’okugattululwa mu bufumbo ng’okwo kuleetawo ebizibu eby’enjawulo, emisingi mingi egyogerwako mu kitundu ekiddako nagyo giyinza okuyamba abakazi abali mu mbeera ezo.