LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 5/1 lup. 4-7
  • Okuyamba Bannamwandu mu Kugezesebwa Kwabwe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuyamba Bannamwandu mu Kugezesebwa Kwabwe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bawe Obuyambi Naye nga Tobafuga
  • Obuyambi Okuva mu b’Omu Maka
  • Semberera Katonda
  • Katonda Akozesa Bakristaayo Bannaffe
  • Okubudaabuda okw’Olubeerera Okuva eri Kabaka w’Ensi Omuppya
  • “Gy’Onoogendanga, Gye Nnaagendanga”
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Luusi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • ‘Omukazi Omwegendereza’
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Luusi ne Nawomi
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 5/1 lup. 4-7

Okuyamba Bannamwandu mu Kugezesebwa Kwabwe

OLUMU ku ngero ezimanyiddwa obulungi ezikwata ku bannamwandu lwe lw’omu Baibuli olukwata ku Luusi ne nnyazaala we Nawomi. Abakyala bombi baali bannamwandu. Kyokka, ye Nawomi yafiirwa bbaawe awamu ne batabani be ababiri, omu ku bo eyali mwami wa Luusi. Olw’okuba baabeeranga mu bantu abalimi ng’ate abakazi baali beesigama nnyo ku basajja, ddala embeera zaabwe zaali mbi nnyo.​—Luusi 1:1-5, 20, 21.

Kyokka, Nawomi yalina mukwano gwe nfiira bulago Luusi eyali muka mwana we era eyamubudaabudanga, n’agaana okumulekulira. Nga wayiseewo ekiseera, Luusi yafuuka ‘mulungi eri Nawomi okusinga abaana ab’obulenzi omusanvu’ si lwa kwagala okw’amaanyi ennyo kwe yalina eri Nawomi kyokka naye era n’olw’okwagala kwe yalina eri Katonda. (Luusi 4:15) Nawomi bwe yagamba Luusi nti addeyo ewaabwe mu Bamowaabu eri mikwano gye, Luusi yaddamu ng’ayogera ebimu ku bigambo ebisingirayo ddala okubeera eby’obwesigwa ebyali biwandiikiddwa: “Gy’onoogendanga, gye nnaagendanga nze: era gy’onoosulanga, gye nnaasulanga nze: abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange: gy’olifiira, nze gye ndifiira, era gye balinzi[i]ka: Mukama ankole bw’atyo era n’okusingawo, oba ng’ekigambo kyonna kiritwawukanya ggwe nange wabula okufa.”​—Luusi 1:16, 17.

Yakuwa Katonda yalaba endowooza ya Luusi. Yawa omukisa amaka amatono aga Nawomi ne Luusi, era oluvannyuma Luusi yafumbirwa Bowaazi Omuisiraeri. Omwana waabwe, eyafuuka jjajja wa Yesu Kristo, yalabirirwa Nawomi nga gy’obeera nti yali mwana we yennyini. Ebyafaayo bino kye kimu ku ebyo ebiraga nti bannamwandu abeesigwa era abasemberera Yakuwa ba muwendo. Era, Baibuli etutegeeza nti abo abayamba bannamwandu mu ngeri ey’okwagala mu kugezesebwa kwabwe, abatwala nga ba muwendo. Kati olwo ffe tuyinza tutya okuyamba bannamwandu be tulina leero?​—Luusi 4:13, 16-22; Zabbuli 68:5.

Bawe Obuyambi Naye nga Tobafuga

Bw’oba owa nnamwandu obuyambi, kiba kirungi okukyoleka obulungi naye nga tobafuga. Weewale ebigambo nga, “Bw’oba olina ekintu kyonna kye weetaaga ntegeeza.” Ekyo kiyinza okufaananako okugamba omuntu awulira empewo era enjala gw’eruma nti ‘Genda n’emirembe obugume era okkute.’ (Yakobo 2:16) Abantu bangi tebajja kusaba buyambi wadde nga balina kye beetaaga, wabula balumwa kasirise. Okuyamba abali bwe batyo kyetaagisa okutegeera ebyetaago byabwe bwe biri. Ku luuyi olulala, okugezaako okufuga obulamu bwa nnamwandu kiyinza okukosa enneewulira ze ez’omunda oba okuleetawo obutategeeragana. N’olwekyo, Baibuli eggumiza obwetaavu bw’obutagwa lubege mu nkolagana yaffe n’abalala. Wadde ng’etukubiriza okufaayo ku balala, era etujjukiza obuteeyingiza mu nsonga z’abalala.​—Abafiripi 2:4; 1 Peetero 4:15.

Luusi yayoleka endowooza ng’eyo etagudde lubege eri Nawomi. Wadde nga yanywerera ku nnyazaala we, Luusi teyamupikiriza oba okugezaako okumufuga. Alina kye yakolawo, gamba ng’okufuna emmere eyiye era n’eya Nawomi, naye era yagoberera ebiragiro bya Nawomi.​—Luusi 2:2, 22, 23; 3:1-6.

Kya lwatu, omuntu omu kye yeetaaga kiyinza okwawukana ennyo ku ky’omulala. Sandra eyayogeddwako mu ntandikwa, agamba: “Nnafuna kye nali nneetaaga mu nnaku yange. Ab’emikwano abaagalwa baankyaliranga.” Ku ludda olulala, Elaine eyayogeddwako mu ntandikwa yali yeetaaga okubeera yekka. N’olwekyo, okubeera omuntu omuyambi kitegeeza okukozesa okutegeera n’obutagwa lubege ng’omanyi ddi omuntu lwe yeetaaga okubeera yekka era ne lwe kyetaagisa okugenda okumuyamba.

Obuyambi Okuva mu b’Omu Maka

Amaka amalungi, agalimu okwagala, singa gabaawo, galina kinene kye gayinza okukola okukakasa nnamwandu nti ajja kusobola okwaŋŋanga embeera ye ey’obwannamwandu. Wadde ab’omu maka abamu bayinza okuwa obuyambi obusinga ku bw’abalala, bonna bayinza okubaako kye bakola. “Naye nnamwandu yenna bw’aba n’abaana oba bazzukulu, basookenga okuyiga okwegendereza eri ab’omu nnyumba zaabwe, n’okusasula bakadde baabwe: kubanga ekyo kye kikkirizibwa mu maaso ga Katonda.”​—1 Timoseewo 5:4.

Mu mbeera nnyingi, obuyambi obw’esente oba “okusasula” biyinza okuba nga byetaagisa. Bannamwandu abamu balina ssente ezibamala okukola ku byetaago byabwe, ate abalala balina ebisaanyizo by’okufuna obuyambi okuva mu gavumenti, obuweebwa mu nsi ezimu. Naye bannamwandu bwe babeera n’obwetaavu, ab’omu maka basaanidde okubayamba. Bwe kiba nti nnamwandu talina baŋŋanda okumuyamba oba nga ebeŋŋanda tebalina busobozi bwa kumuyamba, Ebyawandiikibwa bikubiriza bakkiriza banne okumuwa obuyambi: “Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n’okwekuumanga obutaba na mabala ag’omu nsi.”​—Yakobo 1:27.

Abo abassa mu nkola emitindo gino egy’omu Baibuli mazima ddala ‘bawa bannamwandu ekitiibwa.’ (1 Timoseewo 5:3) Okuwa omuntu ekitiibwa kitegeeza, okukyoleka eri omuntu oyo. Abantu abaweebwa ekitiibwa bawulira nga ba muwendo era nga baagalibwa. Tebakitwala nti abantu babayamba olw’okuba bateekwa okukikola. Wadde nga Luusi yali nnamwandu okumala akabanga, yassaamu Nawomi ekitiibwa era mu ngeri ey’okwagala n’akakasa nti ebyetaago bya Nawomi eby’omubiri n’ebikwata ku nneewulira ze bikolebwako. Mu butuufu, enneeyisa ya Luusi yamufunyisa mangu erinnya eddungi, ne kiba nti eyali bbaawe mu biseera eby’omu maaso yamugamba: “Kubanga ekibuga kyonna eky’abantu bange bamanyi ng’oli mukazi mwegendereza.” (Luusi 3:11) Mu kiseera kye kimu, okwagala Nawomi kwe yalina eri Katonda, n’embeera ye ey’obutakaluubiriza balala, n’okusiima kwe yalaga Luusi olw’okufuba ku lulwe, awatali kubuusabuusa byaleetera Luusi okumuyamba n’essanyu. Nga Nawomi kyakulabirako kirungi nnyo eri bannamwandu leero!

Semberera Katonda

Kya lwatu, ab’omu maka n’ab’emikwano tebayinza kuggyawo kiwuubaalo ekiba kizzeewo olw’okufiirwa munno mu bufumbo. N’olw’ensonga eno, kikulu nnyo omuntu afiiriddwa okusemberera ‘Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna, atubudaabuda mu buli kibonoobono kyaffe.’ (2 Abakkolinso 1:3, 4) Lowooza ku kyokulabirako kya Ana, nnamwandu omunyiikivu eyalina emyaka 84 egy’obukulu mu kiseera Yesu kye yazaalibwamu.

Omwami wa Ana bwe yafa nga baakamala mu bufumbo emyaka musanvu gyokka, Ana yakyukira Yakuwa okubudaabudibwa. ‘Teyavanga mu yeekaalu, ng’asinza n’okusiibanga n’okwegayiriranga ekiro n’emisana.’ (Lukka 2:36, 37) Yakuwa yayanukula Ana olw’okummwemalirako? Yee! Yamulaga okwagala mu ngeri ey’enjawulo ng’amukkiriza okulaba omwana eyandibadde Omulokozi w’ensi. Nga kino kyasanyusa era n’ekibudaabuda nnyo Ana! Mazima ddala, yategeera amazima agali mu Zabbuli 37:4: “Sanyukiranga Mukama: naye anaakuwanga omutima gwo bye gusaba.”

Katonda Akozesa Bakristaayo Bannaffe

Elaine agamba: “Okumala ekiseera kiwanvu, oluvannyuma lw’okufa kwa Dawudi, nnalumizibwanga mu mubiri, nga nninga afumitiddwa akambe mu mbirizi. Nnalowooza nti olubuto lwange lwalina obuzibu mu kusa emmere. Olumu kyali kibi nnyo ne njagala n’okugenda okulaba omusawo. Mwannyinaffe omu mu by’omwoyo era mukwano gwange yampa amagezi nti ennaku yange yandiba nga y’enviirako ekyo era n’ankubiriza okusaba Yakuwa obuyambi n’okubudaabudibwa. Mangu ddala nnakozesa amagezi ge era ne nsaba mu kasirise okuviira ddala mu mutima, nga nsaba Yakuwa ampanirire mu nnaku yange. Era Yakuwa yanyamba!” Elaine yatandika okuwulira obulungi. Era mangu ddala oluvannyuma lw’ekyo n’obulumi bwe yalina mu mubiri bwagenda.

Naddala abakadde b’ekibiina basobola okukola emikwano ne bannamwandu abali mu nnaku. Nga babawa obuyambi obw’eby’omwoyo obutayosa n’okubabudaabuda mu ngeri ey’amagezi, abakadde bayinza okubayamba okubeera okumpi ne Yakuwa wadde nga bagezesebwa. We kyetaagisa, abakadde era bayinza okukola enteekateeka ez’okubawa obuyambi obw’ebintu. Abakadde ng’abo abalaga okwagala era abooleka okutegeera mazima ddala baba “ng’ekifo ky’okwekwekamu eri empewo.”​—Isaaya 32:2; Ebikolwa 6:1-3.

Okubudaabuda okw’Olubeerera Okuva eri Kabaka w’Ensi Omuppya

Oyo Ana omukadde gwe yasanyuka okulaba emyaka nga enkumi bbiri emabega kati ye Masiya era Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu. Gavumenti eno mangu ddala ejja kuggyawo byonna ebireeta ennaku, nga mw’otwalide n’okufa. Ku nsonga eno, Okubikkulirwa 21:3, 4 wagamba: “Laba, eweema ya Katonda awamu n’abantu . . . Naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.” Weetegerezza nti ebigambo ebyo bikwata ku “bantu”? Yee, abantu bajja kununulibwa okuva mu kufa n’ennaku n’okukaaba kwonna okuleetebwa okufa.

Naye wakyaliyo amawulire amalungi agasingawo ne ku ago! Baibuli era esuubiza okuzuukira kw’abafu. “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi [lya Yesu], ne bavaamu.” (Yokaana 5:28, 29) Nga Lazaalo, Yesu gwe yazuukiza okuva mu bafu, bajja kuvaamu ng’abantu, so si ng’ebitonde eby’omwoyo. (Yokaana 11:43, 44) Abo ‘abanaakola ebintu ebirungi’ oluvannyuma lw’okuzuukira bajja kufuuka batuukirivu era kinnoomu, Yakuwa ajja kubalabirira nga taata waabwe ‘ng’ayanjuluza engalo ze akkuse buli kintu kiramu bye kyagala.’​—Zabbuli 145:16.

Abo abaafiirwa omwagalwa era abakkiririza mu ssuubi lino ekkakafu bafuna okubudaabudibwa okw’amaanyi. (1 Abasessaloniika 4:13) Kale nno, bw’oba ng’oli nnamwandu, kakasa nti ‘osabanga obutayosa’ ofune okubudaabudibwa n’obuyambi bwe weetaaga buli lunaku osobole okwetikka obuvunaanyizibwa bwo obutali bumu. (1 Abasessaloniika 5:17; 1 Peetero 5:7) Era funa ekiseera buli lunaku okusoma Ekigambo kya Katonda ebirowoozo bye bisobole okukubudaabuda. Bw’onookola ebintu bino, ojja kukitegeera ggwe kennyini engeri Yakuwa gy’asobola okukuyamba okufuna emirembe wadde ng’oyolekaganye n’okugezesebwa era n’okusoomoozebwa okungi.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]

Okubeera omuntu omuyambi kitegeeza okukozesa okutegeera n’obutagwa lubege ng’omanya ddi omuntu lwe yeetaaga okubeera yekka era ne lwe kyetaagisa okumuyamba

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Katonda yawa nnamwandu omukadde Ana omukisa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share