EKITUNDU EKY’OKUSOMA 32
OLUYIMBA 44 Essaala y’Omunaku
Yakuwa Ayagala Bonna Beenenye
“Yakuwa . . . tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.”—2 PEET. 3:9.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba ensonga lwaki omuntu asaanidde okwenenya, kye kitegeeza okwenenya, n’engeri Yakuwa gy’ayambye abantu aba buli kika okwenenya.
1. Kiki ekizingirwa mu kwenenya?
BWE tukola ekintu ekibi tuba tusaanidde okwenenya. Bayibuli eraga nti omuntu bwe yeenenya, akyawa ekintu ekibi ky’aba akoze, n’alekera awo okukikola, era n’aba mumalirivu obutakiddamu.—Laba Ebyongerezeddwako mu Enkyusa ey’Ensi Empya, “Okwenenya.”
2. Lwaki ffenna tulina okuyiga ebikwata ku kwenenya? (Nekkemiya 8:9-11)
2 Buli muntu alina okuyiga ebikwata ku kwenenya. Lwaki? Kubanga ffenna twonoona buli lunaku. Olw’okuba tuli bazzukulu ba Adamu ne Kaawa, ffenna twasikira ekibi n’okufa. (Bar. 3:23; 5:12) Ffenna tuli boonoonyi era tusaanidde okwenenya. N’abasajja abaalina okukkiriza okw’amaanyi gamba ng’omutume Pawulo oluusi tekyababeereranga kyangu kwewala kwegomba kubi. (Bar. 7:21-24) Ekyo kitegeeza nti tulina kubeera awo nga tuli banakuwavu olw’ebibi bye tukola? Nedda. Yakuwa musaasizi era ayagala tubeere basanyufu. Lowooza ku Bayudaaya abaaliwo mu kiseera kya Nekkemiya. (Soma Nekkemiya 8:9-11.) Yakuwa yali tayagala banakuwale kisusse olw’ebibi bye baali bakoze mu biseera eby’emabega, wabula yali ayagala bamusinze nga basanyufu. Yakuwa akimanyi nti bwe twenenya kituviirako okuba abasanyufu. Eyo ye nsonga lwaki atuyigiriza ebikwata ku kwenenya. Bwe twenenya ebibi byaffe tusobola okuba abakakafu nti Kitaffe omusaasizi ajja kutusonyiwa.
3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Kati ka tulabe ebisingawo ebikwata ku kwenenya. Mu kitundu kino tugenda kulabayo ebintu bisatu ebikwata ku kwenenya. Okusooka tugenda kulaba ekyo Yakuwa kye yayigiriza Abayisirayiri ku kwenenya. Ate era tugenda kulaba engeri Yakuwa gye yayambamu abantu basobole okwenenya. Oluvannyuma tugenda kulaba ekyo Yesu kye yayigiriza abagoberezi be ku kwenenya.
YAKUWA KYE YAYIGIRIZA ABAYISIRAYIRI KU KWENENYA
4. Kiki ekikwata ku kwenenya Yakuwa kye yayigiriza eggwanga lya Isirayiri?
4 Yakuwa bwe yafuula Abayisirayiri eggwanga, baamusuubiza nti baali bajja kukwata Amateeka ge. Bwe bandigakutte, yandibakuumye era yandibawadde emikisa. Ng’ayogera ku Mateeka ago, yabagamba nti: “Ekiragiro kino kye nkuwa leero si kizibu nnyo gy’oli era tekiri wala.” (Ma. 30:11, 16) Naye bwe bandimujeemedde oba bwe bandisazeewo okusinza bakatonda abalala, yandibadde alekera awo okubawa emikisa era bandibadde babonaabona. Wadde kyali kityo, baali bakyasobola okuddamu okusiimibwa mu maaso ge. Bandikomyewo eri Yakuwa Katonda waabwe era ne bawuliriza eddoboozi lye. (Ma. 30:1-3, 17-20) Mu ngeri endala, bandibadde beenenya. Bwe bandyenenyezza, Yakuwa yandibadde abasemberera era n’addamu okubawa emikisa.
5. Yakuwa yakiraga atya nti mugumiikiriza eri abantu be abaali abajeemu? (2 Bassekabaka 17:13, 14)
5 Enfunda n’enfunda abantu ba Yakuwa baamujeemera. Ng’oggyeeko okusinza ebifaananyi, baakola ebibi ebirala eby’amaanyi ennyo. Ekyo kyabaviirako okubonaabona. Naye Yakuwa yasigala agezaako okuyamba abantu be baddemu okumuweereza. Enfunda n’enfunda yabatumira bannabbi okubakubiriza okwenenya badde gyali.—Soma 2 Bassekabaka 17:13, 14.
6. Yakuwa yakozesa atya bannabbi be okuyamba abantu be okukitegeera nti kikulu okwenenya? (Laba n’ekifaananyi.)
6 Emirundi mingi Yakuwa yakozesa bannabbi be okulabula abantu be n’okugezaako okubatereeza. Ng’ekyokulabirako, okuyitira mu Yeremiya Yakuwa yagamba nti: “Ggwe Isirayiri omujeemu, komawo . . . sijja kukutunuuliza busungu, kubanga ndi mwesigwa . . . sijja kusigala nga ndi musunguwavu. Kkiriza ensobi yo, kubanga ojeemedde Yakuwa.” (Yer. 3:12, 13) Okuyitira mu nnabbi Yoweeri, Yakuwa yagamba nti: “Mudde gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.” (Yow. 2:12, 13) Ate okuyitira mu nnabbi Isaaya yagamba nti: “Mwerongoose; muggye mu maaso gange ebikolwa byammwe ebibi; mulekere awo okukola ebibi.” (Is. 1:16-19) Ate era okuyitira mu Ezeekyeri, Yakuwa yagamba nti: “Ddala nsanyukira okufa kw’omubi? . . . Kye njagala si kwe kuba nti aleka ebikolwa bye asigale nga mulamu? Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, . . . kale mukyuke musigale nga muli balamu.” (Ezk. 18:23, 32) Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba abantu nga beenenya, kubanga ayagala babeere balamu emirembe gyonna! N’olwekyo Yakuwa tasooka kulinda bantu ne beenenya n’alyoka abayamba. Ka tulabeyo ebyokulabirako.
Emirundu mingi Yakuwa yakozesa bannabbi be okukubiriza abantu be abajeemu okwenenya (Laba akatundu 6-7)
7. Kiki Yakuwa kye yayigiriza abantu be okuyitira mu kyokulabirako kya Koseya ne mukyala we?
7 Weetegereze ekyo Yakuwa kye yayigiriza abantu be ng’akozesa embeera eyaliwo ddala, eya Gomeri mukyala wa nnabbi Koseya. Oluvannyuma lwa Gomeri okwenda, yaleka omwami we n’agenda n’abasajja abalala. Yali takyasobola kuyambibwa? Yakuwa, oyo asobola okulaba ekiri mu mutima gw’omuntu, yagamba Koseya nti: “Genda nate oyagale omukazi ayagalibwa omusajja omulala era ayenda, nga ne Yakuwa bw’ayagala abantu ba Isirayiri kyokka nga bo bagenda eri bakatonda abalala.” (Kos. 3:1; Nge. 16:2) Weetegereze nti mukyala wa Koseya yali akyenyigira mu kibi eky’amaanyi. Kyokka Yakuwa yagamba Koseya agende gy’ali amusonyiwe, atabagane naye, era amukomyewo mu maka ge.a Okuyitira mu kyokulabirako ekyo, Yakuwa yali ayagala abantu be okumanya engeri gye yali abatwalamu. Wadde nga baali bakola ebintu ebibi ennyo, yali akyabaagala era yeeyongera okubayamba beenenye bakyuse amakubo gaabwe. Ekyokulabirako ekyo kiraga nti Yakuwa amanyi buli kimu ekikwata ku muntu era afuba okuyamba omuntu akyenyigira mu kibi eky’amaanyi asobole okwenenya. (Nge. 17:3) Ka tulabe engeri ekyo Yakuwa gy’akikolamu.
ENGERI YAKUWA GY’AFUBA OKUYAMBA ABANTU OKWENENYA
8. Kiki Yakuwa kye yakola ng’agezaako okuyamba Kayini okwenenya? (Olubereberye 4:3-7) (Laba n’ekifaananyi.)
8 Kayini ye yali omwana wa Adamu ne Kaawa omubereberye. Okufaananako abaana ba Adamu abalala bonna, naye yasikira ekibi ku bazadde be. Ate era Bayibuli egamba nti: “ebikolwa bye byali bibi.” (1 Yok. 3:12) Oboolyawo eyo ye nsonga lwaki Yakuwa ‘teyasiima Kayini era n’ekiweebwayo kye.’ Mu kifo kya Kayini okukyusaamu, ‘yasunguwala nnyo era ne yennyamira.’ Kiki Yakuwa kye yakola? Yayogera naye. (Soma Olubereberye 4:3-7.) Weetegereze nti Yakuwa yayogera ne Kayini mu ngeri ey’ekisa n’amugamba nti yandimuwadde emikisa bwe yandikoze ebirungi. Yakuwa era yalabula Kayini ku busungu, obwandimuviiriddeko okukola ekintu ekibi. Eky’ennaku Kayini teyawuliriza. Teyakkiriza Yakuwa kumuyamba kwenenya. Oluvannyuma lwa Kayini okugaana okumuwuliriza, Yakuwa yalekera awo okugezaako okuyamba aboonoonyi abalala okwenenya? Nedda.
Yakuwa yagezaako okuyamba Kayini okwenenya era n’amugamba nti bwe yandyeneneza, yandifunye emikisa mingi (Laba akatundu 8)
9. Yakuwa yayamba atya Dawudi okwenenya?
9 Yakuwa yali ayagala nnyo Kabaka Dawudi, era yagamba nti yali “asanyusa omutima gwange.” (Bik. 13:22) Naye Dawudi alina ebibi eby’amaanyi ennyo bye yakola omwali okwenda n’okutta. Okusinziira ku Mateeka ga Musa yali agwanira kufa. (Leev. 20:10; Kubal. 35:31) Kyokka Yakuwa yali ayagala kuyamba Dawudi yeenenye.b Yatuma nnabbi Nasani gy’ali wadde nga Dawudi yali tannalaga kabonero konna nti yali yeenenyeza. Nasani yakozesa olugero okuyamba Dawudi okutegeera nti ekibi kye yali akoze kyali kya maanyi nnyo. Dawudi yakwatibwako nnyo era ne yeenenya. (2 Sam. 12:1-14) Yawandiika zabbuli eraga nti ddala yawulira bubi nnyo olw’ekyo kye yali akoze. (Zab. 51, obugambo obuli waggulu) Ebigambo ebiri mu zabbuli eyo bizzizzaamu aboonoonyi bangi amaanyi ne bibaleetera okwenenya. Mazima ddala tusima nnyo okuba nti Yakuwa yayamba Dawudi okwenenya.
10. Okwatibwako otya bw’olowooza ku bugumiikiriza bwa Yakuwa, ne ku kuba nti mwetegefu okutusonyiwa?
10 Yakuwa akyawa ekibi era talina kibi ky’abikkirira. (Zab. 5:4, 5) Kyokka akimanyi nti ffenna tuli boonoonyi. Era olw’okuba atwagala nnyo, atuyamba okulwanyisa ekibi. Bulijjo afuba okuyamba n’abantu abakola ebibi eby’amaanyi ennyo basobole okwenenya bafune enkolagana ey’oku lusegere naye. Kituzzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa. Okufumiitiriza ku bugumiikiriza bwa Yakuwa ne ku kuba nti mwetegefu okutusonyiwa, kituleetera okuba abamalirivu okusigala nga tuli beesigwa gyali n’okwanguwa okwenenya bwe tuba tukoze ekibi. Kati ka tulabe ekyo Yesu kye yayigiriza abayigirizwa be ku kwenenya.
EKYO YESU KYE YAYIGIRIZA ABAYIGIRIZWA BE KU KWENENYA
11-12. Lugero ki Yesu lwe yagera okuyamba abaali bamuwuliriza okukimanya nti Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)
11 Mu kyasa ekyasooka E.E., ekiseera kyali kituuse Masiya alabike. Nga bwe kyayogerwako mu kitundu ekyayita, Yakuwa yakozesa Yokaana Omubatiza ne Yesu okuyigiriza abantu obukulu bw’okwenenya.—Mat. 3:1, 2; 4:17.
12 Yesu bwe yali ku nsi, yayigiriza nti Kitaawe mwetegefu okutusonyiwa nga tukoze ensobi. Engeri emu gye yakikolamu kwe kugera olugero olukwata ku mwana omujaajaamya. Omuvubuka oyo yasalawo okuva awaka ne yeenyigira mu bintu ebibi ennyo. Naye “bwe yeerowooza” yasalawo okudda awaka. Kiki kitaawe kye yakola? Yesu yagamba nti omuvubuka oyo “bwe yali akyali wala, kitaawe n’amulengera n’amukwatirwa ekisa, n’adduka n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.” Omwana oyo yali ayagala kusaba kitaawe amufuule ng’omu ku bapakasi be. Kitaawe yali mwetegefu okumusonyiwa. Yamuyita “omwana wange” era n’amwaniriza awaka. Kitaawe yagamba nti “yali azaaye naye azaawuse.” (Luk. 15:11-32) Yesu bwe yali akyabeera mu ggulu nga tannajja ku nsi, yalabanga Kitaawe ng’alaga obusaasizi aboonoonyi bangi abeenenya. Olugero lwa Yesu olwo lutuzzaamu amaanyi era lutulaga nti Yakuwa Kitaffe musaasizi.
Taata ayogerwako mu lugero lwa Yesu olukwata ku mwana omujaajaamya ng’adduka okwaniriza mutabani we akomyewo awaka. (Laba akatundu 11-12)
13-14. Kiki omutume Peetero kye yayiga ku kwenenya, era kiki kye yayigiriza abalala ku nsonga eyo? (Laba n’ekifaananyi.)
13 Omutume Peetero alina ebintu ebikulu bye yayiga ku Yesu ebikwata ku kwenenya n’okusonyiwa. Emirundi mingi Peetero yakola ensobi era Yesu yamusonyiwanga. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lwa Peetero okwegaana Mukama we emirundi esatu, omutima gwamulumiriza nnyo olw’ensobi eyo. (Mat. 26:34, 35, 69-75) Naye Yesu bwe yamala okuzuukizibwa, yalabikira Peetero kirabika ng’ali yekka. (Luk. 24:33, 34; 1 Kol. 15:3-5) Awatali kubuusabuusa Yesu yali akimanyi nti Peetero yali yeenenyeza era yali ayagala kumukakasa nti yali amusonyiye.—Laba Makko 16:7.
14 Omutume Peetero yali amanyi kye kitegeeza okwenenya n’okusonyiyibwa. N’olwekyo, yayigiriza abalala ku nsonga ezo. Nga wayise ekiseera oluvannyuma lw’Embaga ya Pentekooti, Peetero yayogera eri Abayudaaya abataali bagoberezi ba Yesu n’abalaga nti baali basse Masiya. Naye yabagamba nti: “Mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulwe, Yakuwa kennyini alyoke abawe ekiwummulo.” (Bik. 3:14, 15, 17, 19) Bwe kityo Peetero yakiraga nti okwenenya kuleetera omuntu okukyuka, kwe kugamba, akyusa endowooza ye n’enneeyisa ye embi n’atandika okukola ebisanyusa Katonda. N’olwekyo, Peetero yakiraga nti Yakuwa yandisangudde ebibi byabwe ne biba nga tebikyaliwo. Ate era nga wayiseewo emyaka egiwera, Peetero yagamba Abakristaayo nti: “Yakuwa . . . abagumiikiriza mmwe kubanga tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.” (2 Peet. 3:9) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti bwe tukola ebibi, ka bibe bya maanyi bitya, Yakuwa atusonyiyira ddala!
Yesu yasonyiwa Peetero era n’amubudaabuda (Laba akatundu 13-14)
15-16. (a) Omutume Pawulo yayiga atya ebikwata ku kusonyiwa? (1 Timoseewo 1:12-15) (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
15 Sawulo ow’e Taluso yakola ebintu ebibi bingi nnyo. Yayigganya nnyo abagoberezi ba Yesu. Kirabika Abakristaayo bangi baali bamutwala ng’omuntu eyali tasobola kukyuka. Naye Yesu yali akimanyi nti Sawulo yali asobola okwenenya n’okukyuka. Yesu ne Kitaawe baalaba engeri ennungi mu Sawulo. Yesu yagamba nti: “Omusajja oyo kibya kye nnonze.” (Bik. 9:15) Yesu yakola n’ekyamagero okuyamba Sawulo okwenenya. (Bik. 7:58–8:3; 9:1-9, 17-20) Oluvannyuma lw’okufuuka Omukristaayo, Sawulo oluvannyuma eyamanyibwa ng’omutume Pawulo, emirundi mingi yalaga nti yali asiimye ekisa n’obusaasizi Yakuwa ne Yesu bye baali bamulaze. (Soma 1 Timoseewo 1:12-15.) Pawulo yagamba bakkiriza banne nti: ‘Katonda abalaga ekisa kye abasobozese okwenenya.’—Bar. 2:4.
16 Pawulo bwe yawulira ku kizibu eky’amaanyi ekikwata ku bugwenyufu ekyali mu kibiina ky’e Kkolinso, yakwata atya ensonga eyo? Ebyo Pawulo bye yayogera bituyamba okukimanya nti Yakuwa bw’anenya omwonoonyi akikola mu ngeri ey’okwagala, era omwonoonyi bwe yeenenya amulaga obusaasizi. Tujja kulaba engeri gye tusobola okumukoppa. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ekyo ekyaliwo mu kibiina ky’e Kkolinso.
OLUYIMBA 33 Omugugu Gwo Gukwase Yakuwa
a Embeera eno yali ya njawulo. Leero omu ku bafumbo bw’ayenda, oyo atalina musango Yakuwa tamwetaagisa kusigala mu bufumbo obwo. Mu ngeri ey’okwagala Yakuwa yakozesa Omwana we okukiraga nti oyo atalina musango asobola okusalawo okugattululwa ne munne mu bufumbo aba ayenze.—Mat. 5:32; 19:9.
b Laba ekitundu “Oganyulwa Otya mu Kuba nti Yakuwa Asonyiwa?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 15, 2012, lup. 21-23, kat. 3-10.