Ebintu Ebibi Ebibaawo mu Lutalo
Entalo zikosa nnyo abantu okusinga ekintu ekirala kyonna. Abajaasi n’abantu ba bulijjo bamanyi ebizibu ebibaawo ng’olutalo luguddewo.
ABAJAASI
“Buli kiseera olaba abantu nga battibwa oba nga batuusibwako ebisago eby’amaanyi. Ate era, oba owulira nti obulamu bwo buli mu kabi.”—Gary, Bungereza.
“Nnakubibwa amasasi era nnalaba abantu bangi nga battibwa, nga mw’otwalidde abaana abato n’abo abakaddiye. Olutalo luleetera omuntu okuguba omutima.”—Wilmar, Colombia.
“Bwe bakubira omuntu amasasi mu maaso go, ekyo tokyerabira. Buli kiseera oba owulira omuntu ng’awanjaga. Omuntu oyo tomwerabira.”—Zafirah, Amerika.
ABANTU ABA BULIJJO
“Nnali ndowooza nti sisobola kuddamu kuba musanyufu. Nnali ntya okuttibwa. Naye n’ekisingira ddala, nnali nneeraliikirira nti mikwano gyange n’ab’eŋŋanda zange bajja kuttibwa.”—Oleksandra, Ukraine.
“Twasimba layini okufuna emmere okuva ku ssaawa munaana ez’ekiro okutuuka ku ssaawa ttaano ez’ekiro, naye nga tuli mu kutya nti essaawa yonna amasasi gasobola okutukwasa.”—Daler, Tajikistan.
“Bazadde bange bafiira mu lutalo. Nnasigala awo nga sirina ambudaabuda wadde andabirira.”—Marie, Rwanda.
Wadde ng’abantu aboogeddwako waggulu baakosebwa olutalo, kati balina emirembe ku mutima. N’ekisingira ddala, bakakafu nti mu kiseera ekitali kya wala entalo zijja kuggwaawo. Mu katabo kano, tugenda kulaba ekyo Bayibuli kyeyogera ku ngeri entalo gye zijja okumalibwawo.