LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w24 Maayi lup. 20-25
  • Oyinza Otya Okufuna ow’Okufumbiriganwa Naye?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Oyinza Otya Okufuna ow’Okufumbiriganwa Naye?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EKIYINZA OKUKUYAMBA OKUFUNA OMUNTU OMUTUUFU
  • WEETEGEREZE BULUNGI
  • OKUTANDIKA OKWOGEREZA
  • ABALALA BAYINZA BATYA OKUWAGIRA ABAKRISTAAYO ABALI OBWANNAMUNIGINA?
  • Okwogerezeganya Okuweesa Yakuwa Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Okweteekerateekera Obufumbo Obulungi
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Buli Omu Abe Mwesigwa eri Munne
    Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Obufumbo—Kirabo Okuva eri Katonda
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
w24 Maayi lup. 20-25

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 21

OLUYIMBA 107 Ekyokulabirako kya Katonda eky’Okwagala

Oyinza Otya Okufuna ow’Okufumbiriganwa Naye?

“Ani ayinza okuzuula omukyala omulungi? Wa muwendo okusinga amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja.”—NGE. 31:10.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba emisingi gya Bayibuli egisobola okuyamba abo abaagala okuyingira obufumbo okufuna omuntu omutuufu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa era n’engeri abalala mu kibiina gye bayinza okubayambamu.

1-2. (a) Biki Abakristaayo abali obwa nnamunigina bye basaanidde okulowoozaako nga tebannatandika kwogerezeganya na muntu? (b) “Okwogerezeganya” kitegeeza ki? (Laba “Ebigambo Ebinnyonnyolwa.”)

WANDYAGADDE okuwasa oba okufumbirwa? Wadde ng’okuwasa oba okufumbirwa si kye kisinziirwako okuba abasanyufu, Abakristaayo bangi abali obwa nnamunigina, ka babe bato oba bakulu bandyagadde okufuna ow’okufumbiriganwa naye. Kya lwatu, okusobola okutandika okwogereza omuntu olina okuba n’enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa, ng’oli mukulu mu birowoozo, era ng’osobola okuyimirizaawo amaka mu by’ensimbi.a (1 Kol. 7:36) Bw’oba nga weeteeseteese bulungi mu ngeri eyo, obufumbo bwo busobola okubaamu essanyu.

2 Kyokka oluusi tekiba kyangu kufuna muntu mutuufu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa. (Nge. 31:10) Ne bw’ozuula omuntu omutuufu, kiyinza obutaba kyangu okutandika okwogerezeganya naye.b Mu kitundu kino tugenda kulaba ekisobola okuyamba Abakristaayo abali obwa nnamunigina okufuna omuntu omutuufu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa era n’okutandika okwogerezeganya naye. Era tugenda kulaba engeri abalala mu kibiina gye basobola okuyambamu abo abaagala okuwasa oba okufumbirwa.

EKIYINZA OKUKUYAMBA OKUFUNA OMUNTU OMUTUUFU

3. Biki oyo anoonya ow’okuwasa by’asaanidde okulowoozaako?

3 Bw’oba ng’oyagala okuwasa, kiba kirungi okumanya ebyo bye wandyagadde mu muntu ow’okuwasa nga tonnatandika kwogereza.c Bw’otokola bw’otyo, oyinza okubuusa amaaso omuntu omutuufu ow’okuwasa oba oyinza okwogerezeganya n’omuntu atali mutuufu. Kya lwatu nti omuntu yenna gw’olowoozaako, asaanidde okuba Omukristaayo omubatize. (1 Kol. 7:39) Naye tekiri nti buli Mukristaayo omubatize aba muntu mutuufu ow’okuwasa. N’olwekyo osaanidde okwebuuza nti: ‘Biruubirirwa ki bye nnina mu bulamu? Ngeri ki ze njagala mu muntu ow’okuwasa? Bye nsuubira bisoboka?’

4. Biki abamu bye boogerako nga basaba Yakuwa?

4 Bw’oba ng’onoonya omuntu ow’okuwasa oteekwa okuba ng’ekyo okitegeezezzaako Yakuwa. (Baf. 4:6) Kya lwatu nti Yakuwa talina muntu yenna gw’olondera wa kuwasa. Naye afaayo ku nneewulira yo era asobola okukuyamba ng’onoonya omuntu ow’okuwasa. N’olwekyo weeyongere okumusaba. (Zab. 62:8) Musabe akuyambe okuba omugumiikiriza era akuwe amagezi. (Yak. 1:5) Ow’oluganda John,d ali obwa nnamunigina abeera mu Amerika, ayogera ku ebyo by’ategeeza Yakuwa mu kusaba. Agamba nti: “Mbuulira Yakuwa engeri ze nnandyagadde mu muntu ow’okuwasa. Mmusaba annyambe okufuna omuntu omutuufu. Ate era mmusaba annyambe nsobole okukulaakulanya engeri ezinansobozesa okuba omwami omulungi.” Mwannyinaffe Tanya abeera mu Sri Lanka, agamba nti: “Mu kiseera kino nga nnoonya ow’okufumbirwa, nsaba Yakuwa annyambe okusigala nga ndi mwesigwa, nga nnina ndowooza ennungi, era nga ndi musanyufu.” Ne bw’otofuna muntu mu kiseera kye wandyagadde, Yakuwa asuubiza okweyongera okukulabirira mu by’omubiri n’okufaayo ku nneewulira yo.—Zab. 55:22.

5. Abakristaayo abali obwa nnamunigina bayinza batya okusisinkana bannaabwe abalala abali obwa nnamunigina nabo abeemalidde ku kuweereza Yakuwa? (1 Abakkolinso 15:58) (Laba n’ekifaananyi.)

5 Bayibuli etukubiriza okuba “n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.” (Soma 1 Abakkolinso 15:58.) Bw’oba n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Yakuwa ojja kufuna emikwano mingi era ojja kusisinkana bakkiriza banno bangi abali obwa nnamunigina abeemalidde ku kuweereza Yakuwa nga ggwe. Era bw’ofuba okusanyusa Yakuwa, ojja kufuna essanyu erya nnamaddala.

Ebifaananyi: 1. Mwannyinaffe ali obwannamunigina ng’anyumyako ne mwannyinaffe omukulu nga bali mu buweereza. 2. Mwannyinaffe ali obwannamunigina agabula emmere ku projekiti emu ey’okuzimba. 3. Ow’oluganda ali obwannamunigina ng’awerekeddeko omukadde okukyalira ow’oluganda ne mukyala we. 4. Ow’oluganda y’omu ng’alina emirimu gy’akola ku projekiti emu ey’okuzimba.

Bw’oba omunyiikivu mu buweereza bwo era n’obeerako wamu n’Abakristaayo ab’enjawulo, oyinza okusisinkana abalala abandyagadde okufumbirwa oba okuwasa (Laba akatundu 5)


6. Abakristaayo abali obwannamunigina kiki kye basaanidde okujjukira nga banoonya ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa?

6 Kyokka weegendereze oleme kuba ng’eky’okunoonya omuntu ow’okuwasa ky’otwala ng’ekisinga obukulu mu bulamu bwo. (Baf. 1:10) Essanyu erya nnamaddala terisinziira ku kuba nti omuntu mufumbo oba si mufumbo, wabula lisinziira ku kuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Mat. 5:3) Era kati ng’oli bwannamunigina, olina ebiseera bingi okugaziya ku buweereza bwo. (1 Kol. 7:​32, 33) Kozesa bulungi ebiseera ebyo. Mwannyinaffe Jessica abeera mu Amerika eyafumbirwa ng’anaatera okuweza emyaka 40 agamba nti: “Nnabanga n’eby’okukola bingi mu buweereza era ekyo kyannyamba okuba omumativu wadde nga nnali njagala okufumbirwa.”

WEETEGEREZE BULUNGI

7. Lwaki kikulu okusooka okwetegereza omuntu nga tonnaba kukyoleka nti omwagala? (Engero 19:2)

7 Watya singa wabaawo omuntu gw’olaba nti ayinza okuba omutuufu ow’okuwasa? Wandibadde omutegeerezaawo nti oyagala okweyongera okumumanya? Bayibuli egamba nti omuntu ow’amagezi asooka kumanya nga tannabaako ky’akola. (Soma Engero 19:2.) N’olwekyo kiba kya magezi okusooka okwetegereza omuntu okumala ekiseera nga tonnaba kumugamba nti omwagala. Ow’oluganda ayitibwa Aschwin ow’omu Netherlands agamba nti: “Omukwano gusobola okujja amangu era gusobola okuggwaawo amangu. Bw’owaayo ekiseera ekimala okwetegereza omuntu, tojja kutandika kumwogereza olw’okukyamuukirira obukyamuukirizi.” Ate era bwe weetegereza omuntu, oyinza okukiraba nti si ye mutuufu ow’okuwasa.

8. Oyo ali obwannamunigina ayinza atya okwetegereza omuntu gw’ayagala okuwasa? (Laba n’ekifaananyi.)

8 Oyinza otya okwetegereza omuntu naye ng’okikola mu ngeri ey’amagezi? Bwe muba mu nkuŋŋaana oba nga musanyukirako wamu n’ab’oluganda abalala, oyinza okubaako ebintu bye weetegereza ebiraga embeera y’omuntu oyo ey’eby’omwoyo, engeri ze, n’enneeyisa ye. Mikwano gye be baani era biki by’ayogerako? (Luk. 6:45) Ebiruubirirwa bye bikwatagana n’ebibyo? Oyinza okwogerako n’abakadde mu kibiina kye oba n’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo abamumanyi obulungi. (Nge. 20:18) Oyinza okubuuza abalala ekyo kye bamumanyiiko. (Luus. 2:11) Nga weetegereza omuntu oyo, weewale okukola ebintu ebiyinza okumumalako emirembe. Kirage nti ofaayo ku nneewulira ye era tomulondoola.

Ebifaananyi: Mu ngeri ey’amagezi mwannyinaffe ne muganda waffe abalagiddwa mu kifaananyi ekisoose nga buli omu yeetegereza munne nga bazze mu nkuŋŋaana. 1. Mwannyinaffe yeetegereza engeri ow’oluganda gy’anyumyamu n’abalala. 2. Ow’oluganda yeetegereza engeri mwannyinaffe gy’akolamu ekitundu ekyamuweebwa mu lukuŋŋaana lwa wakati mu wiiki.

Nga tonnagamba muntu nti omwagala, sooka omwetegereze okumala ekiseera (Laba akatundu 7-8)


9. Nga tonnatuukirira muntu gwe wandyagadde okuwasa, osaanidde kuba mukakafu ku ki?

9 Osaanidde kutwala bbanga lyenkana wa nga weetegereza omuntu? Bw’otuukirira amangu omuntu n’omugamba nti omwagala, ayinza okukutwala nti oyanguyiriza okusalawo nga tosoose kwetegereza. (Nge. 29:20) Ku luuyi olulala, bw’otwala ekiseera ekiwanvu ennyo nga weetegereza omuntu, ayinza okukitwala nti tosalawo, naddala singa akitegeera nti olabika omwegwanyiza. (Mub. 11:4) Kijjukire nti bw’oba nga tonnatuukirira muntu kumugamba nti omwagala, tosaanidde kukitwala nti mu buli ngeri ojja kumuwasa. Naye osaanidde okuba omukakafu nti otuuse okuwasa era nti omuntu gw’obadde weetegereza yandiba nga ye mutuufu ow’okuwasa.

10. Kiki ky’osaanidde okukola singa okitegeera nti omuntu akwegwanyiza naye nga ggwe owulira nti tomwagala?

10 Watya singa okitegeera nti waliwo akwegwanyiza? Singa owulira nti tewandyagadde kutandika kwogerezeganya na muntu oyo, ekyo gezaako okukyoleka mu bikolwa byo. Tekiba kikolwa kya kisa okuleetera omuntu okulowooza nti oyinza okuba omwetegefu okutandika okwogerezeganya naye ate ng’ekituufu kiri nti toli mwetegefu.—1 Kol. 10:24; Bef. 4:25.

11. Kiki ekisaanidde okulowoozebwako mu nsi ezimu ng’abalala be bafunira omuntu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa?

11 Mu nsi ezimu, abazadde oba abantu abalala abakulu be basuubirwa okulondera omu ku b’eŋŋanda zaabwe atali mufumbo omuntu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa. Mu nsi endala, omuntu ali obwannamunigina ab’eŋŋanda ze oba mikwano gye be bamufunira ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa oluvannyuma ne bakola enteekateeka abantu abo bombi basisinkane balabe oba nga bayinza okutandika okwogerezeganya. Bw’osabibwa okubaako gw’okufunira ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa, lowooza ku ebyo bombi bye baagala. Bw’omala okuzuula omuntu, fuba okumanya embeera ze, engeri ze, n’okusingira ddala, bw’ayimiridde mu by’omwoyo. Enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa esingira wala ssente, obuyigirize, oba ebitiibwa. Kyokka kijjukire nti ow’oluganda oba mwannyinaffe ali obwannamunigina y’asaanidde okusalawo eky’enkomeredde obanga anaayingira obufumbo.—Bag. 6:5.

OKUTANDIKA OKWOGEREZA

12. Bw’oba ng’oyagala okutandika okwogereza omuntu, oyinza kumutuukirira otya?

12 Bw’oba nga wandyagadde okutandika okwogereza omuntu, oyinza kumutuukirira otya?e Oyinza okukola enteekateeka okunyumyako n’omuntu oyo nga muli mu kifo ekya lukale oba ng’omukubira essimu. Mu ngeri etegeerekeka obulungi mutegeeze ekyo ky’oyagala. (1 Kol. 14:9) Bwe kiba nga kyetaagisa, muwe ekiseera okulowooza ku ebyo by’omugambye. (Nge. 15:28) Ate omuntu bw’aba nga tayagala kutandika kwogerezeganya naawe, ssa ekitiibwa mu ndowooza ye.

13. Kiki ky’osaanidde okukola singa omuntu ekyoleka nti yandyagadde okwogerezeganya naawe? (Abakkolosaayi 4:6)

13 Watya singa omuntu akutuukirira n’akugamba nti yandyagadde okweyongera okukumanya? Kiyinza okuba ng’omuntu oyo tekyamubeeredde kyangu kukutuukirira. N’olwekyo, ba wa kisa era mmusseemu ekitiibwa. (Soma Abakkolosaayi 4:6.) Bw’owulira nti weetaaga ekiseera okulowooza ku ky’okutandika okwogerezeganya naye, mugambe. Naye totwala kiseera kiwanvu nnyo nga tonnamuddamu. (Nge. 13:12) Bw’owulira nga tewandyagadde, ekyo kimutegeeze mu ngeri ey’ekisa era etegeerekeka obulungi. Weetegereze engeri ow’oluganda Hans abeera mu Austria gye yakwatamu mwannyinaffe eyamutuukirira. Agamba nti: “Ekyo kye nnali nsazeewo nnakimubuulira mu ngeri ey’amagezi era etegeerekeka obulungi. Ekyo nnakikolerawo mu bwangu kubanga nnali saagala abeere awa ng’alowooza nti nnali mwetegefu okutandika okwogerezeganya naye. Ate era olw’ensonga eyo y’emu, oluvannyuma lw’ekyo, nneegenderezanga engeri gye nnali nkolaganamu naye.” Ku luuyi olulala, bw’oba nga wandyagadde okwogerezeganya n’omuntu, mubuulire ebyo by’osuubira okubaawo mu kiseera nga mwogerezeganya. Ebyo by’osuubira biyinza okuba nga byawukana ku ebyo by’asuubira, okusinziira ku buwangwa bwammwe, oba ku bintu ebirala.

ABALALA BAYINZA BATYA OKUWAGIRA ABAKRISTAAYO ABALI OBWANNAMUNIGINA?

14. Tuyinza tutya okuwagira Abakristaayo abatali bafumbo okuyitira mu bye twogera?

14 Ffenna tuyinza tutya okuwagira Abakristaayo abali obwannamunigina abaagala okuwasa oba okufumbirwa? Engeri emu kwe kwegendereza ebyo bye twogera. (Bef. 4:29) Tuyinza okwebuuza: ‘Oluusi ebyo bye njogera mu kusaaga bireetera abo abaagala okuwasa oba okufumbirwa okuwulira obubi? Bwe ndaba muganda waffe ne mwannyinaffe abatali bafumbo nga boogera, nkitwala nti kirabika baagalana?’ (1 Tim. 5:13) Ate era tetusaanidde kuleetera Bakristaayo abatali bafumbo okulowooza nti bayinza okuba nga baliko ekibabulako olw’okuba si bafumbo. Hans ayogeddwako waggulu agamba nti: “Bakkiriza bannange abamu bagamba nti: ‘Lwaki tonnawasa? Tokyali muto.’ Ebigambo ng’ebyo bireetera abo abatali bafumbo okuwulira nti tebasiimibwa era byongera okubaleetera okuwulira nti bapikirizibwa okuwasa oba okufumbirwa.” Mu kifo ky’okubagamba ebigambo ng’ebyo, kirungi okukozesa akakisa konna ke tufuna okubasiima!—1 Bas. 5:11.

15. (a) Okusinziira ku musingi oguli mu Abaruumi 15:​2, kiki kye tusaanidde okulowoozaako nga tetunnayamba muntu kufuna wa kuwasa oba wa kufumbirwa? (Laba n’ekifaananyi.) (b) Kintu ki ekikulu kye wayize mu vidiyo?

15 Watya singa olowooza nti ow’oluganda omu ne mwannyinaffe bagwana okuba omwami n’omukyala? Bayibuli etukubiriza okufaayo ku nneewulira y’abalala. (Soma Abaruumi 15:2.) Abakristaayo bangi abatali bafumbo tebaagala balala okubalabira wa kuwasa oba wa kufumbirwa, era tusaanidde okussa ekitiibwa mu ekyo kye baagala. (2 Bas. 3:11) Abalala bayinza okwetaaga okubayambako, naye singa baba tebatusabye tetusaanidde kukikola.f (Nge. 3:27) Abakristaayo abamu tebaagala kubalabira muntu butereevu. Mwannyinaffe Lydia abeera mu Bugirimaani agamba nti: “Osobola okuyita bakkiriza banno abawerako nga mulimu ow’oluganda ne mwannyinaffe be wandyagadde boogerezeganye. Ggwe ssaawo bussa mbeera esobozesa ow’oluganda ne mwannyinaffe okusisinkana era obaleke bo be baba beesalirawo kye baagala.”

Ow’oluganda ne mwannyinaffe abali obwannamunigina bali ku kabaga era banyumya.

Abakristaayo bwe babeerako awamu, kisobozesa abo abali obwannamunigina okusisinkana omuntu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa (Laba akatundu 15)


16. Kiki Abakristaayo abali obwa nnamunigina kye basaanidde okujjukira?

16 Ffenna, ka tube nga tuli bafumbo oba nga tetuli bafumbo, tusobola okuba basanyufu era abamativu mu bulamu! (Zab. 128:1) N’olwekyo, bw’oba ng’oyagala okuwasa oba okufumbirwa naye nga tonnafuna muntu mutuufu, weeyongere okwemalira ku buweereza bwo eri Yakuwa. Mwannyinaffe Sin Yi abeera mu Macao agamba nti: “Ekiseera ky’omala ng’oli bwannamunigina kimpi nnyo bw’okigeraageranya n’ekyo ky’ojja okumala n’omwagalwa wo mu Lusuku lwa Katonda. Ekiseera ekyo kitwale nga kya muwendo nnyo era kikozesa bulungi.” Naye watya singa ozuula omuntu gwe wandyagadde okuwasa oba okufumbirwa era nga mutandise okwogerezeganya? Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri gy’oyinza okwogerezeganya n’omuntu ne mutuuka okusalawo mu ngeri ey’amagezi.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Kiki ky’osaanidde okukola bw’oba ng’oyagala okufuna omuntu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa?

  • Lwaki kya magezi okusooka okwetegereza omuntu nga tonnaba kutandika kwogerezeganya naye?

  • Abalala mu kibiina bayinza batya okuwagira Abakristaayo abali obwa nnamunigina abaagala okuwasa oba okufumbirwa?

OLUYIMBA 137 Abakyala Abeesigwa, Bannyinaffe Abakristaayo

a Okusobola okumanya obanga otuuse okuwasa oba okufumbirwa, laba ku jw.org ekitundu “Dating—Part 1: Am I Ready to Date?”

b EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Mu kitundu kino n’ekiddako, “okwogereza” kitegeeza ekiseera omusajja n’omukazi buli omu lw’afuba okumanya munne okulaba obanga banaasobola okufumbiriganwa. Okwogereza kutandika omusajja n’omukazi bwe bakyoleka nti buli omu ayagala munne era kugenda mu maaso okutuusa nga basazeewo okufumbiriganwa oba obutafumbiriganwa.

c Mu butundu obuddako, tugenda kuba twogera ku wa luganda. Naye kya lwatu nti emisingi egirimu gikwata ne ku bannyinaffe.

d Amannya agamu gakyusiddwa.

e Mu buwangwa obumu, ow’oluganda y’atuukirira mwannyinaffe okusobola okutandika okwogerezeganya. Kyokka ne mwannyinaffe ayinza okusalawo okutuukirira ow’oluganda, era aba takoze kikyamu. (Luus. 3:​1-13) Okusobola okumanya ebisingawo, laba ekitundu “Young People Ask . . . How Can I Tell Him How I Feel?” mu Awake! eya Okitobba 22, 2004.

f Laba ku jw.org/lg vidiyo Abalwanirira Okukkiriza Kwabwe—Abakristaayo Abali Obwannamunigina.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share