ESSUULA EY’OKUTAANO
‘Omukazi Omwegendereza’
1, 2. (a) Luusi yali akola mulimu ki? (b) Nteekateeka ki ennungi mu Mateeka ga Katonda Luusi gye yategeerako, era birungi ki bye yalaba mu bantu ba Katonda?
LUUSI yali afukamidde ng’awuula sayiri gwe yali akuŋŋaanyizza ku lunaku olwo. Obudde bwali buwungeera era ng’abakozi batandise okuvaayo mu nnimiro nga boolekera omulyango gw’akabuga Besirekemu akaali ku lusozi okumpi awo. Ateekwa okuba nga yali akooye nnyo kubanga yali akoze okuva ku makya. Wadde kyali kityo, yeeyongera mu maaso okuwuula sayiri. Okutwalira awamu, olunaku lwali lumugendedde bulungi.
2 Embeera ya nnamwandu ono yali etandise okulongooka? Nga bwe twalabye mu ssuula evuddeko, Luusi yali asazeewo okubeera ne Nawomi nnyazaala we, ng’amaliridde okumunywererako, era ng’asazeewo n’okufuula Yakuwa, Katonda wa Nawomi, Katonda we. Bombi baali bavudde e Mowaabu ne bajja e Besirekemu, era bwe baatuuka Luusi Omumowaabu n’akitegeerako nti waaliwo enteekateeka ey’okuyamba abaavu n’abagwira eyali eyogerwako mu mateeka Yakuwa ge yawa Isirayiri. Era yali akirabye nti abamu ku bantu ba Yakuwa abaali bagoberera amateeka ge baali ba kisa, era ekisa kye baamulaga kyamukwatako nnyo.
3, 4. (a) Bowaazi yazzaamu atya Luusi amaanyi? (b) Kiki ekyayamba Luusi naffe ekisobola okutuyamba mu kiseera kino ng’eby’enfuna bizibuwadde?
3 Omu ku bantu abo yali Bowaazi, omusajja omugagga eyali nnannyini nnimiro Luusi ze yali alondereddemu. Yali amulaze omwoyo ogw’ekizadde ku lunaku olwo. Luusi ateekwa okuba nga yamwenyaamu bwe yajjukira engeri Bowaazi gye yali ayogedde naye ng’amusiima olw’okulabirira Nawomi, n’olw’okusalawo okuddukira eri Yakuwa Katonda ow’amazima afune obukuumi.—Soma Luusi 2:11-14.
4 Kyokka Luusi ayinza okuba nga yali yeebuuza ebiseera bye eby’omu maaso bwe byandibadde. Ye ng’omukazi omugwira omunaku atalina musajja wadde omwana, yandisobodde atya okweyimirizaawo era n’okulabirira Nawomi? Okulonderera mu nnimiro kwokka kwandisobodde okubayimirizaawo? Ate ye, ani eyandimulabiridde ng’akaddiye? Ateekwa okuba nga yeebuuza ebibuuzo ng’ebyo. Mu kiseera kino ng’eby’enfuna bizibuwadde, abantu bangi balowooza ku ngeri gye baneeyimirizaawo mu biseera eby’omu maaso. Nga twetegereza engeri okukkiriza kwa Luusi gye kwamuyambamu mu kiseera ekyo ekizibu, tujja kulaba engeri gye tusobola okumukoppa.
B’Otwala ng’Ababo Be Baluwa?
5, 6. (a) Olunaku Luusi lwe yasooka okulonderera mu nnimiro za Bowaazi lwamugendera lutya? (b) Nawomi yawulira atya bwe yalaba Luusi ng’akomyewo, era yayogera ki?
5 Sayiri Luusi gwe yawuula yavaamu efa ng’emu, nga ze kiro nga 14. Kirabika yamusiba mu kitambaala n’amwetikka ku mutwe n’addayo e Besirekemu ng’obudde butandise okukwata.—Luus. 2:17.
6 Nawomi yasanyuka okulaba mukaamwana we Luusi ng’akomyewo, era oboolyawo ne yeewuunya nnyo bwe yalaba ekitereke kya sayiri kye yali yeetisse. Luusi era yali aleese n’emmere eyali efisseewo ku eyo Bowaazi gye yali awadde abakozi be, era eyo gye baalya ekyeggulo. Nawomi yamubuuza nti: “Olondereredde wa leero, era okoledde wa? Oyo akussizzaako omwoyo aweebwe omukisa.” (Luus. 2:19, NW) Nawomi bwe yalaba ekitereke ekinene Luusi kye yajja nakyo, yakitegeera nti waaliwo eyali amussizzaako omwoyo n’amulaga ekisa.
7, 8. (a) Ekisa Bowaazi kye yalaga Luusi, Nawomi yakiraba ng’ekyali kivudde ew’ani, era lwaki? (b) Ngeri ki endala Luusi gye yalagamu nnyazaala we okwagala okutajjulukuka?
7 Baatandika okunyumya, era Luusi n’abuulira Nawomi ebyo Bowaazi bye yali amukoledde. Nawomi yasanyuka nnyo era n’agamba nti: “Aweebwe Mukama omukisa, atannaleka kisa kye eri abalamu n’eri abafu.” (Luus. 2:20) Nawomi yakitwala nti ekisa Bowaazi kye yalaga Luusi kyali kivudde eri Yakuwa, oyo akubiriza abaweereza be okuba abagabi, era asuubiza okubasasula olw’ekisa kye balaga abalala.a—Soma Engero 19:17.
8 Nawomi naye yagamba Luusi alondererenga mu nnimiro ya Bowaazi, nga Bowaazi bwe yali amugambye, era alondererenga kumpi n’abawala ab’omu nnyumba ya Bowaazi, abakunguzi balemenga okumuteganya. Luusi yawuliriza nnyazaala we; ate era ‘yeeyongera okubeera naye.’ (Luus. 2:22, 23) Ekyo kyongera okulaga nti Luusi yalina okwagala okutajjulukuka. Ebyo bye tusoma ku Luusi byandituleetedde okwebuuza obanga tufa ku b’omu maka gaffe, era obanga tubawa obuyambi bwe beetaaga. Bwe twoleka okwagala okutajjulukuka ng’okwo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa.
Ebyo bye tusoma ku Luusi ne Nawomi bituyigiriza nti abantu be tubeera nabo tusaanidde okubatwala nga ba muwendo
9. Abo abaafiirwa ab’eŋŋanda zaabwe kiki kye bayigira ku Luusi ne Nawomi?
9 Nawomi ne Luusi bwe baali babeera wamu, ago gaali maka ga ddala? Abamu balowooza nti amaka okuba aga ddala galina okubaamu taata, maama, abaana, jjajja, n’abalala abalinga abo. Naye ebyo bye tusoma ku Luusi ne Nawomi bitulaga nti ne bwe kiba nti abamu ku b’omu maka baafa, abo ababa basigaddewo basobola okulagaŋŋana omukwano n’ekisa ne baba basanyufu. Abantu b’obeera nabo obatwala nga ba muwendo? Yesu yagamba nti abo abali mu kibiina Ekikristaayo babeera ba ŋŋanda zaffe ddala ne bwe tuba nti tetulina ba ŋŋanda zaffe ba musaayi.—Mak. 10:29, 30.
Luusi ne Nawomi baayambagananga era buli omu yazzangamu munne amaanyi
‘Y’Omu ku Banunuzi Baffe’
10. Kiki Nawomi kye yali ayagala okukolera Luusi?
10 Luusi yalonderera mu nnimiro za Bowaazi okuviira ddala mu kiseera ky’amakungula ga sayiri mu Apuli okutuukira ddala mu kiseera ky’amakungula g’eŋŋaano mu Jjuuni. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Nawomi ateekwa okuba nga yatandika okulowooza ku kye yali ayinza okukolera mukaamwana we oyo gwe yali ayagala ennyo. Nga bakyali mu Mowaabu, Nawomi yali awulira nti tewaliiwo ngeri yonna gye yali ayinza kufunira Luusi musajja mulala ow’okufumbirwa. (Luus. 1:11-13) Naye kati yali awulira nti alina ky’asobola okukolawo. Yagamba Luusi nti: ‘Mwana wange, siikunoonyeze wa kuwummulira?’ (Luus. 3:1) Mu biseera ebyo abazadde be baalabiranga abaana baabwe omuntu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa. Nawomi yali atwala Luusi nga muwala we, era yali ayagala amufunire ‘aw’okuwummulira,’ kwe kugamba, omwami n’amaka. Naye ekyo Nawomi yali ayinza kukikola atya?
11, 12. (a) Nawomi bwe yagamba nti Bowaazi ‘mununuzi’ waabwe, nteekateeka ki mu mateeka ga Katonda gye yali ayogerako? (b) Luusi yaddamu atya nga nnyazaala we amubuulidde eky’okukola?
11 Luusi lwe yasooka okwogera ku Bowaazi, Nawomi yamugamba nti: “Omusajja oyo muganda waffe ddala, [y’]omu ku banunuzi baffe.” (Luus. 2:20) Yali ategeeza ki? Mu mateeka Katonda ge yawa Isirayiri mwalimu enteekateeka ey’okuyamba amaka agaabanga mu buzibu olw’obwavu oba olw’okufiirwa oyo eyabanga agalabirira. Omukazi eyafiirwanga bba nga tannazaala mwana yabanga mu nnaku ya maanyi nnyo, kubanga erinnya lya bba lyabanga ligenda kwerabirwa. Kyokka amateeka gakkirizanga muganda wa bba okumuwasa asobole okuzaalira bba omusika eyandibbuludde erinnya lye era n’alabirira n’ebintu by’amaka ge.b—Ma. 25:5-7.
12 Nawomi yabuulira Luusi kye yali alina okukola okusobola okufuna omusajja. Amateeka ga Isirayiri n’obulombolombo bwamu byali bikyali bipya nnyo eri Luusi. Wadde kyali kityo, yawuliriza Nawomi n’obwegendereza kubanga yali amussaamu nnyo ekitiibwa. Ebyo Nawomi bye yamugamba okukola biyinza okuba nga byalabika ng’ebiswaza oba ebiweebuula, naye Luusi yakkiriza okubikola. N’obuwombeefu yagamba nti: “Byonna by’oyogedde naabikola.”—Luus. 3:5.
13. Bwe kituuka ku kukolera ku magezi agatuweebwa abantu abakulu, kiki kye tuyigira ku Luusi? (Laba ne Yobu 12:12.)
13 Oluusi abavubuka bazibuwalirwa okukolera ku magezi agabaweebwa abantu ababasinga obukulu n’obumanyirivu. Bayinza okulowooza nti abantu abakulu tebategeera bizibu bya bavubuka. Ekyokulabirako kya Luusi kituyamba okulaba nti tuganyulwa nnyo bwe tukolera ku magezi agatuweebwa abantu abakulu abatwagala. (Soma Zabbuli 71:17, 18.) Naye magezi ki Nawomi ge yawa Luusi, era Luusi yaganyulwa bwe yagakolerako?
Luusi ng’Ali mu Gguuliro
14. Amawuuliro gaabanga wa era kiki ekyakolebwangayo?
14 Akawungeezi ako Luusi yagenda mu gguuliro. Amawuuliro we gaabanga, waabanga waseeteevu era ng’ettaka lyawo lyakkatirwa bulungi. Eyo abalimi gye baatwalanga emmere yaabwe ey’empeke ne bagiwuula era ne bagiwewa. Amawuuliro okusinga gaabeeranga ku busozi, olw’okuba empewo ku busozi yabanga ya maanyi mu biseera eby’olweggulo. Abakozi bwe baabanga bawewa sayiri oba emmere endala ey’empeke, empewo yafuuwanga ebisusunku n’ebitwala, empeke ne zigwa wansi.
15, 16. (a) Nnyonnyola ebyaliwo mu gguuliro nga Bowaazi n’abakozi be bamaliriza emirimu gyabwe. (b) Bowaazi yategeera atya nti Luusi yali agalamidde okumpi n’ebigere bye?
15 Luusi we yali, yali yeetegereza ebyali bigenda mu maaso ng’eno abakozi bwe bamaliriza emirimu gyabwe egy’olunaku. Bowaazi yaliwo awo ng’alaba emirimu bwe gikolebwa, era abakozi we baamalira okuwewa, entuumo ya sayiri yali nnene ddala. Bowaazi bwe yamala okulya ekyeggulo, yagenda ne yeebaka okumpi n’entuumo ya sayiri. Kirabika yalinga mpisa y’abalimi okusula mu gguuliro okusobola okukuuma emmere yaabwe ereme kubbibwa. Luusi bwe yalaba nga Bowaazi yeebase, awo n’amanya nti ekiseera kyali kituuse akole nga Nawomi bwe yali amugambye.
16 Luusi yagenda mpolampola awaali Bowaazi ng’omutima gumukuba. Bowaazi yali ali mu tulo tungi. Nga Nawomi bwe yali amugambye, yagenda n’abikkula ebigere bya Bowaazi n’agalamira awo okumpi n’ebigere, n’alinda. Ekiseera kyayitirawo ddala, era eri Luusi gwalinga mwaka mulamba. Ddaaki, eyo nga mu ttumbi, Bowaazi yazuukuka. Empewo yali emuyiseemu era bw’atyo n’atuula, oboolyawo asobole okubikka ebigere bye. Naye agenda okuwulira, nga waliwo omuntu. Bayibuli egamba nti, “Laba, omukazi ng’agalamidde ku bigere bye.”—Luus. 3:8.
17. Abo abalowooza nti ebyo Luusi bye yakola byali tebisaana, kiki kye babuusa amaaso?
17 Bowaazi yabuuza nti: “Ggwe ani?” Luusi yamuddamu ng’oboolyawo n’eddoboozi likankana. Yamugamba nti: “Nze Luusi omuzaana wo: kale bikka ekyambalo kyo ku muzaana wo; kubanga oli mununuzi wange.” (Luus. 3:9) Abantu abamu balowooza nti ebyo Luusi bye yakola ne bye yayogera byali bya bukaba, naye waliwo ebintu bibiri bye babuusa amaaso. Okusooka, Luusi yali agoberera mpisa ya mu kiseera ekyo, era nga mu kiseera kino nnyingi ku mpisa z’omu kiseera ekyo tetuyinza kuzitegeera bulungi. N’olwekyo, ekyo kye yakola kiyinza okulabika ng’ekitasaana olw’okuba empisa z’abantu zoonoonese nnyo mu kiseera kino. N’eky’okubiri, engeri Bowaazi gye yaddamu Luusi eraga nti ekyo Luusi kye yakola teyakitwala ng’ekyesittaza; wabula yakitwala nti kyali kigwanira.
Luusi bwe yagenda eri Bowaazi teyalina kiruubirirwa kikyamu
18. Bigambo ki Bowaazi bye yagamba Luusi ebyamuzzaamu amaanyi, era ngeri ki ebbiri ze yayogerako Luusi mwe yalagira okwagala okutajjulukuka?
18 Bowaazi yayogera n’obukkakkamu, era ekyo kiteekwa okuba nga kyazzaamu Luusi amaanyi. Yamugamba nti: ‘Oweebwe Mukama omukisa, mwana wange: ekisa ky’olaze ku nkomerero kisinga kye walaga olubereberye, kubanga togoberedde balenzi, oba baavu oba bagagga.’ (Luus. 3:10) Ekisa Luusi kye yalaga ku ‘lubereberye’ kwe kwagala okutajjulukuka kwe yalaga bwe yajja ne Nawomi mu Isirayiri era n’amulabirira. Ekisa kye yalaga ku ‘nkomerero’ kwe kuba omwetegefu okufumbirwa Bowaazi. Bowaazi yakiraba nti omukazi omuto nga Luusi yandibadde anoonya omuntu ow’okufumbirwa mu bavubuka, ka babe baavu oba bagagga. Kyokka ekyo Luusi si kye yakola; yali ayagala okukolera Nawomi ekintu ekirungi era ekyandisobozesezza erinnya lya bba wa Nawomi eyali yafa obuteerabirwa. Tekyewuunyisa nti Bowaazi yatendereza omukazi ono.
19, 20. (a) Lwaki Bowaazi teyawasizaawo Luusi? (b) Bowaazi yalaga atya Luusi ekisa, era yakola ki okulaba nti erinnya lya Luusi teryonooneka?
19 Bowaazi era yagattako nti: “Kaakano, mwana wange, totya; [nja kukukolera] byonna by’oyogera: kubanga ekibuga kyonna eky’abantu bange bamanyi ng’oli mukazi mwegendereza.” (Luus. 3:11) Oboolyawo tekyamwewuunyisa bwe yasabibwa okuba omununuzi wa Luusi, ate n’eky’okumuwasa yakyagala. Kyokka olw’okuba yali musajja mutuukirivu, enkizo eyo yasooka kugirekera oyo gwe yali egwanira. Yagamba Luusi nti waaliwo omununuzi omulala eyalina oluganda olw’okumpi ku bba wa Nawomi okusinga ye lwe yamulinako. Yali agenda kusooka kwogerako naye amubuuze obanga yandyagadde okuwasa Luusi.
Luusi yeekolera erinnya eddungi olw’okulaga abalala ekisa era n’okubawa ekitiibwa
20 Bowaazi yagamba Luusi addemu agalamire yeebake era azuukuke ng’obudde bunaatera okukya, olwo alyoke agende nga tewali amulabye. Yali tayagala bantu balowooze nti waliwo ekitasaana kye baali bakoze, kubanga ekyo kyandyonoonye erinnya lye n’erya Luusi. Luusi yaddamu n’agalamira awo okumpi n’ebigere bya Bowaazi ne yeebaka, era oboolyawo omutima gwe gwali guteredde olw’okuba Bowaazi yali ayogedde naye bulungi. Awo bwe bwali tebunnalaba bulungi, Bowaazi yasaba Luusi olugoye lwe yali yeesuulidde n’amuteeramu sayiri, era bw’atyo Luusi n’addayo mu kibuga ky’e Besirekemu.—Soma Luusi 3:13-15.
21. Kiki ekyaviirako Luusi okumanyibwa ‘ng’omukazi omwegendereza,’ era tuyinza tutya okumukoppa?
21 Nga kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Luusi bwe yalowooza ku ebyo Bowaazi bye yali amugambye nti abantu bonna baali bamumanyi ‘ng’omukazi omwegendereza’! Awatali kubuusabuusa, eky’okuba nti Luusi yali ayagala nnyo okumanya Yakuwa n’okumuweereza kye kyaviirako abantu okumwogerako bwe batyo. Ate era yali alaze ekisa eky’ensusso n’okwagala eri Nawomi n’abantu be bwe yasalawo okugoberera empisa n’obulombolombo bye yali tamanyiridde. Bwe tuba n’okukkiriza ng’okwa Luusi, tujja kuba tufaayo ku balala nga tussa ekitiibwa mu mpisa z’abantu b’omu kitundu mwe tuli era tujja kumanyibwa ng’abantu abalungi.
Luusi Afuna aw’Okuwummulira
22, 23. (a) Ebigera omukaaga ebya sayiri Bowaazi bye yawa Luusi byandiba nga byalina makulu ki? (Laba obugambo obuli wansi.) (b) Kiki Nawomi kye yagamba Luusi?
22 Luusi bwe yatuuka eka, Nawomi yamubuuza nti: “Ggwe ani, mwana wange?” Nawomi ayinza okuba nga yabuuza bw’atyo olw’okuba obudde bwali bukyakutte. Naye era ayinza okuba nga yali ayagala kumanya obanga Luusi yali akyali nnamwandu atalina ssuubi lya kufumbirwa, oba yali afunye omusajja ow’okumuwasa. Amangu ago Luusi yabuulira nnyazaala we byonna Bowaazi bye yali amugambye, era n’amulaga n’ekitereke kya sayiri Bowaazi kye yali amuweerezza.c—Luus. 3:16, 17.
23 Nawomi yagamba Luusi ku lunaku olwo aleme kugenda mu nnimiro kulonderera. Yamugamba nti: “Omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa lw’anaamalawo ekigambo kino leero.”—Luus. 3:18.
24, 25. (a) Bowaazi yakola ki ekyalaga nti yali musajja mutuukirivu era ateerowoozaako yekka? (b) Luusi yafuna mikisa ki?
24 Nawomi kye yayogera ku Bowaazi kyali kituufu. Bowaazi yagenda ku mulyango gw’ekibuga abakadde b’omu kibuga we baatuulanga, n’alinda okutuusa omusajja oli gwe yali ayogeddeko eyalina oluganda ku Nawomi lwe yayitawo. Bowaazi yayogera naye nga waliwo abajulizi, era n’amubuuza obanga yandyagadde okuwasa Luusi, bw’atyo abe omununuzi. Kyokka omusajja oyo yagaana, nga yeekwasa nti okukola ekyo kyandyonoonye obusika bwe. Awo ku mulyango gw’ekibuga mu maaso g’abajulizi, Bowaazi yagamba nti ye yali mwetegefu okuba omununuzi, agule ebintu bya Erimereki bba wa Nawomi, era awase ne Luusi nnamwandu wa Maloni mutabani wa Erimereki. Bowaazi yakiraga nti okukola bw’atyo kyandisobozesezza ‘obusika bw’omugenzi okusigala mu linnya ly’omugenzi.’ (Luus. 4:1-10) Ddala Bowaazi yali musajja mutuukirivu era ateerowoozaako yekka!
25 Luusi yafumbirwa Bowaazi, era Bayibuli egamba nti: “Mukama n’amuwa olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi.” Abakazi b’omu Besirekemu baasanyukirako Nawomi era ne batendereza Luusi olw’okuba yali amusingira abaana ab’obulenzi musanvu. Bayibuli era eraga nti omwana Luusi gwe yazaala yafuuka jjajja wa Kabaka Dawudi. (Luus. 4:11-22) Ate nga Dawudi ye yali jjajja wa Yesu Kristo.—Mat. 1:1.d
Yakuwa yawa Luusi enkizo ey’okubeera omu ku abo abali mu lunyiriri omwava Masiya
26. Ebyo bye tusoma ku Luusi ne Nawomi bitujjukiza ki?
26 Mazima ddala Luusi yaweebwa emikisa, era ne Nawomi eyakuza omwana oyo ng’owuwe naye yaweebwa emikisa. Bye tusoma ku bakazi abo ababiri bitujjukiza nti Yakuwa afaayo ku abo bonna abategana ennyo okusobola okulabirira ab’omu maka gaabwe. Abo abamuweereza n’obwesigwa nga Bowaazi, Nawomi, ne Luusi talema kubawa mpeera.
a Nga Nawomi bwe yagamba, Yakuwa ekisa kye akiraga abalamu n’abafu. Nawomi yali afiiriddwa bba ne batabani be ababiri. Ne Luusi naye yali afiiriddwa bba. Abantu baabwe abo abaafa baali ba muwendo nnyo gye bali. Ekisa ekyalagibwa Nawomi ne Luusi kyali ng’ekiragiddwa abasajja abo abaafa abandibadde babafaako.
b Nga bwe kyabanga ku kusikira ebintu, omusajja bwe yafanga, omu ku baganda be ye yalinanga okuwasa nnamwandu, era bwe kitaasobokanga, kirabika omu ku b’eŋŋanda ze eyabanga amulinako oluganda olusinga okuba olw’okumpi ye yamuwasanga.—Kubal. 27:5-11.
c Bowaazi yawa Luusi ebigera mukaaga—oboolyawo okulaga nti ng’ennaku omukaaga ez’okukola bwe ziddirirwa okuwummula okw’oku Ssabbiiti, n’ennaku za Luusi ez’okutegana nga nnamwandu zaali zigenda kuddirirwa ‘okuwummula,’ kubanga yali agenda kufuna omwami n’amaka. Ku luuyi olulala, ebigera omukaaga biyinza okuba nga bye byokka Luusi bye yali asobola okwetikka.