LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 5/1/05 lup. 29-32
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Luusi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Luusi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘GY’ONOOGENDANGA NANGE GYE NNAAGENDANGA’
  • (Luusi 1:1–2:23)
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
  • Bye Tuyigamu:
  • NAWOMI ‘AJJULA’
  • (Luusi 3:1–4:22)
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
  • Bye Tuyigamu:
  • Katonda ‘Alikugulumiza ng’Ekiseera Kituuse’
  • ‘Omukazi Omwegendereza’
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • “Gy’Onoogendanga, Gye Nnaagendanga”
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Luusi ne Nawomi
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Ebirimu
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 5/1/05 lup. 29-32

Ekigambo kya Yakuwa Kiramu

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Luusi

EKITABO kya Luusi kirimu ekyokulabirako ekirungi eky’abakazi babiri buli omu eyanywerera ku munne. Ekitabo kino kiraga engeri omuntu gy’ayinza okulagamu nti ayagala Yakuwa Katonda era nti assa obwesige mu nteekateeka ye. Ebikirimu biraga nti Yakuwa atwala olunyiriri lwa Masiya nga lukulu nnyo. Ekitabo kino kyogera ku by’essanyu n’ennaku amaka agamu bye gaalaba. Ekitabo kya Luusi tekikoma ku kwogera ku ebyo byokka.

Ekitabo kya Luusi kyogera ku bintu ebyaliwo mu myaka nga 11, “mu nnaku abalamuzi ze baalamuliramu” Isiraeri. (Luusi 1:1) Kyandiba ng’ebiri mu kitabo kino byaliwo ng’ekiseera ky’Abalamuzi kyakatandika, okuva bwe kiri nti Bowaazi, nnannyini ttaka ayogerwako mu kitabo kino, yali mutabani wa Lakabu eyaliwo mu biseera bya Yoswa. (Yoswa 2:1, 2; Luusi 2:1; Matayo 1:5) Kirabika Samwiri ye yawandiika ekitabo kino mu 1090 B.C.E. Kino kye kitabo kyokka mu Baibuli ekiyitibwa erinnya ly’omukazi ataali Muisiraeri. Obubaka obukirimu ‘bulamu era bwa mugaso.’​—Abaebbulaniya 4:12.

‘GY’ONOOGENDANGA NANGE GYE NNAAGENDANGA’

(Luusi 1:1–2:23)

Nawomi ne Luusi bwe batuuka e Besirekemu, abantu babatunuulira. Nga basonga mu oyo asingako obukulu, abakazi b’omu kibuga beewuunaganya nga bagamba nti: ‘Ono si ye Nawomi?’ Nawomi abaddamu nti: “Temumpita Nawomi naye mumpite Mala, kubanga Omuyinza w’ebintu byonna yankola ebikaawa ennyo. Nnava wano nga nzijudde era Mukama ankomezzaawo ewattu nga sirina kantu.”​—Luusi 1:19-21.

Ekiseera Nawomi we yaviira mu Besirekemu okugenda e Mowaabu, ng’enjala egudde mu Isiraeri, yali “ajjudde,” mu ngeri nti yalina omwami n’abaana ab’obulenzi babiri. Nga baakamala ekiseera kitono mu Mowaabu, omwami we Erimereki afa. Oluvannyuma batabani be ababiri bawasa abakazi Abamowaabu, Olupa ne Luusi. Bwe wayita emyaka nga kkumi batabani be ababiri nabo bafa nga tebazaddeyo mwana, era abakazi abo abasatu basigala bokka. Nawomi, nnyazaala waabwe bw’asalawo okuddayo mu Yuda, bannamwandu ababiri bamugoberera. Nga bali ku lugendo, Nawomi asaba abakazi abo okuddayo e Mowaabu bafumbirwe abasajja ab’ewaabwe. Olupa akkiriza. Kyokka, ye Luusi yeesiba ku Nawomi ng’amugamba nti: ‘Gy’onoogendanga nange gye nnagendanga, era gy’onoosulanga nange gye nnaasulanga. Abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange.’​—Luusi 1:16.

Bannamwandu bano ababiri, Nawomi ne Luusi, baatuuka e Besirekemu, ng’ekiseera ky’okukungula eŋŋaano ne sayiri kyakatandika. Ng’agoberera enteekateeka eri mu Mateeka ga Katonda, Luusi agenda mu nnimiro y’omuntu okukuŋŋaanya ebisigalidde. Ekyewuunyisa kiri nti ennimiro gy’agendamu ye ya nnamukadde Omuyudaaya, ayitibwa Bowaazi, alina oluganda ku Erimereki. Bowaazi akwatirwa Luusi ekisa era amukkiriza okukuŋŋanyanga ebisigalidde mu nnimiro “okutuusa bwe baamala amakungula ga sayiri n’amakungula g’eŋŋaano.”​—Luusi 2:23.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

1:8​—Lwaki Nawomi yagamba baka baana be ‘okuddayo mu nnyumba za bannyaabwe’ so si eza bakitaabwe? Tetumanyi bulungi obanga mu kiseera ekyo taata wa Olupa yali akyali mulamu. Naye, ye taata wa Luusi yali akyaliwo. (Luusi 2:11) Wadde kyali kityo, Nawomi yayogera ku nnyumba za bannyaabwe, oboolyawo ng’alowooza nti ekyo kyandibayambye okujjukira engeri bamaama gye baagalamu abaana baabwe. Ate era kyandiba nga yabyogera okusobola okubudaabuda baka baana be abaali abanakuwavu olw’okuba nnyazaala waabwe yali abalekawo. Ayinza n’okuba nga yayogera bw’atyo okulaga Luusi ne Olupa nti, ye teyalina maka ga nkalakkalira nga aga bannyaabwe.

1:13, 21​—Yakuwa ye yaleetera Nawomi ebizibu? Nedda. Nawomi yali tategeeza nti Yakuwa ye yali amuletedde ebizibu. Wabula, bwe yalaba ebyo byonna ebyali bimutuuseeko, yalowooza nti Katonda amuvuddemu. Yawulira ennaku ey’amaanyi. Ng’oggyeko ekyo, mu biseera ebyo omuntu bwe yazaalanga, kyatwalibwanga nti Katonda amuwadde omukisa ate bwe yabanga omugumba kyagambibwanga nti yakolimirwa. Olw’okuba yali tafunye bazzukulu ate nga n’abaana be bafudde, Nawomi ayinza okuba yalowooza nti Yakuwa amutoowazza.

2:12​—‘Mpeera ki etebulako’ Yakuwa gye yawa Luusi? Luusi yazaala omwana ow’obulenzi era n’afuna enkizo ey’okuba omu ku abo abali mu lunyiriri olukulu ennyo mu byafaayo, kwe kugamba, olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu Kristo.​—Luusi 4:13-17; Matayo 1:5, 16.

Bye Tuyigamu:

1:8; 2:20. Wadde nga Nawomi yayita mu bizibu bingi, yasigala mukakafu nti Yakuwa akyamwagala. Naffe twandibadde bakakafu nti Yakuwa akyatwagala, naddala nga twolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi.

1:9. Awaka, tewandibadde kifo ab’omu maka gye basula obusuzi oba gye bafunira eky’okulya. Kisaanidde okuba ekifo ab’omu maka gye bafunira essanyu n’emirembe.

1:14-16. ‘Olupa yaddayo eri abantu be n’eri katonda we.’ Kyokka, ye Luusi teyaddayo. Yeerekereza ebirungi n’obukuumi obwali mu nsi yewaabwe n’anywerera ku Yakuwa. Naffe bwe twagala Katonda era ne twoleka omwoyo gw’okwefiiriza kijja kutuyamba obuteerowoozaako era ‘tetujja kudda nnyuma mu kuzikirira.’​—Abebbulaniya 10:39.

2:2. Luusi yagoberera enteekateeka eyakolerwa bannaggwanga n’abanaku, n’agenda okukuŋŋanya ebyali bisigalidde mu nnimiro. Ekyo kyalaga nti yali mwetoowaze. Omukristaayo ali mu bwetaavu teyandikitutte nti kimufeebya okukkiriza obuyambi bwa baganda be oba obwo gavumenti bw’eyinza okumuwa.

2:7. Wadde nga Luusi yali wa ddembe okukuŋŋaanya ebyali bisigadde mu nnimiro, yasooka kusaba lukusa. (Eby’Abaleevi 19:9, 10) Kino kyalaga nti yali muwombeefu. Kiba kirungi naffe ‘okunoonya obuwombeefu’ kubanga “abawombeefu balisikira ensi era banaasanyukiranga emirembe emingi.”​—Zeffaniya 2:3; Zabbuli 37:11.

2:11. Ng’oggyeko okuba nti Luusi yali muka mwana wa Nawomi, yali mukwano gwe nfiira bulago. (Engero 17:17) Omukwano gwabwe gwali gwa maanyi nnyo olw’okuba gwali gwesigamiziddwa ku kwagala, obwesigwa, ekisa n’okwefiiriza. N’ekisinga byonna, gwali gwesigamiziddwa ku kuba nti bonna baali baagala okuweereza Yakuwa n’okubeera awamu n’abasinza be. Naffe tusobola okufuna emikwano egya nnamaddala mu basinza bannaffe.

2:15-17. Wadde nga Bowaazi alina kye yakola okuwewula ku mulimu gwa Luusi, “Luusi yalonda mu nnimiro n’azibya obudde.” Luusi yali mukazi mukozi. Omukristaayo naye asaanidde okumanyibwa ng’omukozi omunyiikivu.

2:19-22. Nawomi ne Luusi baanyumyanga mu biseera eby’akawungeezi, nga Nawomi afaayo okumanya engeri Luusi gy’ayise mu lunaku era nga buli omu talina ky’akweeka munne. N’ab’omu maka Amakristaayo tebandikoze kye kimu?

2:22, 23. Obutafaananako muwala wa Yakobo Dina, Luusi yalonda emikwano mu basinza ba Yakuwa. Nga yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo!​—Olubereberye 34:1, 2; 1 Abakkolinso 15:33.

NAWOMI ‘AJJULA’

(Luusi 3:1–4:22)

Nawomi akaddiye nnyo era takyasobola kuzaala. N’olw’ekyo asaba Luusi akkirize okufumbirwa omununuzi w’ekibanja mu kifo kye. Ng’akolera ku ekyo Nawomi ky’amugambye, Luusi asaba Bowaazi agule ekibanja ekyo akole ng’omununuzi. Bowaazi mwetegefu okukikola. Naye, waliwo muganda we alina okusooka okuweebwa omukisa ogw’okununula ekibanja ekyo.

Bowaazi asitukiramu. Enkeera, ayita abasajja abakadde kkumi ab’omu Besirekemu ne boogeraganya ne muganda we era n’amubuuza oba nga mwetegefu okununula ekibanja ekyo. Muganda we agaana. N’ekivaamu, Bowaazi akola ng’omununuzi era awasa Luusi. Bazaala omwana ow’obulenzi ne bamutuuma Obedi, eyafuuka jjajja wa Kabaka Dawudi. Abakyala b’omu Besirekemu kati bagamba Nawomi: ‘Yakuwa yeebazibwe akomezzaawo obulamu bwo era aliisa obukadde bwo kubanga muka mwana wo akwagala, akusanyusa okusinga abaana ab’obulenzi omusanvu, abamuzaaliddwa.’ (Luusi 4:14, 15, NW) Omukazi eyali akomyewo e Besirekemu ‘nga talina kantu’ kati azzeemu ‘okujjula’!​—Luusi 1:21.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

3:11​—Kiki ekyafuula Luusi ‘omukazi omwegendereza’? Tekyali ‘kulanga nviiri’ oba ‘okunaanika ezaabu, wadde okwambala engoye.’ Wabula, “omuntu ow’omunda atalabika” kwe kugamba, obwesigwa, okwagala, obwetoowaze, obuwombeefu, obunyiikivu n’omwoyo ogw’okwerekereza. Buli mukazi atya Katonda alina okufuba okukulaakulanya engeri ezo.​—1 Peetero 3:3, 4; Engero 31: 28-31.

3:14​—Lwaki Luusi ne Bowaazi baagolokoka ng’obudde tebunnalaba? Kino baakikola si lwa kuba nti baali bakoze obukaba ekiro nga tebaagala muntu yenna kubalaba. Luusi bye yakola mu kiro ekyo bye byalinanga okukolebwa nnamwandu ayagala okufumbirwa muganda wa bba. Yakolera ku ekyo Nawomi kye yali amugambye. Ate era, ekyo Bowaazi kye yakolawo kiraga bulungi nti talina kikyamu kye yalaba mu ebyo Luusi bye yakola. (Luusi 3:2-13) Kirabika Bowaazi ne Luusi baagolokoka nga tebunnalaba olw’okuba baali tebaagala muntu yenna kubasibako matu ga mbuzi.

3:15​—Bowaazi okuwa Luusi ebigero mukaaga ebya sayiri kyali kitegeeza ki? Ekikolwa ekyo kirabika kyali kiraga nti, ng’omuntu bwe yakolanga ennaku omukaaga n’awummula ku lunaku oluddako, n’ekiseera kya Luusi eky’okuwummula kyali kinaatera okutuuka. Bowaazi yandikoze kyonna ky’asobola okulaba nti Luusi afuna ‘aw’okuwummulira’ mu maka g’omwami we. (Luusi 1:9; 3:1) Ate era, kyandiba ng’ebigero ebyo omukaaga bye byokka Luusi bye yali asobola okwetikka.

3:16​—Lwaki Nawomi yabuuza Luusi nti: “Gwe ani mwana wange?” Yali tategedde nti ye muka mwana we? Kiyinza okuba nga yali tamutegedde, kubanga Luusi we yakomerawo ewa Nawomi, obudde bwali tebunnalaba. Ate era ayinza okuba yali ayagala kumanya engeri ebintu gye bigenzeemu n’omununuzi w’ekibanja.

4:6​—Mu ngeri ki omununuzi gye ‘yandyonoonye’ obusika bwe ng’anunula ekibanja? Okusooka, singa omuntu aba yatunda obutaka bwe olw’obwavu, ssente omununuzi ze yalina okusasula zandisinzidde ku myaka egibulayo okutuuka ku Jjubiri eddako. (Eby’Abaleevi 25:25-27) Bwe yandinunudde ekibanja ekyo kyandikendeezezza ku by’obugagga bwe. Ate era, Luusi bwe yandizadde omwana ow’obulenzi, ye yandibadde omusika w’obutaka obwo, so si ab’eŋŋanda z’omugenzi.

Bye Tuyigamu:

3:12; 4:1-6. Bowaazi yagoberera butiribiri enteekateeka ya Yakuwa. Naffe tufuba okugoberera enteekateeka za Teyokulase?​—1 Abakkolinso 14:40.

3:18. Nawomi yeesiga Bowaazi. Naffe, tetwandyesize bakkiriza bannaffe? Luusi yali mwetegefu okufumbirwa omusajja gwe yali tamanyi, Baibuli gw’eyita omununuzi. (Luusi 4:1) Lwaki? Kubanga yassa obwesige mu nteekateeka ya Katonda. Naffe twesiga enteekateeka ya Katonda? Ng’ekyokulabirako, bwe kituuka ku kufuna omuntu ow’okufumbiriganwa naye, tugoberera okubuulirira okw’okufumbirwa ‘mu Mukama waffe mwokka’?​—1 Abakkolinso 7:39.

4:13-16. Nga Luusi yafuna enkizo ey’amaanyi wadde nga yali Mumowaabu era ng’okusooka yali musinza wa Kemosi! Kino kiggumiza omusingi ogugamba nti ‘tekisinziira ku oyo ayagala newakubadde adduka wabula ku Katonda asaasira.’​—Abaruumi 9:16.

Katonda ‘Alikugulumiza ng’Ekiseera Kituuse’

Ekitabo kya Luusi kyogera ku Yakuwa nga Katonda ow’okwagala, ayamba abaweereza be abeesigwa. (2 Ebyomumirembe 16:9) Bwe tulowooza ku mikisa Luusi gye yafuna, tulaba obukulu bw’okwesiga Yakuwa n’okuba n’okukkiriza okunywevu nga tuli bakakafu nti “ye mugabi w’empeera eri abo bonna abamunoonya.”​—Abebbulaniya 11:6.

Luusi, Nawomi ne Bowaazi beesiga enteekateeka ya Yakuwa, era ebyo ebyavaamu byali birungi. Mu ngeri y’emu, ‘abo abaagala Katonda era be yayita nga bwe yayagala, ebibaviiramu biba bulungi.’ (Abaruumi 8:28) N’olw’ekyo ka tugoberere okubuulirira kwa Peetero okugamba nti: “Mwewombeekenga wansi w’omukono ogw’amaanyi ogwa Katonda, alyoke abagulumize ng’obudde butuuse; nga mumusindiikirizanga ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga ye ateeka ku mwoyo ebigambo byammwe.”​—1 Peetero 5:6, 7.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Omanyi ensonga lwaki Luusi yanywerera ku Nawomi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Lwaki Luusi ayitibwa ‘omukazi omwegendereza’?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

‘Mpeera ki etabulako’ Luusi gye yafuna okuva eri Yakuwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share