EKITUNDU EKY’OKUSOMA 26
Engeri Okwagala Gye Kutuyamba Okuggwaamu Okutya
“Yakuwa ali ku ludda lwange; siityenga.”—ZAB. 118:6.
OLUYIMBA 105 “Katonda Kwagala”
OMULAMWAa
1. Ebimu ku bintu abantu bye batera okutya bye biruwa?
LOWOOZA ku mbeera zino ezaaliwo ddala. Nestor ne mukyala we María, baali baagala okugenda okuweerereza awaali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.b Kyokka okusobola okukola ekyo, baalina okukendeeza ku nsaasaanya yaabwe. Naye baafunamu okutya nti tebandisobodde kuba basanyufu nga bakendeezezza ku ssente ze baali bakozesa. Biniam, abeera mu nsi omulimu gwaffe gye gukugirwa bwe yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa, yakimanya nti ng’omu ku baweereza ba Yakuwa, yandibadde ayigganyizibwa. Ekyo kyamutiisa nnyo. Naye ekyasinga okumutiisa kwe kulowooza ku ngeri ab’eŋŋanda ze gye bandikituttemu nga bakitegedde nti yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Valérie yalina obulwadde bwa kookolo, era yeeraliikiriranga nnyo obanga yandifunye omusawo alongoosa eyandiwadde ekitiibwa enzikiriza ye ey’obutateekebwako musaayi. Yatya nnyo olw’okuba yali alowooza nti yali ajja kufa.
2. Lwaki tusaanidde okufuba okuvvuunuka ebyo ebituleetera okutya?
2 Naawe wali otiddeko ebintu ng’ebyo? Bangi ku ffe twali tufunyeeko ekituleetera okutya. Bwe tutayiga ngeri ya kwaŋŋangamu ebituleetera okutya, tuyinza okusalawo obubi ne tutuuka n’okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ekyo kyennyini Sitaani ky’ayagala tukole. Ate era Sitaani agezaako okukozesa ebyo ebitutiisa okutuleetera okumenya amateeka ga Yakuwa, nga mw’otwalidde n’ekiragiro eky’okubuulira amawulire amalungi. (Kub. 12:17) Sitaani mubi nnyo era wa maanyi, naye tusobola okumuwangula. Mu ngeri ki?
3. Kiki ekinaatuyamba okuggwaamu okutya?
3 Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa atwagala nnyo era nti ali ku ludda lwaffe, Sitaani tajja kutuleetera kutya. (Zab. 118:6) Ng’ekyokulabirako, omuwandiisi wa Zabbuli 118 yayolekagana n’embeera enzibu ennyo. Yalina abalabe bangi era abamu ku balabe abo baali mu bifo ebya waggulu (olunyiriri 9, 10). Oluusi yawuliranga ng’atidde nnyo (olunyiriri 13). Ate era yafuna okukangavvula okw’amaanyi okuva eri Yakuwa (olunyiriri 18). Kyokka omuwandiisi wa zabbuli oyo yagamba nti: “Siityenga.” Kiki ekyamuyamba okuggwaamu okutya? Yali akimanyi nti Yakuwa amwagala nnyo wadde nga yamukangavvula. Yali mukakafu nti k’ebe mbeera ki gye yandyolekaganye nayo, Katonda we yali mwetegefu okumuyamba.—Zab. 118:29.
4. Kutya kwa ngeri ki kwe tusobola okuvvuunuka bwe tuba abakakafu nti Katonda atwagala?
4 Tulina okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala kinnoomu. Ekyo kijja kutuyamba okuvvuunuka okutya ebintu bino ebisatu: (1) okutya nti tetujja kusobola kulabirira ba mu maka gaffe; (2) okutya abantu, ne (3) okutya okufa. Abantu aboogeddwako mu katundu akasooka baasobola okuvvuunuka okutya kwe baalina olw’okuba baali bakakafu nti Katonda abaagala nnyo.
OKUTYA NTI TETUJJA KUSOBOLA KULABIRIRA BA MU MAKA GAFFE
Ow’oluganda ng’avuba ne mutabani we asobole okufunira ab’omu maka ge bye beetaaga (Laba akatundu 5)
5. Biki ebisobola okuleetera omutwe gw’amaka okutya? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)
5 Omutwe gw’amaka Omukristaayo obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ab’omu maka ge abutwala nga bukulu nnyo. (1 Tim. 5:8) Bw’oba ng’oli mutwe gw’amaka, mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19 oyinza okuba nga wali weeraliikirira nti oyinza okufiirwa omulimu gwo era nga tomanyi ngeri gye wandifuniddemu ab’omu maka go eby’okulya, oba gye wandiggye ssente ez’okupangisa ennyumba. Era oyinza okuba nga wali weeraliikirira nti bwe wandifiiriddwa omulimu gwo tewandisobodde kufuna mulala. Oba okufaanana Nestor ne María be twogeddeko, oyinza okuba nga wali otya nti temujja kusobola kweyimirizaawo nga mulina ssente ntono. Eky’ennaku, waliwo abaweereza ba Yakuwa abaalina okutya ng’okwo, Sitaani be yasobola okulemesa okweyongera okuweereza Yakuwa.
6. Kiki Sitaani ky’ayagala tulowooze?
6 Sitaani agezaako okutuleetera okulowooza nti Yakuwa tatufaako, era nti tasobola kutuyamba kulabirira ba mu maka gaffe. Bwe tuteegendereza tuyinza okulowooza nti tulina okukola kyonna ekisoboka okukuuma omulimu gwe tulina, ne bwe guba nga gutuleetera okumenya emisingi gya Bayibuli.
7. Kiki Yesu kye yatukakasa?
7 Yesu, oyo amanyi Kitaffe ow’omu ggulu okusinga omuntu omulala yenna, yatukakasa nti Katonda ‘amanya ebintu bye twetaaga nga tetunnaba na kubimusaba.’ (Mat. 6:8) Ate era Yesu akimanyi nti Yakuwa mwetegefu okukola ku byetaago byaffe. Ffenna Abakristaayo tuli ba mu maka ga Yakuwa. N’olwekyo, tuli bakakafu nti Yakuwa naye ajja kukolera ku ekyo kye yagamba emitwe gy’amaka okukola, ekiragibwa mu 1 Timoseewo 5:8.
Yakuwa ajja kukola ku byetaago byaffe. Ayinza okukozesa bakkiriza bannaffe okutuyamba(Laba akatundu 8)d
8. (a) Kiki ekinaatuyamba okuggwaamu okutya nti tetujja kusobola kulabirira ba mu maka gaffe? (Matayo 6:31-33) (b) Tuyinza tutya okukoppa abafumbo abalagiddwa mu kifaananyi, abaleetedde mwannyinaffe eby’okulya?
8 Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa atwagala nnyo era nti ayagala n’ab’omu maka gaffe, tujja kuba bakakafu nti ajja kukola ku byetaago byaffe. (Soma Matayo 6:31-33.) Yakuwa Katonda mugabi, era ayagala nnyo okutuwa bye twetaaga! Bwe yali atonda ensi teyatuwa ebyo byokka bye twetaaga okusobola okuba abalamu. Wabula yatonda ebintu bingi ku nsi ebituleetera essanyu. (Lub. 2:9) Wadde ng’ebiseera ebimu tuyinza okuba n’ebyo byokka bye twetaaga okusobola okubaawo, tusaanidde okukijjukiranga nti n’ebyo Yakuwa y’aba atusobozesezza okubifuna. (Mat. 6:11) Tusaanidde okukijjukira nti ebyo byonna bye twefiiriza kati bitono nnyo bw’obigeraageranya n’ebyo Yakuwa by’atuwa era ne by’ajja okutuwa mu biseera eby’omu maaso. Ekyo Nestor ne María kye baategeera oluvannyuma.—Is. 65:21, 22.
9. Kiki kye tuyigira ku Nestor ne María?
9 Nestor ne María ababeera mu Colombia baalina ennyumba ennungi n’emirimu egyali gibasasula obulungi. Bagamba nti: “Twayagala okweggyako ebintu ebimu tusobole okugaziya ku buweereza bwaffe, naye twali tutya nti tetwandibadde basanyufu nga tulina ssente ntono.” Kiki ekyabayamba okuggwaamu okutya? Baafumiitiriza ku ngeri ezitali zimu Yakuwa z’abalazeemu okwagala. Olw’okuba baali bakakafu nti Yakuwa yandyeyongedde okubalabirira, baaleka emirimu gyabwe egyali gibasasula obulungi. Baatunda ennyumba yaabwe era ne bagenda mu kitundu ekirala awaali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Balowooza batya ku ekyo kye baasalawo? Nestor agamba nti: “Tulabye nti ebigambo ebiri mu Matayo 6:33 bituufu ddala. Tewali kintu kyonna kye tujula era kati tuli basanyufu nnyo okusinga bwe twali.”
OKUTYA ABANTU
10. Lwaki tekyewuunyisa nti abantu batya bantu bannaabwe?
10 Okuva edda, abantu bazze bakola bannaabwe ebintu ebibi. (Mub. 8:9) Ng’ekyokulabirako, abantu bakozesa bubi obuyinza bwabwe, abamenyi b’amateeka bakola ebikolwa eby’obukambwe, abaana bayiikiriza bannaabwe ku masomero, ate abantu abamu bayisa bubi nnyo ab’omu maka gaabwe. N’olwekyo tekyewuunyisa nti abantu batya bantu bannaabwe. Sitaani akozesa atya okutya abantu okutuleetera okumenya amateeka ga Yakuwa?
11-12. Sitaani akozesa atya okutya abantu kwe tuyinza okuba nakwo?
11 Sitaani akozesa okutya abantu okugezaako okutuleetera okwekkiriranya n’okulekera awo okubuulira. Sitaani akozesezza gavumenti ezimu okutuyigganya n’okuwera omulimu gwaffe ogw’okubuulira. (Luk. 21:12; Kub. 2:10) Abantu abamu mu nsi ya Sitaani basaasaanya eby’obulimba ku Bajulirwa ba Yakuwa. Abantu abakkiririza mu bulimba obwo bayinza okutusekerera oba okutulumba. (Mat. 10:36) Tekitwewuunyisa kuba nti Sitaani atulumba. Ekyo azze akikola okuviira ddala mu biseera by’abatume.—Bik. 5:27, 28, 40.
Wadde ng’ab’eŋŋanda zaffe batuyigganya, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala nnyo(Laba akatundu 12-14)e
12 Okutya okuyigganyizibwa gavumenti si kye kyokka Sitaani ky’akozesa. Abamu batya nnyo bwe balowooza ku ngeri ab’eŋŋanda zaabwe gye banaawuliramu nga bategedde nti bafuuse Abajulirwa ba Yakuwa. Era oluusi okutya kwe baba nakwo kuba kwa maanyi nnyo n’okusinga okw’oyo atya okutulugunyizibwa. Baagala nnyo ab’eŋŋanda zaabwe era baagala bamanye ebikwata ku Yakuwa era bamwagale. Kibaluma nnyo bwe bawulira ab’eŋŋanda zaabwe nga boogera bubi ku Katonda ow’amazima ne ku baweereza be. Naye ab’eŋŋanda abamu mu kusooka abaali bataagala mazima baamala ne bagayiga. Naye watya singa ab’eŋŋanda zaffe batwekutulirako ddala olw’ebyo bye tukkiririzaamu? Ekyo tusaanidde kukitwala tutya?
13. Okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala kituyamba kitya ng’ab’eŋŋanda zaffe batukyaye? (Zabbuli 27:10)
13 Ebigambo ebiri mu Zabbuli 27:10 (Soma.) bisobola okutuzzaamu amaanyi. Bwe tulowooza ku ngeri Yakuwa gy’atulagamu okwagala, tetujja kutya kuyigganyizibwa. Era tuli bakakafu nti bwe tugumiikiriza, ajja kutuwa emikisa. Yakuwa asobola okutulabirira mu by’omubiri ne mu by’omwoyo okusinga omuntu omulala yenna. Ekyo Biniam eyayogeddwako ku ntandikwa kye yazuula.
14. Kiki ky’oyigidde ku ebyo ebyatuuka ku Biniam?
14 Biniam yasalawo okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa wadde nga yali akimanyi nti ayinza okuyigganyizibwa. Okukimanya nti Yakuwa amwagala kyamuyamba okuggwaamu okutya abantu. Agamba nti: “Okuyigganyizibwa kwali kwa maanyi nnyo n’okusinga bwe nnali ndowooza. Naye nnali ntya okuyigganyizibwa ab’eŋŋanda zange n’okusinga okuyigganyizibwa gavumenti. Nnali ntya nti okusalawo okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa kyandiyisizza bubi nnyo taata wange era nti n’ab’eŋŋanda zange tebandimpadde kitiibwa.” Naye Biniam yali mukakafu nti Yakuwa bulijjo alabirira abo abamwagala. Agamba nti: “Nnafumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’ayambyemu abo abatali bulungi mu byanfuna, abasosolwa, n’abayigganyizibwa. Nnali nkimanyi nti Yakuwa yandinnyambye singa mmunywererako. Bwe nnakwatibwa emirundi egiwera era ne ntulugunyizibwa, nnalaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu mu biseera ebizibu bwe tusigala nga tuli beesigwa gy’ali.” Yakuwa yafuuka taata owa ddala eri Biniam, era abaweereza ba Yakuwa baafuuka ab’eŋŋanda ze aba nnamaddala.
OKUTYA OKUFA
15. Lwaki tutya okufa?
15 Bayibuli egamba nti okufa mulabe. (1 Kol. 15:25, 26) Bwe tulowooza ku kufa tuyinza okuwulira nga tutidde nnyo, naddala singa tuba balwadde nnyo oba nga tulina omuntu waffe omulwadde ennyo. Lwaki tutya okufa? Kubanga Yakuwa yatutonda nga twagala okubeerawo emirembe gyonna. (Mub. 3:11) Okutya okufa kiyinza okutuyamba okukuuma obulamu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, kiyinza okutuyamba okusalawo obulungi ku mmere gye tulya, okukola dduyiro, okufuna obujjanjabi bwe kiba kyetaagisa, era n’okwewala okukola ebintu ebiteeka obulamu bwaffe mu kabi.
16. Sitaani ayinza atya okukozesa okutya okufa kwe tulina?
16 Sitaani akimanyi nti twagala nnyo okuba abalamu. Kyokka agamba nti tusobola okuwaayo ekintu kyonna kye tulina, nga mw’otwalidde n’enkolagana yaffe ne Yakuwa, okusobola okutaasa obulamu bwaffe. (Yob. 2:4, 5) Naye ekyo Sitaani ky’agamba si kituufu! Kyokka olw’okuba Sitaani ‘y’alina obusobozi obw’okuleetawo okufa,’ agezaako okukozesa okutya okufa kwe tulina okutuleetera okujeemera Yakuwa. (Beb. 2:14, 15) Emirundi egimu, abantu Sitaani b’akozesa batiisatiisa okutta abaweereza ba Yakuwa singa tebeegaana kukkiriza kwabwe. Ate emirundi emirala bwe tuba abalwadde, Sitaani agezaako okukozesa embeera eyo okutuleetera okwekkiriranya. Abasawo oba ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza bayinza okutuwaliriza okukkiriza okuteekebwako omusaayi, ekintu kye tumanyi obulungi nti kimenya amateeka aga Katonda. Oba omuntu ayinza okutupikiriza okukozesa obujjanjabi obukontana n’emisingi gya Bayibuli.
17. Okusinziira ku Abaruumi 8:37-39, lwaki tetusaanidde kutya kufa?
17 Wadde nga tetwagala kufa, tukimanyi nti Yakuwa Katonda tajja kulekera awo kutwagala ne bwe tuba nga tufudde. (Soma Abaruumi 8:37-39.) Mikwano gya Yakuwa bwe bafa asigala akyabajjukira nga gy’obeera bakyali balamu. (Luk. 20:37, 38) Yeesunga ekiseera lw’alibazuukiza ne baddamu okuba abalamu. (Yob. 14:15) Yakuwa yasasula omuwendo munene ‘tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo.’ (Yok. 3:16) Tukimanyi nti Yakuwa atwagala nnyo era atufaako. N’olwekyo, mu kifo ky’okumenya amateeka ga Yakuwa nga tuli balwadde, oba nga twolekaganye n’embeera eyinza okutuviirako okufa, kiba kirungi okumwesiga nti ajja kutubudaabuda, okutuwa amagezi, n’amaanyi. Ekyo kyennyini Valérie n’omwami we kye baakola.—Zab. 41:3.
18. Kiki kye tuyigira ku Valérie?
18 Valérie bwe yali nga wa myaka 35, yazuulibwamu ekika kya kookolo ow’obulabe ennyo. Okwagala kwe yalina eri Yakuwa kwamuyamba obutatya kufa. Agamba nti: “Nze n’omwami wange twatya nnyo bwe twakimanya nti nnina kookolo. Nnalina okulongoosebwa okusobola okusigala nga ndi mulamu. Nnatuukirira abasawo bangi abalongoosa, naye bonna baagaana okunnongoosa nga tebakozesezza musaayi. Nnatya nnyo! Naye olw’okuba ŋŋondera etteeka lya Katonda erikwata ku musaayi, nnali siyinza kukkiriza kuteekebwako musaayi. Yakuwa yali andaze okwagala mu ngeri nnyingi. Kati nange nnali nfunye akakisa okumulaga nti mmwagala nnyo. Buli lwe nnafunanga amawulire amabi, kyandeeteranga okuba omumalirivu okweyongera okusanyusa Yakuwa era n’obutakkiriza Sitaani kuwangula. Kyaddaaki nnalongoosebwa bulungi nga siteekeddwako musaayi. Wadde ng’obulamu bwaffe tebunnaba kutereera, Yakuwa bulijjo atuwa bye twetaaga. Ng’ekyokulabirako, mu lukuŋŋaana lw’ekibiina lwe twalina ku wiikendi nga banaatera okunkebera, twasoma ekitundu ekyalina omutwe ogugamba nti, ‘Ba Muvumu ng’Oyolekagana n’Ebizibu Ebiriwo Leero.’c Ekitundu ekyo kyatuzzaamu nnyo amaanyi. Twakisoma enfunda n’enfunda. Ebitundu ng’ebyo, nga kw’otadde n’okwenyigira mu bintu eby’omwoyo, bituyambye nnyo nze n’omwami wange okusigala nga tuli bakkakkamu n’okusalawo obulungi.”
OKUVVUUNUKA EBYO EBITULEETERA OKUTYA
19. Kiki ekinaatera okubaawo?
19 Yakuwa ayambye abaweereza be okwetooloola ensi okwaŋŋanga ebizibu ebitali bimu ne basobola okulwanyisa Sitaani. (1 Peet. 5:8, 9) Naawe asobola okukuyamba. Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kukozesa Yesu n’abo abanaafuga naye “okuggyawo ebikolwa by’Omulyolyomi.” (1 Yok. 3:8) Ekyo bwe kinaggwa, abaweereza ba Katonda abanaabeera ku nsi ‘tebalitya kintu kyonna era tewaliba kibatiisa.’ (Is. 54:14; Mi. 4:4) Naye ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, ffenna ka tufube okuvvuunuka ebyo ebituleetera okutya.
20. Kiki ekinaatuyamba okuvvuunuka ebyo ebituleetera okutya?
20 Tusaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa ayagala nnyo abaweereza be era nti abakuuma. Ekinaatuyamba okukola ekyo kwe kufumiitiriza era n’okwogera ku ngeri Yakuwa gye yakuumamu abaweereza be mu biseera eby’edda. Ate era tusaanidde okufumiitiriza ku ngeri gy’atuyambyemu nga twolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Yakuwa asobola okutuyamba okuvvuunuka ebyo ebituleetera okutya!—Zab. 34:4.
OLUYIMBA 129 Tujja Kweyongera Okugumiikiriza
a Okutya kintu kya bulijjo era kuyinza okutuyamba okwewala ebizibu. Kyokka oluusi okutya ennyo kiyinza okuba eky’obulabe gye tuli. Mu ngeri ki? Sitaani ayinza okukozesa ekyo kye tutya okutuleetera okusalawo obubi. Awatali kubuusabuusa, tusaanidde okwewala okuba n’okutya ng’okwo. Kiki ekinaatuyamba? Nga bwe tugenda okulaba mu kitundu kino, bwe tuba abakakafu nti Yakuwa ali ku ludda lwaffe era nti atwagala, kijja kutuyamba okuvvuunuka okutya okw’engeri yonna.
b Amannya agamu gakyusiddwa.
d EBIFAANANYI: Ow’oluganda ne mukyala we nga baleetedde mwannyinaffe n’ab’omu maka ge eby’okulya.
e EBIFAANANYI: Bazadde b’ow’oluganda akyali omuvubuka tebaagala aweereza Yakuwa, naye ye yeesiga Yakuwa nti ajja kumuyamba.