Twandisazengawo nga tusinziira ku ndowooza yaffe?
Kiki Abantu Kye Batera Okusinziirako nga basalawo?
Kumpi buli omu akikkiriza nti ebikolwa ebimu bituufu, ate ebirala bikyamu. Ng’ekyokulabirako, ebikolwa gamba ng’ettemu, okukaka omuntu omukwano, n’okukabasanya abaana, bivumirirwa wonna. Kyokka ebikolwa gamba ng’obwenkanya, okulaga abalala ekisa, n’okulumirirwa abalala, byagalibwa wonna. Naye kiri kitya bwe kituuka ku nsonga ezikwata ku kwegatta, obwesigwa, n’okukuza abaana? Bangi balowooza nti bwe kituuka ku nsonga ezo, buli omu ky’asalawo kiba kituufu. Abantu batera okusalawo nga basinziira ku ndowooza yaabwe, oba ey’abo ababeetoolodde. Naye ekyo kye tusaanidde okusinziirangako nga tusalawo?
ENDOWOOZA YAFFE
Ebiseera ebisinga tusalawo nga tusinziira ku ndowooza yaffe oba endowooza gye tulina ku kituufu n’ekikyamu. (Abaruumi 2:14, 15) N’abaana abato basobola okumanya ekintu ekituufu n’ekitali kituufu era balumizibwa omutima bwe bakola ekitali kituufu. Endowooza gye tulina ku kituufu n’ekikyamu esinziira nnyo ku bantu be tutera okubeera nabo. Bwe tusalawo, omuntu waffe ow’omunda atubuulira obanga ekyo kye tusazeewo kikwatagana n’emitindo gye twayigirizibwa egikwata ku kituufu n’ekikyamu.
Engeri gye tutwalamu ekituufu n’ekikyamu esobola okutuleetera okulumirirwa abalala, okubasiima, okuba abenkanya gye bali, n’okuba abasaasizi. Ate era esobola okutuyamba okwewala okukola ebintu ebiyinza okulumya abalala, oba ebisobola okutuswaza, n’okutuleetera okulumizibwa omutima.
Twandisazengawo nga tusinziira ku ndowooza yaffe? Garrick bwe yali akyali muvubuka, yasalawo okukola ye bye yali awulira nti bye bituufu. Naye ebyavaamu tebyali birungi. Yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, yeekatankira omwenge, yakozesa ebiragalalagala, era yeenyigira ne mu bikolwa eby’obukambwe. Agamba nti obulamu obw’engeri eyo tebwamuleetera ssanyu.
ENDOWOOZA Y’ABALALA
Ng’oggyeeko okusalawo nga tusinziira ku ndowooza yaffe, tutera okulowooza ennyo ku ngeri abalala gye banaatwalamu ekyo kye tuba tusazeewo. Ekyo kisobola okutuyamba okuganyulwa mu bumanyirivu bwabwe, n’amagezi gaabwe. Bwe tusalawo okukola ekyo ab’omu maka gaffe, mikwano gyaffe, oba abantu mu kitundu gye tubeera kye batwala nti kye kituufu, batuwa ekitiibwa.
Twandisazengawo nga tusinziira ku ndowooza z’abalala? Priscila bwe yali akyali muvubuka, yasalawo okukola ebyo mikwano gye bye baali bakola era yeenyigira mu bikolwa eby’okwegatta nga tannayingira bufumbo. Yagamba nti: “Okukola ebyo bye nnalabanga ng’abalala bakola kyandeetera okukola ebintu ebitasaana era eby’obulabe, era ekyo tekyandeetera ssanyu.”
WALIWO EKISOBOLA OKUTUYAMBA OKUSALAWO OBULUNGI?
Endowooza yaffe n’ey’abalala nkulu nnyo nga tusalawo. Wadde kiri kityo, bwe twesigama ku ndowooza yaffe oba ey’abalala ebivaamu tebitera kuba birungi. Tuyinza okwereetera emitawaana era ne tugireetera n’abalala, olw’okuba tuba tetumanyi binaava mu ebyo bye tuba tusazeewo. (Engero 14:12) Ate era wadde nga tuyinza okulowooza nti ekyo kye twagala okukola kituufu, era nga n’abalala balowooza nti kituufu, ebivaamu biyinza obutaba birungi, era n’endowooza ku kintu ekyo eyinza okukyuka. Ng’ekyokulabirako, enneeyisa emu eyali etwalibwa ng’embi, kati ekkirizibwa, ate enneeyisa emu eyali ekkirizibwa, kati etwalibwa ng’embi.
Twandisazengawo nga tusinziira ku ndowooza y’abalala?
Waliwo obulagirizi obwesigika obusobola okutuyamba nga tusalawo? Waliwo emitindo gy’empisa gye tusobola okutambulirako leero ne tutejjusa mu biseera eby’omu maaso?
Emitindo egyo weegiri. Gyesigika era tegikyukakyuka. Giyambye abantu okwetooloola ensi. Ekitundu ekiddako kigenda kulaga wa gye tusobola okuggya obulagirizi obukyasinzeeyo okwesigika obusobola okutuyamba okusalawo.