LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp24 Na. 1 lup. 3
  • Ffenna Tulina Okusalawo ku Kituufu n’Ekikyamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ffenna Tulina Okusalawo ku Kituufu n’Ekikyamu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2024
  • Similar Material
  • Yoleka Okukkiriza—Era Salawo mu Ngeri ey’Amagezi!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Salawo mu Ngeri Eweesa Katonda Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Engeri gy’Oyinza Okusalawo mu Ngeri ey’Amagezi
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Kiki Abantu Kye Batera Okusinziirako Okusalawo Ekituufu n’Ekikyamu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2024
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2024
wp24 Na. 1 lup. 3
Omuvubuka eyalagiddwa mu kifaananyi ekyasoose ng’ayambibwa omukuumi. Akozesa maapu okumulaga ekkubo ly’alina okukwata okusobola okutuuka gy’alaga, ku ntikko y’olusozi.

Ffenna Tulina Okusalawo

Singa oyagala okugenda mu kifo gy’otagendangako, kiki kye wandikoze?

  1. 1. Okwata ekkubo ly’osuubira nti linaakutuusa.

  2. 2. Ogoberera abagenda, ng’osuubira nti bamanyi gy’ogenda.

  3. 3. Weebuuza ku mukwano gwo amanyi ekifo ekyo, oba okebera ku mmaapu oba GPS.

Singa tukozesa amagezi 1 oba 2 tuyinza okubaako we tutuuka, naye tuyinza obutatuuka gye twagala kugenda. Kyokka bwe tulondawo amagezi 3, tuba bakakafu nti tujja kutuuka gye twagala okugenda.

Tulinga abali mu lugendo lwe tusuubira lujja kututuusa mu biseera eby’omu maaso ebirungi. Kyokka okusobola okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi, kyesigamye nnyo ku wa gye tuggya obulagirizi nga tusalawo.

Wadde nga bingi ku ebyo bye tusalawo tebiba bya maanyi nnyo, ebimu biba bikulu nnyo. Engeri gye tusalawo ku bintu ebyo eraga emitindo gy’empisa kwe tutambulira n’endowooza gye tulina ku kituufu n’ekikyamu. Ate era engeri gye tusalawo ku bintu ebyo etukwatako kinnoomu, awamu n’ab’omu maka gaffe mu ngeri ennungi oba embi. Ebintu ebyo bizingiramu bino wammanga:

  • Okwegatta n’obufumbo

  • Obwesigwa, omulimu, ne ssente

  • Engeri y’okukuzaamu abaana

  • Engeri gye tukolaganamu n’abalala

Oyinza otya okuba omukakafu nti engeri gy’osalawo ku bintu ebyo enneekuviirako okuba omusanyufu awamu n’ab’omu maka go?

Buli omu asaanidde okwebuuza: Kiki ekinannyamba nga nsalawo?

Akatabo kano kalaga ensonga lwaki tusobola okwesiga ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kituufu n’ekikyamu era n’engeri gy’esobola okukuyamba ng’osalawo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share